< Ezeekyeri 38 >

1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
ヱホバの言我にのぞみて言ふ
2 “Omwana w’omuntu tunuuliza amaaso go eri Googi ow’omu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gy’ali,
人の子よロシ、メセクおよびトバルの君たるマゴグの地の王ゴグに汝の面をむけ之にむかひて預言し
3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali.
言べし主ヱホバかく言たまふロシ、メセク、トバルの君ゴグよ視よ我なんぢを罰せん
4 Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala.
我汝をひきもどし汝の腮に鉤をほどこして汝および汝の諸の軍勢と馬とその騎者を曳いだすべし是みな其服粧に美を極め大楯小楯をもち凡て劍を執る者にして大軍なり
5 Obuperusi, ne Kuusi ne Puuti balibeera wamu nabo, bonna nga balina engabo n’enkuufiira;
ペルシヤ、エテオピアおよびフテこれとともにあり皆楯と盔をもつ
6 era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.
ゴメルとその諸の軍隊北の極のトガルマの族とその諸の軍隊など衆多の民汝とともにあり
7 “‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire.
汝準備をなせ汝と汝にあつまれるところの軍隊みな備をせよ而して汝かれらの保護となれ
8 Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe.
衆多の日の後なんぢ罰せられん末の年に汝かの劍をのがれてかへり衆多の民の中より集りきたれる者の地にいたり久しく荒ゐたるイスラエルの山々にいたらん是は國々より導きいだされて皆安然に住ふなり
9 Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi.
汝その諸の軍隊および衆多の民をひきゐて上り暴風のごとく至り雲のごとく地を覆はん
10 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi.
主ヱホバかくいひたまふ其日に汝の心に思想おこり惡き謀計をくはだてて
11 Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi.
言ん我平原の邑々にのぼり穩にして安然に住る者等にいたらん是みな石垣なくして居り關も門もあらざる者なりと
12 Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.”
斯して汝物を奪ひ物を掠め汝の手をかへして彼の人の住むにいたれる墟址を攻め又かの國々より集りきたりて地の墺區にすみて群と財寶をもつところの民をせめんとす
13 Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?”’
シバ、デダン、タルシシの商賈およびその諸の小獅子汝に言ん汝物を奪はんとて來れるや汝物を掠めんために軍隊をあつめしや金銀をもちさり群と財寶を取り多くの物を奪はんとするやと
14 “Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba?
是故に人の子よ汝預言してゴグに言へ主ヱホバかくいひたまふ其日に汝わが民イスラエルの安然に住むを知ざらんや
15 Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene.
汝すなはち北の極なる汝の處より來らん衆多の民汝とともにあり皆馬に乗る其軍隊は大にしてその軍勢は夥多し
16 Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.
而して汝わが民イスラエルに攻きたり雲のごとくに地を覆はんゴグよ末の日にこの事あらんすなはち我汝をわが地に攻きたらしめ汝をもて我の聖き事を國々の民の目のまへにあらはして彼らに我をしらしむべし
17 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe?
主ヱホバかく言たまふ我の昔日わが僕なるイスラエルの預言者等をもて語りし者は汝ならずや即ち彼ら其頃年ひさしく預言して我汝を彼らに攻きたらしめんと言り
18 Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera Mukama Katonda.
主ヱホバいひたまふ其日すなはちゴグがイスラエルの地に攻來らん日にわが怒面にあらはるべし
19 Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri;
我嫉妬と燃たつ怒をもて言ふ其日には必ずイスラエルの地に大なる震動あらん
20 n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka.
海の魚空の鳥野の獣凡て地に匍ふところの昆蟲凡て地にある人わが前に震へん又山々崩れ嶄巌たふれ石垣みな地に仆れん
21 Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we.
主ヱホバいひたまふ我劍をわが諸の山に召きたりて彼をせめしめん人々の劍その兄弟を撃べし
22 Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.
我疫病と血をもて彼の罪をたださん我漲ぎる雨と雹と火と硫磺を彼とその軍勢および彼とともなる多の民の上に降すべし
23 Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’”
而して我わが大なることと聖きことを明かにし衆多の國民の目のまへに我を示さん彼らはすなはち我のヱホバなることをしるべし

< Ezeekyeri 38 >