< Ezeekyeri 21 >
1 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
2 “Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri,
3 oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe.
4 Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono.
5 Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’
6 “Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike.
7 Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.”
8 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
9 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Ekitala, ekitala, kiwagaddwa era kiziguddwa,
10 kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu! Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda? “‘Ekitala kinyooma buli muggo.
11 “‘Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa kiryoke kinywezebwe mu mukono; kiwagaddwa era kiziguddwa, kiryoke kiweebwe omussi.
12 Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu, kubanga ekyo nkikola bantu bange, era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri. Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange, noolwekyo weekube mu kifuba.
13 “‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ng’omuggo gw’obufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bw’ayogera Mukama Katonda.’
14 “Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu, n’okuba ne mu ngalo. Leka ekitala kisale emirundi ebiri oba emirundi esatu. Kitala kya kutta, okutta okunene, nga kibataayiza enjuuyi zonna,
15 era n’emitima gyabwe girisaanuuka, n’abattiddwa baliba bangi. Ntadde ekitala ekitta ku miryango gyabwe gyonna. Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu era kinywezebbwa olw’okutta.
16 Ggwe ekitala genda osale ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono, ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira.
17 Nange ndikuba mu ngalo, n’ekiruyi kyange kirikkakkana. Nze Mukama njogedde.”
18 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti,
19 “Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga.
20 Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera.
21 Kabaka w’e Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya Mukama; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera n’ekibumba.
22 Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gy’aliteeka ebitomera wankaaki, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gy’aliteeka ebitomera emiryango, n’okuzimba ebitindiro n’ebigo ebikozesebwa okutaayiza.
23 Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe.
24 “Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.
25 “‘Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi w’ebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera eky’okubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala,
26 bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa.
27 Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’
28 “Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe: “‘Ekitala, ekitala, kisowoddwa okutta, Kiziguddwa okusaanyaawo era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.
29 Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba, ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba, ekitala kiriteekebwa ku bulago bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa, olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.
30 “‘Ekitala kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja, eyo gye ndikusalirira omusango.
31 Ndikufukako ekiruyi kyange, ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange, ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo, abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
32 Oliba nku za muliro, n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo, era tolijjukirwa nate, kubanga nze Mukama njogedde.’”