< Ezeekyeri 25 >
1 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 “Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi.
3 Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse,
4 kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe.
5 Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama.
6 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri,
7 kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’”
8 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,”
9 kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo.
10 Ndiwaayo abantu ab’e Mowaabu wamu n’abantu ab’e Amoni eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga,
11 era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze Mukama.’”
12 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo,
13 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala.
14 Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’”
15 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza n’ettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, n’obukambwe obw’edda,
16 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza.
17 Ndibawoolera eggwanga n’ebibonerezo eby’amaanyi eby’ekiruyi. Balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’”