< Ezeekyeri 28 >

1 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר׃
2 “Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti, ‘Ndi katonda, era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’ songa oli muntu buntu, so si katonda, newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
בן אדם אמר לנגיד צר כה אמר אדני יהוה יען גבה לבך ותאמר אל אני מושב אלהים ישבתי בלב ימים ואתה אדם ולא אל ותתן לבך כלב אלהים׃
3 Oli mugezi okusinga Danyeri? Tewali kyama kikukwekeddwa?
הנה חכם אתה מדנאל כל סתום לא עממוך׃
4 Mu magezi go ne mu kutegeera kwo weefunidde eby’obugagga, n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza n’obitereka mu mawanika go.
בחכמתך ובתבונתך עשית לך חיל ותעש זהב וכסף באוצרותיך׃
5 Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi oyongedde okugaggawala, era n’omutima gwo gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”
ברב חכמתך ברכלתך הרבית חילך ויגבה לבבך בחילך׃
6 Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Kubanga olowooza ng’oli mugezi, ng’oli mugezi nga katonda,
לכן כה אמר אדני יהוה יען תתך את לבבך כלב אלהים׃
7 kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba, ab’omu mawanga agasinga obukambwe, ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go, ne boonoona okumasamasa kwo.
לכן הנני מביא עליך זרים עריצי גוים והריקו חרבותם על יפי חכמתך וחללו יפעתך׃
8 Balikusuula mu bunnya n’ofiira eyo okufa okubi wakati mu gayanja.
לשחת יורדוך ומתה ממותי חלל בלב ימים׃
9 Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’ mu maaso gaabo abakutta? Oliba muntu buntu so si katonda mu mikono gy’abo abakutta.
האמר תאמר אלהים אני לפני הרגך ואתה אדם ולא אל ביד מחלליך׃
10 Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga, nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”
מותי ערלים תמות ביד זרים כי אני דברתי נאם אדני יהוה׃
11 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר׃
12 “Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi era nga watuukirira mu bulungi.
בן אדם שא קינה על מלך צור ואמרת לו כה אמר אדני יהוה אתה חותם תכנית מלא חכמה וכליל יפי׃
13 Wali mu Adeni, ennimiro ya Katonda; buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako, sadio, topazi, alimasi, berulo, onuku, yasipero, safiro, ejjinja erya nnawandagala. Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu. Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
בעדן גן אלהים היית כל אבן יקרה מסכתך אדם פטדה ויהלם תרשיש שהם וישפה ספיר נפך וברקת וזהב מלאכת תפיך ונקביך בך ביום הבראך כוננו׃
14 Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta, nakwawula lwa nsonga eyo. Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda, n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
את כרוב ממשח הסוכך ונתתיך בהר קדש אלהים היית בתוך אבני אש התהלכת׃
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna okuva ku lunaku lwe watondebwa, okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
תמים אתה בדרכיך מיום הבראך עד נמצא עולתה בך׃
16 Mu bikolwa byo ebingi, wajjula empisa embi, era n’okola ebibi. Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda, mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga okuva mu mayinja ag’omuliro.
ברב רכלתך מלו תוכך חמס ותחטא ואחללך מהר אלהים ואבדך כרוב הסכך מתוך אבני אש׃
17 Omutima gwo gwalina amalala olw’obulungi bwo, ne weelimbalimba olw’ekitiibwa kyo. Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
גבה לבך ביפיך שחת חכמתך על יפעתך על ארץ השלכתיך לפני מלכים נתתיך לראוה בך׃
18 Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo oyonoonye ebifo byo ebitukuvu. Kyenava nziggya omuliro mu ggwe ne gukusaanyaawo, ne nkufuula evvu ku nsi wakati mu abo bonna abaakulabanga.
מרב עוניך בעול רכלתך חללת מקדשיך ואוצא אש מתוכך היא אכלתך ואתנך לאפר על הארץ לעיני כל ראיך׃
19 Amawanga gonna agaakumanya gaatya nnyo; otuuse ku nkomerero embi, so tolibeerawo nate ennaku zonna.’”
כל יודעיך בעמים שממו עליך בלהות היית ואינך עד עולם׃
20 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר׃
21 “Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi,
בן אדם שים פניך אל צידון והנבא עליה׃
22 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni, era ndyegulumiza mu ggwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimubonereza, ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
ואמרת כה אמר אדני יהוה הנני עליך צידון ונכבדתי בתוכך וידעו כי אני יהוה בעשותי בה שפטים ונקדשתי בה׃
23 Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa omusaayi mu nguudo ze. Abafu baligwa wakati mu ye, ekitala kimulumbe enjuuyi zonna. Olwo balimanya nga nze Mukama.
ושלחתי בה דבר ודם בחוצותיה ונפלל חלל בתוכה בחרב עליה מסביב וידעו כי אני יהוה׃
24 “‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.
ולא יהיה עוד לבית ישראל סלון ממאיר וקוץ מכאב מכל סביבתם השאטים אותם וידעו כי אני אדני יהוה׃
25 “‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo.
כה אמר אדני יהוה בקבצי את בית ישראל מן העמים אשר נפצו בם ונקדשתי בם לעיני הגוים וישבו על אדמתם אשר נתתי לעבדי ליעקב׃
26 Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’”
וישבו עליה לבטח ובנו בתים ונטעו כרמים וישבו לבטח בעשותי שפטים בכל השאטים אתם מסביבותם וידעו כי אני יהוה אלהיהם׃

< Ezeekyeri 28 >