< Okuva 27 >
1 “Zimba ekyoto mu miti gya akasiya, obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, n’obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu.
Make an altar of acacia wood. It is to be square and measure five cubits long by five cubits wide by three cubits high.
2 Era ku nsonda zaakyo ennya kolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe bibajjiddwa bumu mu muti gumu; ekyoto kyonna olyoke okibikkeko ekikomo.
Make horns for each of its corners, all one piece with the altar, and cover the whole altar with bronze.
3 Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo.
Make all its utensils of bronze: buckets for removing ashes, shovels, sprinkling bowls, meat forks, and firepans.
4 Ekyoto kikolere ekitindiro eky’obutimba eky’ebyuma eby’ekikomo; ku nsonda ennya ez’ekitindiro olyoke okolereko empeta nnya ez’ekikomo.
Make a bronze mesh grate for it with a bronze ring on each of its corners.
5 Leebeeseza ekitindiro ekyo mu kyoto, nga waggulu kinyweredde ku muziziko ne kireebeeta okukoma wakati ng’ekyoto bwe kikka.
Put the grate under the ledge of the altar, so that the mesh comes halfway down the altar.
6 Kola emisituliro gy’ekyoto mu muti gwa akasiya, ogibikkeko ekikomo.
Make poles of acacia wood for the altar and cover them with bronze.
7 Emisituliro egyo ogiyingize mu mpeta ennya, gibeere ku njuyi zombi ez’ekyoto nga kibadde kisitulwa okubaako gye kitwalibwa.
The poles are to be placed in the rings so that the poles are on either side of the altar when it is carried.
8 Ekyoto kikole n’embaawo, nga wakati kya muwulukwa. Okikole nga bwe kyakulagibwa ku lusozi.
Make the altar hollow, using boards, just as you were shown on the mountain.
9 “Eweema ya Mukama gikolere oluggya. Ku ludda olwa ddyo oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, era nga lulina amagigi aga linena omulebevu alangiddwa,
Make a courtyard for the Tabernacle. For the south side of the courtyard make curtains of finely-spun linen, a hundred cubits long on one side,
10 n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.
with twenty posts and twenty bronze stands, with silver hooks and bands on the posts.
11 Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.
Similarly there are to be curtains placed on the north side in an identical arrangement.
12 “Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi.
The curtains for the west side of the courtyard are to be fifty cubits wide, with ten posts and ten stands.
13 Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi.
The east side of the courtyard that faces the sunrise is to be fifty cubits wide.
14 Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu,
Make the curtains on one side fifteen cubits long, with three posts and three stands,
15 ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.
and the curtains on the other side just the same.
16 “Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya.
The entrance to the courtyard is to be twenty cubits wide, with a curtain embroidered with blue, purple, and crimson thread, and finely-spun linen, held up by four posts and four stands.
17 Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo.
All the posts around the courtyard are to have silver bands, silver hooks, and bronze stands.
18 Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo.
The whole courtyard is to be a hundred cubits long and fifty cubits wide, with curtains made of finely-spun linen five cubits high, and with bronze stands.
19 Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo.
All the rest of the equipment used in the Tabernacle, including its tent pegs and those for the courtyard, are to be made of bronze.
20 “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira.
You are to order the Israelites to bring you pure, hand-pressed olive oil for the lamps so they can go on burning, giving light.
21 Mu kisenge kya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali Mukama okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”
In the Tent of Meeting, outside the veil in front of the Testimony, Aaron and his sons are to keep the lamps burning in the Lord's presence from evening until morning. This requirement is to be observed by the Israelites for all generations.