< Ezeekyeri 1 >

1 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda.
ויהי בשלשים שנה ברביעי בחמשה לחדש ואני בתוך הגולה על נהר כבר נפתחו השמים ואראה מראות אלהים
2 Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini,
בחמשה לחדש--היא השנה החמישית לגלות המלך יויכין
3 ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.
היה היה דבר יהוה אל יחזקאל בן בוזי הכהן בארץ כשדים--על נהר כבר ותהי עליו שם יד יהוה
4 Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa.
וארא והנה רוח סערה באה מן הצפון ענן גדול ואש מתלקחת ונגה לו סביב ומתוכה--כעין החשמל מתוך האש
5 Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu.
ומתוכה--דמות ארבע חיות וזה מראיהן--דמות אדם להנה
6 Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina.
וארבעה פנים לאחת וארבע כנפים לאחת להם
7 Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule.
ורגליהם רגל ישרה וכף רגליהם ככף רגל עגל ונצצים כעין נחשת קלל
8 Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro,
וידו (וידי) אדם מתחת כנפיהם על ארבעת רבעיהם ופניהם וכנפיהם לארבעתם
9 era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega.
חברת אשה אל אחותה כנפיהם לא יסבו בלכתן איש אל עבר פניו ילכו
10 Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu.
ודמות פניהם פני אדם ופני אריה אל הימין לארבעתם ופני שור מהשמאול לארבעתן ופני נשר לארבעתן
11 Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo.
ופניהם וכנפיהם פרדות מלמעלה לאיש שתים חברות איש ושתים מכסות את גויתיהנה
12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega.
ואיש אל עבר פניו ילכו אל אשר יהיה שמה הרוח ללכת ילכו לא יסבו בלכתן
13 Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa.
ודמות החיות מראיהם כגחלי אש בערות כמראה הלפדים--היא מתהלכת בין החיות ונגה לאש ומן האש יוצא ברק
14 Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu.
והחיות רצוא ושוב כמראה הבזק
15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina.
וארא החיות והנה אופן אחד בארץ אצל החיות לארבעת פניו
16 Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo, zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo.
מראה האופנים ומעשיהם כעין תרשיש ודמות אחד לארבעתן ומראיהם ומעשיהם כאשר יהיה האופן בתוך האופן
17 Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula.
על ארבעת רבעיהן בלכתם ילכו לא יסבו בלכתן
18 Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso.
וגביהן--וגבה להם ויראה להם וגבתם מלאת עינים סביב--לארבעתן
19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka.
ובלכת החיות ילכו האופנים אצלם ובהנשא החיות מעל הארץ ינשאו האופנים
20 Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga.
על אשר יהיה שם הרוח ללכת ילכו שמה הרוח ללכת והאופנים ינשאו לעמתם כי רוח החיה באופנים
21 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga.
בלכתם ילכו ובעמדם יעמדו ובהנשאם מעל הארץ ינשאו האופנים לעמתם--כי רוח החיה באופנים
22 Waggulu w’emitwe gy’ebiramu waliwo ekifaananyi eky’ekifo ekigazi, ekyatemagananga ng’omuzira.
ודמות על ראשי החיה רקיע כעין הקרח הנורא--נטוי על ראשיהם מלמעלה
23 Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo.
ותחת הרקיע כנפיהם ישרות אשה אל אחותה לאיש שתים מכסות להנה ולאיש שתים מכסות להנה את גויתיהם
24 Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
ואשמע את קול כנפיהם כקול מים רבים כקול שדי בלכתם--קול המלה כקול מחנה בעמדם תרפינה כנפיהן
25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo.
ויהי קול--מעל לרקיע אשר על ראשם בעמדם תרפינה כנפיהן
26 Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu.
וממעל לרקיע אשר על ראשם כמראה אבן ספיר דמות כסא ועל דמות הכסא דמות כמראה אדם עליו מלמעלה
27 Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna.
וארא כעין חשמל כמראה אש בית לה סביב ממראה מתניו ולמעלה וממראה מתניו ולמטה ראיתי כמראה אש ונגה לו סביב
28 Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama. Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
כמראה הקשת אשר יהיה בענן ביום הגשם כן מראה הנגה סביב--הוא מראה דמות כבוד יהוה ואראה ואפל על פני ואשמע קול מדבר

< Ezeekyeri 1 >