< Ezeekyeri 47 >
1 Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogwa yeekaalu, ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba kubanga yeekaalu yali etunudde ku luuyi olw’ebuvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku luuyi olwa ddyo olwa yeekaalu, ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’ekyoto.
2 N’anfulumiza mu mulyango gw’Obukiikakkono, n’ankulembera n’anneetoolooza ebweru eri oluggi olw’ebweru olutunuulidde Ebuvanjuba, era laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olw’Obukiikaddyo.
3 Awo omusajja eyalina olupimo mu mukono gwe, n’alaga ku luuyi olw’ebuvanjuba yapima mita ebikumi bina mu ataano, n’alyoka ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule.
4 N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu maviivi. N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu kiwato.
5 N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogwali gutasoboka kusomokebwa.
6 N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, kino okiraba?” N’anzizaayo ku lubalama lw’omugga.
7 Awo bwe natuuka eyo, laba ne ndaba ku lubalama lw’omugga emiti mingi nnyo eruuyi n’eruuyi w’omugga.
8 N’aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta gadda mu kitundu eky’ensi eky’Ebuvanjuba, ne gaserengeta mu ddungu, ne gayingira mu Nnyanja. Omugga bwe guyiwa mu Nnyanja amazzi ne galongooka.
9 Buli kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag’omu Nnyanja ey’Omunnyo okuba amalungi, noolwekyo omugga gye guyita, ebintu byonna binaabeeranga biramu.
10 Abavubi banaayimiriranga ku lubalama lwagwo okuva mu Engedi okutuuka e Negalayimu; walibeerayo ebifo ebyokwanikamu obutimba. Buli byannyanja biriba mu bika byabyo, era nga bingi nnyo nnyini ng’ebyennyanja eby’omu Nnyanja Ennene, ye Meditereeniya.
11 Naye ebifo eby’ettosi n’ebisaalu tebirilongooka, birisigala nga bya munnyo.
12 Emiti egy’ebibala ebya buli kika girimera eruuyi n’eruuyi w’omugga, n’ebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, n’ebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.”
13 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bwe muti bwe munaasala ensalo nga mugabanya ensi mu bika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri, ng’ekika kya Yusufu kiweebwa emigabo ebiri.
14 Muligibagabanyizaamu mu bwenkanya, kubanga nagirayirira bajjajjammwe, era ettaka liriba mugabo gwabwe.
15 “Ensalo z’ensi eyo ziriba bwe ziti: “Ku luuyi olw’Obukiikakkono, eriva ku Nnyanja Ennene ku mabbali g’ekkubo ery’e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi, ng’ogenda e Zedadi,
16 Berosa, Sibulayimu ekiri ku nsalo wakati w’e Ddamasiko n’e Kamasi, okutuukira ddala e Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y’e Kawulaani.
17 Era ensalo eriva ku nnyanja okutuuka e Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ey’Obukiikakkono, okuliraana Kamasi mu Bukiikakkono. Era eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikakkono.
18 Ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo eriva e Kazalenooni ekiri wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko ku lubalama lwa Yoludaani wakati wa Gireyaadi n’ensi ya Isirayiri era n’okutuuka ku nnyanja ey’Ebuvanjuba. Eyo y’eriba ensalo ey’Ebuvanjuba.
19 Ku luuyi olw’Obukiikaddyo eriva e Tamali okutuukira ddala ku mazzi ag’e Meribosukadesi, ne ku kagga ak’e Misiri okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikaddyo.
20 Ku luuyi olw’ebugwanjuba, Ennyanja Ennene, ye Meditereeniya y’eriba ensalo okutuuka awayolekera awayingirirwa e Kamasi, era eyo y’eriba ensalo ey’Ebugwanjuba.
21 “Muligabana ensi eno ng’ebika bya Isirayiri bwe biri.
22 Muligigabana ng’omugabo wakati wammwe ne bannaggwanga abali nammwe, abazaalidde abaana mu mmwe. Mulibatwala ng’abazaaliranwa ba Isirayiri, era baligabana omugabo mu bika bya Isirayiri.
23 Era mu buli kika munnaggwanga mw’anaabeeranga, eyo gye mulimuwa omugabo gwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.