< Ezeekyeri 19 >
1 Kungubagira abalangira ba Isirayiri,
Et tu assume planctum super principes Israel,
2 oyogere nti, “‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi, mu mpologoma! Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento, n’erabirira abaana baayo.
et dices: Quare mater tua leæna inter leones cubavit, in medio leunculorum enutrivit catulos suos?
3 N’ekuza emu ku baana baayo n’efuuka empologoma ey’amaanyi, n’eyiga okuyigga ebisolo, n’okulya abantu.
Et eduxit unum de leunculis suis, et leo factus est: et didicit capere prædam, hominemque comedere.
4 Amawanga gaawulira ebimufaako, n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye, ne bamusibamu amalobo ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.
Et audierunt de eo Gentes, et non absque vulneribus suis ceperunt eum: et adduxerunt eum in catenis in Terram Ægypti.
5 “‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde, ne bye yali alindirira nga biyise, n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala, n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
Quæ cum vidisset quoniam infirmata est, et periit expectatio eius: tulit unum de leunculis suis, leonem constituit eum.
6 N’etambulatambula mu mpologoma, kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi, era n’eyiga okuyigga ensolo, n’okulya abantu.
Qui incedebat inter leones, et factus est leo: et didicit prædam capere, et homines devorare:
7 N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi, n’ezikiriza n’ebibuga byabwe; ensi n’abo bonna abaagibeerangamu, ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
Didicit viduas facere, et civitates earum in desertum adducere: et desolata est terra, et plenitudo eius a voce rugitus illius.
8 Awo amawanga gonna ne gagirumba, okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo, ne bayanjuluza ekitimba kyabwe, ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
Et convenerunt adversus eum Gentes undique de provinciis, et expanderunt super eum rete suum, in vulneribus earum captus est.
9 Ne bakozesa amalobo okugisikayo, ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; n’eteekebwa mu kkomera, n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.
Et miserunt eum in caveam, in catenis adduxerunt eum ad regem Babylonis: miseruntque eum in carcerem, ne audiretur vox eius ultra super montes Israel.
10 “‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro ogwasimbibwa okumpi n’amazzi; ne gubala ebibala ne bijjula amatabi, kubanga waaliwo amazzi mangi.
Mater tua quasi vinea in sanguine tuo super aquam plantata est: fructus eius, et frondes eius creverunt ex aquis multis.
11 Amatabi gaagwo gaali magumu, era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka. Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu okusinga emiti emirala, ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo, n’olw’amatabi gaagwo amangi.
Et factæ sunt ei virgæ solidæ in sceptra dominantium, et exaltata est statura eius inter frondes: et vidit altitudinem suam in multitudine palmitum suorum.
12 Naye gwasigulibwa n’ekiruyi ne gusuulibwa wansi; embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza, ebibala byagwo ne biggwaako, n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala, era ne gwokebwa omuliro.
Et evulsa est in ira, in terramque proiecta, et ventus urens siccavit fructum eius: marcuerunt, et arefactæ sunt virgæ roboris eius: ignis comedit eam.
13 Kaakano gusimbiddwa mu ddungu, awakalu awatali mazzi.
Et nunc transplantata est in desertum, in terra invia, et sitienti.
14 Omuliro gwava ku limu ku matabi, ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo. Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’ Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”
Et egressus est ignis de virga ramorum eius, qui fructum eius comedit: et non fuit in ea virga fortis, sceptrum dominantium. Planctus est, et erit in planctum.