< Ezeekyeri 18 >

1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
ויהי דבר יהוה אלי לאמר
2 “Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti, “‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa, n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?
מה לכם אתם משלים את המשל הזה על אדמת ישראל לאמר אבות יאכלו בסר ושני הבנים תקהינה
3 “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri.
חי אני נאם אדני יהוה אם יהיה לכם עוד משל המשל הזה--בישראל
4 Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.
הן כל הנפשות לי הנה כנפש האב וכנפש הבן לי הנה הנפש החטאת היא תמות
5 “Emmeeme eyonoona ye erifa, omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
ואיש כי יהיה צדיק ועשה משפט וצדקה
6 nga talya mu masabo agali ku nsozi newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri; n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we, newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
אל ההרים לא אכל ועיניו לא נשא אל גלולי בית ישראל ואת אשת רעהו לא טמא ואל אשה נדה לא יקרב
7 omuntu atalyazaamaanya muntu yenna, naye asasula ebbanja lye lyonna, atanyaga muntu yenna, naye emmere ye agigabira abayala, n’ayambaza n’abali obwereere;
ואיש לא יונה--חבלתו חוב ישיב גזלה לא יגזל לחמו לרעב יתן ועירם יכסה בגד
8 atawola lwa magoba newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola. Yeewala okukola ekibi, era asala emisango egy’ensonga.
בנשך לא יתן ותרבית לא יקח--מעול ישיב ידו משפט אמת יעשה בין איש לאיש
9 Agoberera ebiragiro byange, n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa, oyo ye muntu omutuukirivu era aliba mulamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
בחקותי יהלך ומשפטי שמר לעשות אמת צדיק הוא חיה יחיה נאם אדני יהוה
10 “Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo,
והוליד בן פריץ שפך דם ועשה אח מאחד מאלה
11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola: “N’alya mu masabo agali ku nsozi, n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,
והוא את כל אלה לא עשה--כי גם אל ההרים אכל ואת אשת רעהו טמא
12 n’anyigiriza omwavu n’omunaku, n’okubba n’abba, n’atasasula kye yeeyama, n’asinza bakatonda abalala, n’akola eby’ekivve,
עני ואביון הונה--גזלות גזל חבל לא ישיב ואל הגלולים נשא עיניו תועבה עשה
13 n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola; omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
בנשך נתן ותרבית לקח וחי לא יחיה את כל התועבות האלה עשה--מות יומת דמיו בו יהיה
14 “Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;
והנה הוליד בן וירא את כל חטאת אביו אשר עשה ויראה ולא יעשה כהן
15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri, n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
על ההרים לא אכל ועיניו לא נשא אל גלולי בית ישראל את אשת רעהו לא טמא
16 atanyigiriza muntu yenna newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola, atabba, naye agabira emmere abayala n’abali obwereere n’abambaza.
ואיש לא הונה--חבל לא חבל וגזלה לא גזל לחמו לרעב נתן וערום כסה בגד
17 Yeekuuma obutakola kibi, n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde, era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange. Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu.
מעני השיב ידו נשך ותרבית לא לקח--משפטי עשה בחקותי הלך הוא לא ימות בעון אביו--חיה יחיה
18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.
אביו כי עשק עשק גזל גזל אח ואשר לא טוב עשה בתוך עמיו והנה מת בעונו
19 “Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu.
ואמרתם מדע לא נשא הבן בעון האב והבן משפט וצדקה עשה את כל חקותי שמר ויעשה אתם--חיה יחיה
20 Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
הנפש החטאת היא תמות בן לא ישא בעון האב ואב לא ישא בעון הבן--צדקת הצדיק עליו תהיה ורשעת רשע (הרשע) עליו תהיה
21 “Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa.
והרשע כי ישוב מכל חטאתו אשר עשה ושמר את כל חקותי ועשה משפט וצדקה--חיה יחיה לא ימות
22 Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu.
כל פשעיו אשר עשה לא יזכרו לו בצדקתו אשר עשה יחיה
23 Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?
החפץ אחפץ מות רשע נאם אדני יהוה הלוא בשובו מדרכיו וחיה
24 “Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.
ובשוב צדיק מצדקתו ועשה עול ככל התועבות אשר עשה הרשע יעשה וחי--כל צדקתו אשר עשה לא תזכרנה במעלו אשר מעל ובחטאתו אשר חטא בם ימות
25 “Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya?
ואמרתם לא יתכן דרך אדני שמעו נא בית ישראל הדרכי לא יתכן הלא דרכיכם לא יתכנו
26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa.
בשוב צדיק מצדקתו ועשה עול ומת עליהם בעולו אשר עשה ימות
27 Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe.
ובשוב רשע מרשעתו אשר עשה ויעש משפט וצדקה--הוא את נפשו יחיה
28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa.
ויראה וישוב (וישב) מכל פשעיו אשר עשה--חיו יחיה לא ימות
29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?
ואמרו בית ישראל לא יתכן דרך אדני הדרכי לא יתכנו בית ישראל--הלא דרכיכם לא יתכן
30 “Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira.
לכן איש כדרכיו אשפט אתכם בית ישראל--נאם אדני יהוה שובו והשיבו מכל פשעיכם ולא יהיה לכם למכשול עון
31 Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?
השליכו מעליכם את כל פשעיכם אשר פשעתם בם ועשו לכם לב חדש ורוח חדשה ולמה תמתו בית ישראל
32 Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”
כי לא אחפץ במות המת נאם אדני יהוה והשיבו וחיו

< Ezeekyeri 18 >