< Okuva 31 >
1 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
L’Éternel parla à Moïse en ces termes:
2 “Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda;
"Vois, j’ai désigné expressément Beçalêl, fils d’Ouri, fils de Hour, de la tribu de Juda,
3 era mmujjuzza Omwoyo wa Katonda, n’okumanya, n’obusobozi n’amagezi mu kukola ebitali bimu ebyemikono
et je l’ai rempli d’une inspiration divine, d’habileté, de jugement, de science, et d’aptitude pour tous les arts.
4 okutetenkanya ebintu ebinaakolebwa mu zaabu ne ffeeza n’ekikomo, nga bwe binaafaanana,
Il saura combiner les tissus; mettre en œuvre l’or, l’argent et le cuivre,
5 okwola amayinja n’okugategeka, n’okwola emiti, era n’okukola byonna ebyemikono ebya buli ngeri.
mettre en œuvre et enchâsser la pierre, travailler le bois, exécuter toute espèce d’ouvrage.
6 Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba. “Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:
De plus, je lui ai adjoint Oholiab, fils d’Ahisamak, de la tribu de Dan ainsi que d’autres esprits industrieux que j’ai doués d’habileté. Ils exécuteront tout ce que je t’ai prescrit:
7 “Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano n’ekibikkako eky’entebe ey’okusaasira, awamu n’ebikozesebwa byonna mu Weema,
la Tente d’Assignation, l’arche destinée aux Statuts, le propitiatoire qui doit la couvrir et toutes les pièces de la Tente;
8 emmeeza n’ebigenderako, ekikondo ekya zaabu omuka eky’ettaala n’ebigenderako, n’ekyoto eky’obubaane,
la table avec ses accessoires, le candélabre d’or pur avec tous ses ustensiles et l’autel du parfum;
9 n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebigenderako, n’ebbensani ne kw’etuula;
l’autel de l’holocauste et tous ses ustensiles, la cuve et son support;
10 n’ebyambalo ebyalukibwa obulungi, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;
les tapis d’emballage, les vêtements sacrés du pontife Aaron et ceux que ses fils doivent porter lorsqu’ils fonctionnent;
11 n’amafuta ag’okufukibwa, n’ebyakaloosa akalungi ak’omu Kifo Ekitukuvu. “Byonna babikole nga bwe nakulagira.”
l’huile d’onction et le parfum aromatique pour le sanctuaire. Ils se conformeront, en tout, à ce que Je t’ai ordonné."
12 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
L’Éternel parla ainsi à Moïse:
13 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.
"Et toi, parle aux enfants d’Israël en ces termes: Toutefois, observez mes sabbats car c’est un symbole de moi à vous dans toutes vos générations, pour qu’on sache que c’est Moi, l’Éternel qui vous sanctifie.
14 “‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe.
Gardez donc le sabbat, car c’est chose sainte pour vous! Qui le violera sera puni de mort; toute personne même qui fera un travail en ce jour, sera retranchée du milieu de son peuple.
15 Emirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa.
Six jours on se livrera au travail; mais le septième jour il y aura repos, repos complet consacré au Seigneur. Quiconque fera un travail le jour du sabbat sera puni de mort.
16 Noolwekyo abaana ba Isirayiri banaakumanga olunaku lwa Ssabbiiti, nga balujjukira mu mirembe gyabwe gyonna, ng’endagaano etaggwaawo.
Les enfants d’Israël seront donc fidèles au sabbat, en l’observant dans toutes leurs générations comme un pacte immuable.
17 Kanaabeeranga kabonero wakati wange n’abaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Mukama yakola eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olw’omusanvu n’alekeraawo okukola, n’awummula.’”
Entre moi et les enfants d’Israël c’est un symbole perpétuel, attestant qu’en six jours, l’Éternel a fait les cieux et la terre, et que, le septième jour, il a mis fin à l’œuvre et s’est reposé."
18 Awo Mukama bwe yamaliriza okwogera ne Musa ku lusozi Sinaayi, n’awa Musa ebipande bibiri eby’amayinja, eby’Endagaano Katonda gye yawandiika n’engalo ye, ye kennyini.
Dieu donna à Moïse, lorsqu’il eut achevé de s’entretenir avec lui sur le mont Sinaï, les deux tables du Statut, tables de pierre, burinées par le doigt de Dieu.