< Okuva 30 >
1 “Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane.
2 Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi.
3 Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola.
4 Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa.
5 Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu.
6 Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.
7 “Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala.
8 Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.
9 Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa.
10 Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”
11 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
12 “Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu.
13 Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama.
14 Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama.
15 Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe.
16 Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
18 “Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi.
19 Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe.
20 Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro,
21 banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
22 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
23 “Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu;
24 ne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri.
25 Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako.
26 Olyoke osiige n’amafuta ago Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano,
27 n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane,
28 n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula.
29 Obyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
30 “Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona.
31 Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna.
32 Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu.
33 Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’”
34 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito,
35 Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu.
36 Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli.
37 Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama.
38 Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”