< Ezeekyeri 24 >

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי בשנה התשיעית בחדש העשירי בעשור לחדש לאמר׃
2 “Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero.
בן אדם כתוב לך את שם היום את עצם היום הזה סמך מלך בבל אל ירושלם בעצם היום הזה׃
3 Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Muteeke entamu ku kyoto, musseemu amazzi.
ומשל אל בית המרי משל ואמרת אליהם כה אמר אדני יהוה שפת הסיר שפת וגם יצק בו מים׃
4 Mugiteekemu ebifi eby’ennyama, ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono. Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi,
אסף נתחיה אליה כל נתח טוב ירך וכתף מבחר עצמים מלא׃
5 mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo, Oteeke ebisiki wansi w’entamu, mweseze ebigirimu, era ofumbe n’amagumba agalimu.
מבחר הצאן לקוח וגם דור העצמים תחתיה רתח רתחיה גם בשלו עצמיה בתוכה׃
6 “‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, ggwe entamu eriko enziro, eteereddwamu ebintu ebitaaveemu. Gyamu ekifi kimu kimu awatali kukuba kalulu.
לכן כה אמר אדני יהוה אוי עיר הדמים סיר אשר חלאתה בה וחלאתה לא יצאה ממנה לנתחיה לנתחיה הוציאה לא נפל עליה גורל׃
7 “‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye, yaguyiwa ku lwazi olwereere; teyaguyiwa wansi enfuufu ereme okugubikka.
כי דמה בתוכה היה על צחיח סלע שמתהו לא שפכתהו על הארץ לכסות עליו עפר׃
8 Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere, guleme okubikkibwako.
להעלות חמה לנקם נקם נתתי את דמה על צחיח סלע לבלתי הכסות׃
9 “‘Mukama Katonda kyava ayogera nti, “‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi! Nange ndituuma enku nnyingi ddala.
לכן כה אמר אדני יהוה אוי עיר הדמים גם אני אגדיל המדורה׃
10 Mutuume ebisiki, mukume omuliro, ennyama mugifumbe bulungi, mugiteekemu ebirungo, n’amagumba gasiriire.
הרבה העצים הדלק האש התם הבשר והרקח המרקחה והעצמות יחרו׃
11 Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga, okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera, ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka, n’ebyateekebbwamu ne byokebwa.
והעמידה על גחליה רקה למען תחם וחרה נחשתה ונתכה בתוכה טמאתה תתם חלאתה׃
12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere, kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu, n’omuliro nagwo tegubyokeza.
תאנים הלאת ולא תצא ממנה רבת חלאתה באש חלאתה׃
13 “‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.
בטמאתך זמה יען טהרתיך ולא טהרת מטמאתך לא תטהרי עוד עד הניחי את חמתי בך׃
14 “‘Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda.’”
אני יהוה דברתי באה ועשיתי לא אפרע ולא אחוס ולא אנחם כדרכיך וכעלילותיך שפטוך נאם אדני יהוה׃
15 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר׃
16 “Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba.
בן אדם הנני לקח ממך את מחמד עיניך במגפה ולא תספד ולא תבכה ולוא תבוא דמעתך׃
17 Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.”
האנק דם מתים אבל לא תעשה פארך חבוש עליך ונעליך תשים ברגליך ולא תעטה על שפם ולחם אנשים לא תאכל׃
18 Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa.
ואדבר אל העם בבקר ותמת אשתי בערב ואעש בבקר כאשר צויתי׃
19 Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?”
ויאמרו אלי העם הלא תגיד לנו מה אלה לנו כי אתה עשה׃
20 Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira n’aŋŋamba nti,
ואמר אליהם דבר יהוה היה אלי לאמר׃
21 Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala.
אמר לבית ישראל כה אמר אדני יהוה הנני מחלל את מקדשי גאון עזכם מחמד עיניכם ומחמל נפשכם ובניכם ובנותיכם אשר עזבתם בחרב יפלו׃
22 Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi w’amaaso gammwe newaakubadde okulya emmere ey’omulumbe.
ועשיתם כאשר עשיתי על שפם לא תעטו ולחם אנשים לא תאכלו׃
23 Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku.
ופארכם על ראשיכם ונעליכם ברגליכם לא תספדו ולא תבכו ונמקתם בעונתיכם ונהמתם איש אל אחיו׃
24 Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bw’akoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze Mukama Katonda.’
והיה יחזקאל לכם למופת ככל אשר עשה תעשו בבאה וידעתם כי אני אדני יהוה׃
25 “Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe,
ואתה בן אדם הלוא ביום קחתי מהם את מעזם משוש תפארתם את מחמד עיניהם ואת משא נפשם בניהם ובנותיהם׃
26 ku lunaku olwo aliba awonyeewo y’alikuwa amawulire.
ביום ההוא יבוא הפליט אליך להשמעות אזנים׃
27 Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze Mukama.”
ביום ההוא יפתח פיך את הפליט ותדבר ולא תאלם עוד והיית להם למופת וידעו כי אני יהוה׃

< Ezeekyeri 24 >