< Ezeekyeri 46 >

1 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga.
כֹּה־אָמַר אֲדֹנָי יֱהֹוִה שַׁעַר הֶחָצֵר הַפְּנִימִית הַפֹּנֶה קָדִים יִהְיֶה סָגוּר שֵׁשֶׁת יְמֵי הַֽמַּעֲשֶׂה וּבְיוֹם הַשַּׁבָּת יִפָּתֵחַ וּבְיוֹם הַחֹדֶשׁ יִפָּתֵֽחַ׃
2 Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi.
וּבָא הַנָּשִׂיא דֶּרֶךְ אוּלָם הַשַּׁעַר מִחוּץ וְעָמַד עַל־מְזוּזַת הַשַּׁעַר וְעָשׂוּ הַכֹּהֲנִים אֶת־עֽוֹלָתוֹ וְאֶת־שְׁלָמָיו וְהִֽשְׁתַּחֲוָה עַל־מִפְתַּן הַשַּׁעַר וְיָצָא וְהַשַּׁעַר לֹא־יִסָּגֵר עַד־הָעָֽרֶב׃
3 Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.
וְהִשְׁתַּחֲווּ עַם־הָאָרֶץ פֶּתַח הַשַּׁעַר הַהוּא בַּשַּׁבָּתוֹת וּבֶחֳדָשִׁים לִפְנֵי יְהֹוָֽה׃
4 Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo;
וְהָעֹלָה אֲשֶׁר־יַקְרִב הַנָּשִׂיא לַיהֹוָה בְּיוֹם הַשַּׁבָּת שִׁשָּׁה כְבָשִׂים תְּמִימִם וְאַיִל תָּמִֽים׃
5 n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
וּמִנְחָה אֵיפָה לָאַיִל וְלַכְּבָשִׂים מִנְחָה מַתַּת יָדוֹ וְשֶׁמֶן הִין לָאֵיפָֽה׃
6 Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo;
וּבְיוֹם הַחֹדֶשׁ פַּר בֶּן־בָּקָר תְּמִימִם וְשֵׁשֶׁת כְּבָשִׂים וָאַיִל תְּמִימִם יִהְיֽוּ׃
7 era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
וְאֵיפָה לַפָּר וְאֵיפָה לָאַיִל יַעֲשֶׂה מִנְחָה וְלַכְּבָשִׂים כַּאֲשֶׁר תַּשִּׂיג יָדוֹ וְשֶׁמֶן הִין לָאֵיפָֽה׃
8 Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga.
וּבְבוֹא הַנָּשִׂיא דֶּרֶךְ אוּלָם הַשַּׁעַר יָבוֹא וּבְדַרְכּוֹ יֵצֵֽא׃
9 “‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko.
וּבְבוֹא עַם־הָאָרֶץ לִפְנֵי יְהֹוָה בַּמּוֹעֲדִים הַבָּא דֶּרֶךְ־שַׁעַר צָפוֹן לְהִֽשְׁתַּחֲוֺת יֵצֵא דֶּרֶךְ־שַׁעַר נֶגֶב וְהַבָּא דֶּרֶךְ־שַׁעַר נֶגֶב יֵצֵא דֶּרֶךְ־שַׁעַר צָפוֹנָה לֹא יָשׁוּב דֶּרֶךְ הַשַּׁעַר אֲשֶׁר־בָּא בוֹ כִּי נִכְחוֹ (יצאו) [יֵצֵֽא]׃
10 Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga.
וְֽהַנָּשִׂיא בְּתוֹכָם בְּבוֹאָם יָבוֹא וּבְצֵאתָם יֵצֵֽאוּ׃
11 Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa.
וּבַחַגִּים וּבַמּוֹעֲדִים תִּהְיֶה הַמִּנְחָה אֵיפָה לַפָּר וְאֵיפָה לָאַיִל וְלַכְּבָשִׂים מַתַּת יָדוֹ וְשֶׁמֶן הִין לָאֵיפָֽה׃
12 “‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri Mukama, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.
וְכִֽי־יַעֲשֶׂה הַנָּשִׂיא נְדָבָה עוֹלָה אוֹ־שְׁלָמִים נְדָבָה לַיהֹוָה וּפָתַֽח לוֹ אֶת־הַשַּׁעַר הַפֹּנֶה קָדִים וְעָשָׂה אֶת־עֹֽלָתוֹ וְאֶת־שְׁלָמָיו כַּאֲשֶׁר יַעֲשֶׂה בְּיוֹם הַשַּׁבָּת וְיָצָא וְסָגַר אֶת־הַשַּׁעַר אַחֲרֵי צֵאתֽוֹ׃
13 “‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya.
וְכֶבֶשׂ בֶּן־שְׁנָתוֹ תָּמִים תַּעֲשֶׂה עוֹלָה לַיּוֹם לַיהֹוָה בַּבֹּקֶר בַּבֹּקֶר תַּעֲשֶׂה אֹתֽוֹ׃
14 Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri Mukama ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo.
וּמִנְחָה תַעֲשֶׂה עָלָיו בַּבֹּקֶר בַּבֹּקֶר שִׁשִּׁית הָאֵיפָה וְשֶׁמֶן שְׁלִישִׁית הַהִין לָרֹס אֶת־הַסֹּלֶת מִנְחָה לַיהֹוָה חֻקּוֹת עוֹלָם תָּמִֽיד׃
15 Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo.
(ועשו) [יַעֲשׂוּ] אֶת־הַכֶּבֶשׂ וְאֶת־הַמִּנְחָה וְאֶת־הַשֶּׁמֶן בַּבֹּקֶר בַּבֹּקֶר עוֹלַת תָּמִֽיד׃
16 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano.
כֹּה־אָמַר אֲדֹנָי יֱהֹוִה כִּֽי־יִתֵּן הַנָּשִׂיא מַתָּנָה לְאִישׁ מִבָּנָיו נַחֲלָתוֹ הִיא לְבָנָיו תִּֽהְיֶה אֲחֻזָּתָם הִיא בְּנַחֲלָֽה׃
17 Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka.
וְכִֽי־יִתֵּן מַתָּנָה מִנַּחֲלָתוֹ לְאַחַד מֵֽעֲבָדָיו וְהָיְתָה לּוֹ עַד־שְׁנַת הַדְּרוֹר וְשָׁבַת לַנָּשִׂיא אַךְ נַחֲלָתוֹ בָּנָיו לָהֶם תִּהְיֶֽה׃
18 Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’”
וְלֹא־יִקַּח הַנָּשִׂיא מִנַּחֲלַת הָעָם לְהֽוֹנֹתָם מֵאֲחֻזָּתָם מֵאֲחֻזָּתוֹ יַנְחִל אֶת־בָּנָיו לְמַעַן אֲשֶׁר לֹא־יָפֻצוּ עַמִּי אִישׁ מֵאֲחֻזָּתֽוֹ׃
19 Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba.
וַיְבִיאֵנִי בַמָּבוֹא אֲשֶׁר עַל־כֶּתֶף הַשַּׁעַר אֶל־הַלִּשְׁכוֹת הַקֹּדֶשׁ אֶל־הַכֹּהֲנִים הַפֹּנוֹת צָפוֹנָה וְהִנֵּה־שָׁם מָקוֹם (בירכתם) [בַּיַּרְכָתַיִם] יָֽמָּה׃
20 N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.”
וַיֹּאמֶר אֵלַי זֶה הַמָּקוֹם אֲשֶׁר יְבַשְּׁלוּ־שָׁם הַכֹּהֲנִים אֶת־הָאָשָׁם וְאֶת־הַחַטָּאת אֲשֶׁר יֹאפוּ אֶת־הַמִּנְחָה לְבִלְתִּי הוֹצִיא אֶל־הֶחָצֵר הַחִיצוֹנָה לְקַדֵּשׁ אֶת־הָעָֽם׃
21 N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala.
וַיּוֹצִיאֵנִי אֶל־הֶחָצֵר הַחִיצוֹנָה וַיַּעֲבִרֵנִי אֶל־אַרְבַּעַת מִקְצוֹעֵי הֶחָצֵר וְהִנֵּה חָצֵר בְּמִקְצֹעַ הֶחָצֵר חָצֵר בְּמִקְצֹעַ הֶחָצֵֽר׃
22 Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu.
בְּאַרְבַּעַת מִקְצֹעוֹת הֶחָצֵר חֲצֵרוֹת קְטֻרוֹת אַרְבָּעִים אֹרֶךְ וּשְׁלֹשִׁים רֹחַב מִדָּה אַחַת לְאַרְבַּעְתָּם מְהֻקְצָעֽוֹת׃
23 Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna.
וְטוּר סָבִיב בָּהֶם סָבִיב לְאַרְבַּעְתָּם וּמְבַשְּׁלוֹת עָשׂוּי מִתַּחַת הַטִּירוֹת סָבִֽיב׃
24 N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”
וַיֹּאמֶר אֵלָי אֵלֶּה בֵּית הַֽמְבַשְּׁלִים אֲשֶׁר יְבַשְּׁלוּ־שָׁם מְשָׁרְתֵי הַבַּיִת אֶת־זֶבַח הָעָֽם׃

< Ezeekyeri 46 >