< Ezeekyeri 27 >

1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר׃
2 “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo.
ואתה בן אדם שא על צר קינה׃
3 Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ggwe Ttuulo oyogera nti, “Natuukirira mu bulungi.”
ואמרת לצור הישבתי על מבואת ים רכלת העמים אל איים רבים כה אמר אדני יהוה צור את אמרת אני כלילת יפי׃
4 Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati, era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
בלב ימים גבוליך בניך כללו יפיך׃
5 Baakola embaawo zo zonna mu miberosi gya Seniri, ne baddira emivule egy’e Lebanooni ne bakolamu omulongooti.
ברושים משניר בנו לך את כל לחתים ארז מלבנון לקחו לעשות תרן עליך׃
6 Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani, n’emmanga zo, bazikola mu nzo, ez’oku bizinga ebya Kittimu, nga bazaaliiridde n’amasanga.
אלונים מבשן עשו משוטיך קרשך עשו שן בת אשרים מאיי כתים׃
7 Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri, era lyakozesebwanga ebendera; n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
שש ברקמה ממצרים היה מפרשך להיות לך לנס תכלת וארגמן מאיי אלישה היה מכסך׃
8 Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi, n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
ישבי צידון וארוד היו שטים לך חכמיך צור היו בך המה חבליך׃
9 Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe, era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo; ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe; nga bagula ebyamaguzi byo.
זקני גבל וחכמיה היו בך מחזיקי בדקך כל אניות הים ומלחיהם היו בך לערב מערבך׃
10 “‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti, baali mu ggye lyo, era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo ne bakuwa ekitiibwa.
פרס ולוד ופוט היו בחילך אנשי מלחמתך מגן וכובע תלו בך המה נתנו הדרך׃
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna; abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo, era be baakulabisanga obulungi.
בני ארוד וחילך על חומותיך סביב וגמדים במגדלותיך היו שלטיהם תלו על חומותיך סביב המה כללו יפיך׃
12 “‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.
תרשיש סחרתך מרב כל הון בכסף ברזל בדיל ועופרת נתנו עזבוניך׃
13 “‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.
יון תבל ומשך המה רכליך בנפש אדם וכלי נחשת נתנו מערבך׃
14 “‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.
מבית תוגרמה סוסים ופרשים ופרדים נתנו עזבוניך׃
15 “‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.
בני דדן רכליך איים רבים סחרת ידך קרנות שן והובנים השיבו אשכרך׃
16 “‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.
ארם סחרתך מרב מעשיך בנפך ארגמן ורקמה ובוץ וראמת וכדכד נתנו בעזבוניך׃
17 “‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.
יהודה וארץ ישראל המה רכליך בחטי מנית ופנג ודבש ושמן וצרי נתנו מערבך׃
18 “‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari.
דמשק סחרתך ברב מעשיך מרב כל הון ביין חלבון וצמר צחר׃
19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.
ודן ויון מאוזל בעזבוניך נתנו ברזל עשות קדה וקנה במערבך היה׃
20 “‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.
דדן רכלתך בבגדי חפש לרכבה׃
21 “‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.
ערב וכל נשיאי קדר המה סחרי ידך בכרים ואילים ועתודים בם סחריך׃
22 “‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.
רכלי שבא ורעמה המה רכליך בראש כל בשם ובכל אבן יקרה וזהב נתנו עזבוניך׃
23 “‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe.
חרן וכנה ועדן רכלי שבא אשור כלמד רכלתך׃
24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.
המה רכליך במכללים בגלומי תכלת ורקמה ובגנזי ברמים בחבלים חבשים וארזים במרכלתך׃
25 “‘Ebyombo eby’e Talusiisi bye byatambuzanga ebyamaguzi byo. Era wajjula n’oba n’ebintu bingi wakati mu nnyanja.
אניות תרשיש שרותיך מערבך ותמלאי ותכבדי מאד בלב ימים׃
26 Abakubi b’enkasi bakutwala awali amayengo amangi. Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera wakati mu nnyanja.
במים רבים הביאוך השטים אתך רוח הקדים שברך בלב ימים׃
27 Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo, n’abalunnyanja bo, n’abagoba bo, n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna na buli muntu ali ku kyombo balibbira wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
הונך ועזבוניך מערבך מלחיך וחבליך מחזיקי בדקך וערבי מערבך וכל אנשי מלחמתך אשר בך ובכל קהלך אשר בתוכך יפלו בלב ימים ביום מפלתך׃
28 Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo, kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
לקול זעקת חבליך ירעשו מגרשות׃
29 Abakubi b’enkasi bonna balyabulira ebyombo byabwe; n’abagoba n’abalunnyanja bonna baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
וירדו מאניותיהם כל תפשי משוט מלחים כל חבלי הים אל הארץ יעמדו׃
30 Baliyimusa amaloboozi gaabwe ne bakukaabira nnyo; era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe ne beevulunga mu vvu.
והשמיעו עליך בקולם ויזעקו מרה ויעלו עפר על ראשיהם באפר יתפלשו׃
31 Balikumwera emitwe gyabwe, era Balyambala ebibukutu. Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
והקריחו אליך קרחה וחגרו שקים ובכו אליך במר נפש מספד מר׃
32 Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe nga boogera nti, Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo eyeetooloddwa ennyanja?
ונשאו אליך בניהם קינה וקוננו עליך מי כצור כדמה בתוך הים׃
33 Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja, amawanga mangi gamalibwanga; era ne bakabaka b’ensi baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
בצאת עזבוניך מימים השבעת עמים רבים ברב הוניך ומערביך העשרת מלכי ארץ׃
34 Kaakano ennyanja ekumazeewo, mu buziba bw’amazzi; ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo bonna babbidde naawe.
עת נשברת מימים במעמקי מים מערבך וכל קהלך בתוכך נפלו׃
35 Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja bafunye ensisi, era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
כל ישבי האיים שממו עליך ומלכיהם שערו שער רעמו פנים׃
36 Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa; otuuse ku nkomerero embi, so tolibeerawo nate ennaku zonna.’”
סחרים בעמים שרקו עליך בלהות היית ואינך עד עולם׃

< Ezeekyeri 27 >