< Ezeekyeri 30 >

1 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר
2 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Mwekaabireko mwogere nti, “Zibasanze ku lunaku olwo”
בן אדם--הנבא ואמרת כה אמר אדני יהוה הילילו הה ליום
3 kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku olw’ebire eri bannaggwanga.
כי קרוב יום וקרוב יום ליהוה יום ענן עת גוים יהיה
4 Ekitala kirirumba Misiri, n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya. Bwe balifiira mu Misiri, obugagga bwe bulitwalibwa n’emisingi gyayo girimenyebwa.’
ובאה חרב במצרים והיתה חלחלה בכוש בנפל חלל במצרים ולקחו המונה ונהרסו יסדותיה
5 Obuwesiyopya, ne Puuti, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
כוש ופוט ולוד וכל הערב וכוב ובני ארץ הברית--אתם בחרב יפלו
6 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Abawagira Misiri baligwa, n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa. Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene baligwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.
כה אמר יהוה ונפלו סמכי מצרים וירד גאון עזה ממגדל סונה בחרב יפלו בה--נאם אדני יהוה
7 Balirekebwawo wakati mu nsi endala ezalekebwawo, n’ebibuga byabwe biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
ונשמו בתוך ארצות נשמות ועריו בתוך ערים נחרבות תהיינה
8 Olwo balimanya nga nze Mukama bwe ndikuma ku Misiri omuliro, n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.
וידעו כי אני יהוה בתתי אש במצרים ונשברו כל עזריה
9 “‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
ביום ההוא יצאו מלאכים מלפני בצים להחריד את כוש בטח והיתה חלחלה בהם ביום מצרים כי הנה באה
10 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
כה אמר אדני יהוה והשבתי את המון מצרים ביד נבוכדראצר מלך בבל
11 Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi. Baligyayo ebitala byabwe ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
הוא ועמו אתו עריצי גוים--מובאים לשחת הארץ והריקו חרבותם על מצרים ומלאו את הארץ חלל
12 Ndikaza emigga gya Kiyira, ne ntunda ensi eri abantu ababi; nga nkozesa bannaggwanga, ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu. Nze Mukama nkyogedde.
ונתתי יארים חרבה ומכרתי את הארץ ביד רעים והשמתי ארץ ומלאה ביד זרים--אני יהוה דברתי
13 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ndizikiriza bakatonda baabwe ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu. Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate, era ensi yonna ndigireetako entiisa.
כה אמר אדני יהוה והאבדתי גלולים והשבתי אלילים מנף ונשיא מארץ מצרים לא יהיה עוד ונתתי יראה בארץ מצרים
14 Ndifuula Pasulo okuba amatongo, ne Zowani ndikikumako omuliro ne mbonereza n’ab’omu No.
והשמתי את פתרוס ונתתי אש בצען ועשיתי שפטים בנא
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky’amaanyi, era ndimalawo n’ebibinja bya No.
ושפכתי חמתי על סין מעוז מצרים והכרתי את המון נא
16 Ndikuma omuliro ku Misiri, ne Sini baliba mu bubalagaze bungi, ne No balitwalibwa omuyaga, ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
ונתתי אש במצרים--חול תחיל (תחול) סין ונא תהיה להבקע ונף צרי יומם
17 Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi baligwa n’ekitala, n’ebibuga biriwambibwa.
בחורי און ופי בסת בחרב יפלו והנה בשבי תלכנה
18 Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana, bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri, era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu. Alibikkibwa n’ebire era n’ebyalo bye biriwambibwa.
ובתחפנחס חשך היום בשברי שם את מטות מצרים ונשבת בה גאון עזה היא ענן יכסנה ובנותיה בשבי תלכנה
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, bategeere nga nze Mukama.’”
ועשיתי שפטים במצרים וידעו כי אני יהוה
20 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
ויהי באחת עשרה שנה בראשון בשבעה לחדש היה דבר יהוה אלי לאמר
21 “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.
בן אדם את זרוע פרעה מלך מצרים שברתי והנה לא חבשה לתת רפאות לשום חתול לחבשה לחזקה--לתפש בחרב
22 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe.
לכן כה אמר אדני יהוה הנני אל פרעה מלך מצרים ושברתי את זרעתיו את החזקה ואת הנשברת והפלתי את החרב מידו
23 Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi.
והפצותי את מצרים בגוים וזריתם בארצות
24 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa.
וחזקתי את זרעות מלך בבל ונתתי את חרבי בידו ושברתי את זרעות פרעה ונאק נאקות חלל לפניו
25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri.
והחזקתי את זרעות מלך בבל וזרעות פרעה תפלנה וידעו כי אני יהוה בתתי חרבי ביד מלך בבל ונטה אותה אל ארץ מצרים
26 Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”
והפצותי את מצרים בגוים וזריתי אותם בארצות וידעו כי אני יהוה

< Ezeekyeri 30 >