< Okuva 40 >

1 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
locutusque est Dominus ad Mosen dicens
2 “Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kw’olisimbira Eweema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
mense primo die prima mensis eriges tabernaculum testimonii
3 Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi.
et pones in eo arcam dimittesque ante illam velum
4 Oliyingiza emmeeza, n’otegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo ky’ettaala era n’otegekako ettaala zaakwo n’ozikoleeza.
et inlata mensa pones super eam quae rite praecepta sunt candelabrum stabit cum lucernis suis
5 Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky’okwoterezangako obubaane mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, n’ossaawo olutimbe mu mulyango gw’Eweema ya Mukama.
et altare aureum in quo adoletur incensum coram arca testimonii tentorium in introitu tabernaculi pones
6 “Ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso g’omulyango ogwa Weema ya Mukama, Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
et ante illud altare holocausti
7 olyoke oteeke ebbensani wakati wa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, mu bbensani oteekemu amazzi.
labrum inter altare et tabernaculum quod implebis aqua
8 Olikola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama, n’ossaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya.
circumdabisque atrium tentoriis et ingressum eius
9 “Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu.
et adsumpto unctionis oleo ungues tabernaculum cum vasis suis ut sanctificentur
10 Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.
altare holocausti et omnia vasa eius
11 Era n’ebbensani oligimansirako amafuta, ne kw’etuula, n’ogyawula, n’ogitukuza.
labrum cum basi sua omnia unctionis oleo consecrabis ut sint sancta sanctorum
12 “Olireeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’obanaaza n’amazzi,
adplicabisque Aaron et filios eius ad fores tabernaculi testimonii et lotos aqua
13 n’oyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu n’omusiigako amafuta n’omwawula, alyoke ampeereze nga kabona.
14 Olireeta ne batabani be n’obambaza ekkanzu ey’obwakabona,
15 n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.”
indues sanctis vestibus ut ministrent mihi et unctio eorum in sacerdotium proficiat sempiternum
16 Musa bw’atyo n’akola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.
fecitque Moses omnia quae praeceperat Dominus
17 Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama n’esimbibwa.
igitur mense primo anni secundi in prima die mensis conlocatum est tabernaculum
18 Musa n’asimba Eweema ya Mukama; n’ateekateeka ebya wansi mw’etuula, n’ategeka olukangaga lwayo, n’asimba empagi zaayo;
erexitque illud Moses et posuit tabulas ac bases et vectes statuitque columnas
19 n’assaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
et expandit tectum super tabernaculum inposito desuper operimento sicut Dominus imperarat
20 N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;
posuit et testimonium in arca subditis infra vectibus et oraculum desuper
21 n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.
cumque intulisset arcam in tabernaculum adpendit ante eam velum ut expleret Domini iussionem
22 N’ayingiza emmeeza mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’agiteeka ku ludda olw’Obukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru w’eggigi,
posuit et mensam in tabernaculo testimonii ad plagam septentrionalem extra velum
23 n’assaako emigaati ng’agitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
ordinatis coram propositionis panibus sicut praeceperat Dominus Mosi
24 N’assa ekikondo ky’ettaala mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu ku ludda olw’Obukiikaddyo obw’Eweema ya Mukama, okwolekera emmeeza,
posuit et candelabrum in tabernaculum testimonii e regione mensae in parte australi
25 n’ategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
locatis per ordinem lucernis iuxta praeceptum Domini
26 N’ayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’eggigi,
posuit et altare aureum sub tecto testimonii contra velum
27 n’ayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
et adolevit super eo incensum aromatum sicut iusserat Dominus
28 N’ateeka olutimbe olw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu kifo kyalwo.
posuit et tentorium in introitu tabernaculi
29 N’ateeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gw’Eweema ya Mukama, Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’aweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa eky’obuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa.
et altare holocausti in vestibulo testimonii offerens in eo holocaustum et sacrificia ut Dominus imperarat
30 N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba;
labrum quoque statuit inter tabernaculum testimonii et altare implens illud aqua
31 Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe n’ebigere byabwe.
laveruntque Moses et Aaron ac filii eius manus suas et pedes
32 Buli lwe baayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
cum ingrederentur tectum foederis et accederent ad altare sicut praeceperat Dominus
33 N’akola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’assaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bw’atyo Musa omulimu n’agumaliriza.
erexit et atrium per gyrum tabernaculi et altaris ducto in introitu eius tentorio postquam cuncta perfecta sunt
34 Awo ekire ne kibuutikira Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama.
operuit nubes tabernaculum testimonii et gloria Domini implevit illud
35 Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.
nec poterat Moses ingredi tectum foederis nube operiente omnia et maiestate Domini coruscante quia cuncta nubes operuerat
36 Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula;
si quando nubes tabernaculum deserebat proficiscebantur filii Israhel per turmas suas
37 naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako.
si pendebat desuper manebant in eodem loco
38 Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.
nubes quippe Domini incubabat per diem tabernaculo et ignis in nocte videntibus populis Israhel per cunctas mansiones suas

< Okuva 40 >