< Ezeekyeri 44 >

1 Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogw’ebweru ogw’Awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale.
領我回到聖殿朝東的外門,門卻關著。
2 Mukama n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga Mukama, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu.
他對我說:「這門必關閉不開,任何人不得由此門而入,因為上主以色列的天主已由此門而入,為此常應關閉。
3 Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.”
至於元首,因為他是元首,惟有他可坐在裏面,在上主前進食;他由門廊的路而入,亦由原路而出。」
4 Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.
以後,他領我由北門到聖殿,我一看,看見上主的光榮上主的殿,我便伏地掩面。
5 Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu.
上主對我說:「人子,我對你所說上主殿內的所有定和法律,你要留心,要眼看耳聽,又要注意准入聖殿的規則。
6 Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; ebikolwa byammwe eby’emizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’
你對叛逆的以色列家族說:吾主上主這樣說:以色列家族,你們所行的一切醜惡之事,該夠了吧!
7 Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange.
當你們奉獻給我食品、脂肪和牲血時,竟引領心身未受割損的外方人進入我的聖所,褻瀆我的殿宇;這樣以你們的一切醜惡,破壞了我的盟約。
8 Mu kifo eky’okukola ebibagwanira ng’ebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange.
你們的既不在我聖所內供職,卻派他們代你們在我聖所內供職。
9 Kale Mukama Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati.
為此吾主上主這樣說:一切心身未受割損的外邦人,以及所有在以色列子民中的外邦人,不得進入我的聖所。
10 “‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa.
至於肋未人,當以色列墮落,離開我而追隨他們的偶像時,他們也脫離了我,他們必要承認自己的罪債。
11 Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga.
他們在我聖所內供職,只能充當看守殿門的,作的侍役,為百姓宰殺全燔祭和其他祭牲,站在他們面前,給他們服務。
12 Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
因為他們曾在百姓的偶像前給他們服務過,做了以色列家族的胖腳石,為此我必舉手反對他們──吾主上主的斷語──他們必要承擔自己的罪債。
13 Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve.
他們不得走近我,也不得接我的的一切聖物,和至聖之物;反要自己的羞辱和所行的一切醜惡。
14 Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.
我只委派他們在聖殿供職,服各種勞役,做其中應做的一切事務。
15 “‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda.
惟有那些在以色列子民墮落我時,仍然為我的聖所供職的匝多克的兒子,肋未司祭們,可走近我,服事我,侍立我前,給我奉獻脂油與牲血──吾主上主的斷語──
16 Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira.
他們可進入我的聖所,起近我的祭桌,服事我,奉行給我供職的事。
17 “‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu.
幾時他們進入內院的門,應身穿麻衣;當他們在內院門內或在聖殿供職時,不可穿羊毛衣。
18 Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya.
他們頭上應戴麻布頭巾,腰間應穿麻巾褲子,不可穿容易出汗的衣服。
19 Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe.
但他們幾時要出去到外院百姓那裏時,應脫去供職的衣服,放在聖所的廂房內,穿上別的衣服,免得因自己的祭服使百姓沾污聖潔。
20 “‘Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto.
你們不可剃頭,也不可讓頭髮自由生長,應該修剪頭髮。
21 Tewabanga kabona n’omu anywa nvinnyo ng’ayingidde mu luggya olw’omunda.
任何司祭要進入內院時,不可飲酒。
22 Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona.
他們不可娶寡婦或棄婦為妻,應娶以色列家族的處女為妻;或娶司祭的寡婦。
23 Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.
廿應教訓我的百姓 區別聖與俗,知道潔與不潔。
24 “‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu.
在訴訟上,他們應充任裁判,按我的法律定斷;他們在我的各種慶節上,應遵守規我的法律和規律,又應聖化我的安息日。
25 “‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga.
他們不可走近死人,免得沾染不潔;但為父母子女、兄弟和未嫁的姊妹,可自染不潔。
26 Oluvannyuma olw’okwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite.
在他取潔以後,再過七天,
27 Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera Mukama Katonda.
他要進入聖所,進內院,為在聖所內供職的那一天,應奉獻贖罪祭──吾主上主的斷語──
28 “‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe.
他們不可有產業;在以色列也不可分給他們地業我是他們的地業。
29 Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri Mukama kinaabanga kyabwe.
他們可以吃素餐,贖罪祭和贖過祭:凡在以色列所獻的禁物,都應歸於他們。
30 Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe.
各種初熟之物,和你們藉舉祭所獻的一切祭物,都應歸於司祭;此外,將你們粗麥麵中最好的一份,分與司祭,好叫祝福降在你們家庭中。
31 Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.
凡自然死或被猛獸撕裂的飛禽走獸,司祭都不可吃。」

< Ezeekyeri 44 >