< Ezeekyeri 31 >

1 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
וַיְהִ֗י בְּאַחַ֤ת עֶשְׂרֵה֙ שָׁנָ֔ה בַּשְּׁלִישִׁ֖י בְּאֶחָ֣ד לַחֹ֑דֶשׁ הָיָ֥ה דְבַר־יְהוָ֖ה אֵלַ֥י לֵאמֹֽר׃
2 “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti, “‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
בֶּן־אָדָ֕ם אֱמֹ֛ר אֶל־פַּרְעֹ֥ה מֶֽלֶךְ־מִצְרַ֖יִם וְאֶל־הֲמֹונֹ֑ו אֶל־מִ֖י דָּמִ֥יתָ בְגָדְלֶֽךָ׃
3 Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni, nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira; ogwali omuwanvu ennyo, nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
הִנֵּ֨ה אַשּׁ֜וּר אֶ֣רֶז בַּלְּבָנֹ֗ון יְפֵ֥ה עָנָ֛ף וְחֹ֥רֶשׁ מֵצַ֖ל וּגְבַ֣הּ קֹומָ֑ה וּבֵ֣ין עֲבֹתִ֔ים הָיְתָ֖ה צַמַּרְתֹּֽו׃
4 Amazzi gaaguliisanga, n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya, n’emigga gyagyo ne gigwetooloola wonna, ne giweerezanga n’amatabi gaagyo eri emiti gyonna egy’omu ttale.
מַ֣יִם גִּדְּל֔וּהוּ תְּהֹ֖ום רֹֽמְמָ֑תְהוּ אֶת־נַהֲרֹתֶ֗יהָ הֹלֵךְ֙ סְבִיבֹ֣ות מַטָּעָ֔הּ וְאֶת־תְּעָלֹתֶ֣יהָ שִׁלְחָ֔ה אֶ֖ל כָּל־עֲצֵ֥י הַשָּׂדֶֽה׃
5 Kyegwava gukula ne guwanvuwa okusinga emiti gyonna egy’omu kibira, n’amatabi gaagwo amanene ne geeyongera obunene, n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
עַל־כֵּן֙ גָּבְהָ֣א קֹמָתֹ֔ו מִכֹּ֖ל עֲצֵ֣י הַשָּׂדֶ֑ה וַתִּרְבֶּ֨ינָה סַֽרְעַפֹּתָ֜יו וַתֶּאֱרַ֧כְנָה פֹארֹתֹו (פֹארֹתָ֛יו) מִמַּ֥יִם רַבִּ֖ים בְּשַׁלְּחֹֽו׃
6 Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene, n’ensolo enkambwe ez’oku ttale ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo, n’amawanga gonna amakulu ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
בִּסְעַפֹּתָ֤יו קִֽנְנוּ֙ כָּל־עֹ֣וף הַשָּׁמַ֔יִם וְתַ֤חַת פֹּֽארֹתָיו֙ יָֽלְד֔וּ כֹּ֖ל חַיַּ֣ת הַשָּׂדֶ֑ה וּבְצִלֹּו֙ יֵֽשְׁב֔וּ כֹּ֖ל גֹּויִ֥ם רַבִּֽים׃
7 Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo, n’amatabi gaagwo amanene, kubanga emirandira gyagwo gyasima awali amazzi amangi.
וַיְּיִ֣ף בְּגָדְלֹ֔ו בְּאֹ֖רֶךְ דָּֽלִיֹּותָ֑יו כִּֽי־הָיָ֥ה שָׁרְשֹׁ֖ו אֶל־מַ֥יִם רַבִּֽים׃
8 Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda tegyayinza kuguvuganya, newaakubadde emiberoosi okwenkana n’amatabi gaagwo amanene; n’emyalamooni nga tegifaanana matabi gaagwo amatono, so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda ogugwenkana mu bulungi.
אֲרָזִ֣ים לֹֽא־עֲמָמֻהוּ֮ בְּגַן־אֱלֹהִים֒ בְּרֹושִׁ֗ים לֹ֤א דָמוּ֙ אֶל־סְעַפֹּתָ֔יו וְעַרְמֹנִ֥ים לֹֽא־הָי֖וּ כְּפֹֽארֹתָ֑יו כָּל־עֵץ֙ בְּגַן־אֱלֹהִ֔ים לֹא־דָמָ֥ה אֵלָ֖יו בְּיָפְיֹֽו׃
9 Nagulungiya n’amatabi amangi, emiti gyonna egy’omu Adeni egyali mu nnimiro ya Katonda ne gigukwatirwa obuggya.
יָפֶ֣ה עֲשִׂיתִ֔יו בְּרֹ֖ב דָּֽלִיֹּותָ֑יו וַיְקַנְאֻ֙הוּ֙ כָּל־עֲצֵי־עֵ֔דֶן אֲשֶׁ֖ר בְּגַ֥ן הָאֱלֹהִֽים׃ ס
10 “‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo,
לָכֵ֗ן כֹּ֤ה אָמַר֙ אֲדֹנָ֣י יְהוִ֔ה יַ֕עַן אֲשֶׁ֥ר גָּבַ֖הְתָּ בְּקֹומָ֑ה וַיִּתֵּ֤ן צַמַּרְתֹּו֙ אֶל־בֵּ֣ין עֲבֹותִ֔ים וְרָ֥ם לְבָבֹ֖ו בְּגָבְהֹֽו׃
11 kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye.
וְאֶ֨תְּנֵ֔הוּ בְּיַ֖ד אֵ֣יל גֹּויִ֑ם עָשֹׂ֤ו יַֽעֲשֶׂה֙ לֹ֔ו כְּרִשְׁעֹ֖ו גֵּרַשְׁתִּֽהוּ׃
12 Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo.
וַיִּכְרְתֻ֧הוּ זָרִ֛ים עָרִיצֵ֥י גֹויִ֖ם וַֽיִּטְּשֻׁ֑הוּ אֶל־הֶ֠הָרִים וּבְכָל־גֵּ֨אָיֹ֜ות נָפְל֣וּ דָלִיֹּותָ֗יו וַתִּשָּׁבַ֤רְנָה פֹֽארֹתָיו֙ בְּכֹל֙ אֲפִיקֵ֣י הָאָ֔רֶץ וַיֵּרְד֧וּ מִצִּלֹּ֛ו כָּל־עַמֵּ֥י הָאָ֖רֶץ וַֽיִּטְּשֻֽׁהוּ׃
13 Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo.
עַל־מַפַּלְתֹּ֥ו יִשְׁכְּנ֖וּ כָּל־עֹ֣וף הַשָּׁמָ֑יִם וְאֶל־פֹּארֹתָ֣יו הָי֔וּ כֹּ֖ל חַיַּ֥ת הַשָּׂדֶֽה׃
14 Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.
לְמַ֡עַן אֲשֶׁר֩ לֹא־יִגְבְּה֨וּ בְקֹומָתָ֜ם כָּל־עֲצֵי־מַ֗יִם וְלֹֽא־יִתְּנ֤וּ אֶת־צַמַּרְתָּם֙ אֶל־בֵּ֣ין עֲבֹתִ֔ים וְלֹֽא־יַעַמְד֧וּ אֵלֵיהֶ֛ם בְּגָבְהָ֖ם כָּל־שֹׁ֣תֵי מָ֑יִם כִּֽי־כֻלָּם֩ נִתְּנ֨וּ לַמָּ֜וֶת אֶל־אֶ֣רֶץ תַּחְתִּ֗ית בְּתֹ֛וךְ בְּנֵ֥י אָדָ֖ם אֶל־יֹ֥ורְדֵי בֹֽור׃ ס
15 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. (Sheol h7585)
כֹּֽה־אָמַ֞ר אֲדֹנָ֣י יְהוִ֗ה בְּיֹ֨ום רִדְתֹּ֤ו שְׁאֹ֙ולָה֙ הֶאֱבַ֜לְתִּי כִּסֵּ֤תִי עָלָיו֙ אֶת־תְּהֹ֔ום וָֽאֶמְנַע֙ נַהֲרֹותֶ֔יהָ וַיִּכָּלְא֖וּ מַ֣יִם רַבִּ֑ים וָאַקְדִּ֤ר עָלָיו֙ לְבָנֹ֔ון וְכָל־עֲצֵ֥י הַשָּׂדֶ֖ה עָלָ֥יו עֻלְפֶּֽה׃ (Sheol h7585)
16 Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. (Sheol h7585)
מִקֹּ֤ול מַפַּלְתֹּו֙ הִרְעַ֣שְׁתִּי גֹויִ֔ם בְּהֹורִדִ֥י אֹתֹ֛ו שְׁאֹ֖ולָה אֶת־יֹ֣ורְדֵי בֹ֑ור וַיִּנָּ֨חֲמ֜וּ בְּאֶ֤רֶץ תַּחְתִּית֙ כָּל־עֲצֵי־עֵ֔דֶן מִבְחַ֥ר וְטֹוב־לְבָנֹ֖ון כָּל־שֹׁ֥תֵי מָֽיִם׃ (Sheol h7585)
17 Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala. (Sheol h7585)
גַּם־הֵ֗ם אִתֹּ֛ו יָרְד֥וּ שְׁאֹ֖ולָה אֶל־חַלְלֵי־חָ֑רֶב וּזְרֹעֹ֛ו יָשְׁב֥וּ בְצִלֹּ֖ו בְּתֹ֥וךְ גֹּויִֽם׃ (Sheol h7585)
18 “‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala. “‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’”
אֶל־מִ֨י דָמִ֥יתָ כָּ֛כָה בְּכָבֹ֥וד וּבְגֹ֖דֶל בַּעֲצֵי־עֵ֑דֶן וְהוּרַדְתָּ֙ אֶת־עֲצֵי־עֵ֜דֶן אֶל־אֶ֣רֶץ תַּחְתִּ֗ית בְּתֹ֨וךְ עֲרֵלִ֤ים תִּשְׁכַּב֙ אֶת־חַלְלֵי־חֶ֔רֶב ה֤וּא פַרְעֹה֙ וְכָל־הֲמֹונֹ֔ה נְאֻ֖ם אֲדֹנָ֥י יְהוִֽה׃ ס

< Ezeekyeri 31 >