< Okuva 3 >
1 Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu.
那時梅瑟為他的岳父,米德楊的司祭耶特洛放羊;一次他趕羊往曠野裏去,到了天主的山曷勒布。
2 Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira.
上主的使者叢荊棘叢火焰中顯現給他;他遠遠看見那荊棘為火焚燒,而荊棘卻沒有燒毀。
3 Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
梅瑟心裏說:「我要到那邊看看這個奇異的現象,為什麼荊棘燒不毀﹖」
4 Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.”
上主見他走來觀看,天主便由荊棘叢中叫他說:「梅瑟! 梅瑟! 」他答說:「我在這裏。」
5 Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.”
天主說:「不可到這邊來! 將你腳上的鞋脫下,因為你所站的地方是聖地。」
6 Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.” Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
又說:「我是你父親的天主,亞巴郎的天主,依撒格的天主,雅各伯的天主。」梅瑟因為怕看見天主,就把臉遮起來。
7 Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe.
上主說:「我看見我的百姓在埃及所受的痛苦,聽見她們因工頭的壓迫而發出的哀號;我以注意到他們的痛苦。
8 Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi.
所以我要下去整救百姓脫離埃及人的手,領他們離開那地方,到一個美麗寬闊的地方,流奶流蜜的地方,就是客納罕人、赫特人、阿摩黎人、培黎齊人、希威人和耶步斯人的地方。
9 Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya.
現在以色列子民的哀號已達於我前,我也親自看見埃及人加於他們的壓迫。
10 Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”
所以你來,我要派你到法朗那裏,率領我的百姓以色列出離埃及。」
11 Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?”
梅瑟對天主說:「我是誰,竟敢去見法朗,率領以色列子民出離埃及﹖」
12 Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.”
上主回答說:「我必與你同在;幾時你將我的百姓由埃及領出來,你們要在這座山上崇拜天主,你要以此作為我派你的憑據。」啟示上主的名字
13 Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
梅瑟對天主說:「當我到以色列子民那裏,向他們說:你們主先的天主打﹖我到你們這裏來時,他們必要問我:他叫什麼名字﹖我要回答他們什麼呢﹖」
14 Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’”
天主向梅瑟說:「我是自有者。」又說:「你要這樣對以色列子民說:那「自有者」打發我到你們這裏來。」
15 Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’ “Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera, era lye linnya lye nnajjuukirirwangako mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
天主又對梅瑟說:「你要這樣對以色列子民說:上主,你們祖先的天主,亞巴郎的天主,依撒格的天主和雅各伯的天主,打發我到你們這裏來,這是我的名字,直到永遠;這是我的稱號,直到萬世。
16 “Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri.
你去召集以色列的長老,對他們說:上主,你們祖先的天主,亞巴郎的天主,依撒格的天主和雅各伯的天主顯現給我說:我實在注意到你們和你們在埃及所遭遇到的一切。
17 Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi; y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’
因此我決意領你們擺脫埃及人的壓迫,到客納罕人,赫特人,阿摩黎人,培黎齊人,希威人和耶步斯人的地方,即流奶流蜜的地方。
18 “Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’
他們必會聽你的話。你要同以色列的長老去見埃及王,對他說:上主,希伯來人的天主遇見了我們;現今請讓我們走三天的路程,到曠野裏向上主我們的天主舉行祭獻。
19 Naye mmanyi nga kabaka w’e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng’awalirizibbwa n’amaanyi mangi.
但是我知道,若不用強硬的手段,埃及王決不會讓你們走。
20 Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri n’ebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; n’oluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.
因此,我要在埃及顯各種奇蹟,打擊那地;以後他才放你們走。
21 “Era Abamisiri ndibaagazisa abantu abo; bwe mutyo bwe muliba musitula, temulivaayo ngalo nsa.
我必要使這百姓在埃及人眼中蒙恩,因此,你們離去時不致空手而走。
22 Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, n’oyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza n’ebya zaabu, n’engoye ez’okwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”
各個婦人應向鄰舍的婦女,向住在自己家中的女人索取金鉓、銀飾和 衣服,穿戴在你們子女身上:這樣你們就剝奪人埃及人。」