< Ezeekyeri 13 >
1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ng’agamba nti,
2 “Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama.
3 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye.
4 Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa.
5 Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda.
6 Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde.
7 Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?
8 “‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo.
9 Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.
10 “‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi,
11 kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta.
12 Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”
13 “‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza.
14 Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
15 Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze,
16 abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.”’
17 “Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti,
18 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo?
19 Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.
20 “‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba.
21 Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
22 Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe,
23 ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’”