< Okuva 26 >
1 “Onookola Weema n’emitanda gy’entimbe kkumi, nga girukiddwa mu wuzi eza linena omulebevu alangiddwa n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu. Omutunzi ow’amagezi ennyo akoleremu bakerubi.
And you are to make a House for me, with ten curtains of the best linen, blue and purple and red, worked with designs of winged ones by a good workman.
2 Emitanda gy’entimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
Every curtain is to be twenty-eight cubits long and four cubits wide, all of the same measure.
3 Emitanda gy’entimbe etaano onoogigatta wamu, ng’ogisengese gumu ku gunnaagwo, era ne ginnaagyo ettaano ogikole bw’otyo.
Five curtains are to be joined together, and the other five are to be joined together.
4 Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe ettaano, era okole bw’otyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri.
And you are to put twists of blue cord on the edge of the outside curtain of the first group of five, and on the edge of the outside curtain of the second group of five;
5 Otunge eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gw’entimbe ogumu, n’eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe mu kitundu ekikomererayo, eŋŋango ezo nga zoolekaganye.
Fifty twists on one curtain and fifty on the other, the twists to be opposite one another.
6 Okole ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okwase wamu emitanda gy’entimbe gyombi n’ebikwaso ebyo, olwo Eweema ya Mukama ebeere wamu nga nnamba.
Then make fifty gold hooks, joining the curtains together by the hooks, and in this way the House will be made.
7 “Okole entimbe kkumi na lumu nga zilukiddwa mu bwoya bw’embuzi, ozibikke ku Weema.
And you are to make curtains of goats' hair for a tent over the House, eleven curtains.
8 Entimbe zonna ekkumi n’olumu zijja kwenkanankana obunene: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
Every curtain is to be thirty cubits long and four cubits wide, all of the same measure.
9 Ogatte entimbe ttaano wamu, n’entimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olw’omukaaga oluwetemu mu maaso g’Eweema.
Five of these curtains are to be joined together, and the other six are to be joined together, the sixth being folded over to make a hanging in front of the tent.
10 Ojja kutunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ky’entimbe ekimu, ne ku mukugiro gw’olutimbe olukomererayo mu kitundu ekyokubiri.
And you are to put fifty twists of cord on the edge of the outside curtain of one group, and fifty twists on the edge of the outside curtain of the other group.
11 Okole ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, obiyise mu ŋŋango, bikwate ekibikka ku Weema, ebeere wamu nga nnamba.
Then make fifty brass hooks and put the hooks into the twists, joining the tent together to make it one.
12 Ekitundu ky’entimbe ekisigaddewo ku masuuka g’ebibikka ku Weema kijja kuleebeetera emabega wa Weema.
And the folded part which is over of the curtains of the tent, the half-curtain which is folded back, will be hanging down over the back of the House.
13 Entimbe z’ekibikka ku Weema mu mbiriizi zombi ziyise Eweema kitundu kya mita emu mu buwanvu. Ebitundu bino byombi bijja kuleebeetera mu mbiriizi zombi eza Weema nga bigibisse.
And the cubit which is over of the ten curtains at the sides will be hanging over the two sides of the House as a cover.
14 Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako eky’amaliba g’endiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba g’ente ey’omu nnyanja.
And then you are to make a cover for the tent, of sheepskins coloured red, and a cover of leather over that.
15 “Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gw’Eweema kweneetuula.
And you are to make upright boards of hard wood for the House.
16 Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
Every board is to be ten cubits high and a cubit and a half wide.
17 Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ozikole bw’otyo.
Every board is to be joined to the one nearest to it by two tongues, and so for every board in the House.
18 Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema,
These are the boards needed for the house; twenty boards for the south side,
19 era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
With forty silver bases under the twenty boards, two bases under every board to take its tongues.
20 Ku ludda olwa bukiikakkono olw’Eweema okolereyo embaawo amakumi abiri,
And twenty boards for the second side of the house on the north,
21 n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo.
With their forty silver bases, two under every board.
22 Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olw’emabega, lwe lw’ebugwanjuba bwa Weema;
And six boards for the back of the House on the west,
23 era okole embaawo bbiri ez’okussa ku nsonda ku ludda olwo.
With two boards for the angles of the House at the back.
24 Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta.
The two are to be joined together at the base and at the top to one ring, forming the two angles.
25 Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.
So there are to be eight boards, with their sixteen silver bases, two bases under every board.
26 “Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ez’okukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu,
And make rods of the same wood, five for the boards on the one side,
27 ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba.
And five for the boards on the other side of the House, and five for the west side of the House at the back.
28 Omulabba guyite wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala.
And the middle rod is to go through the rings of all the boards from end to end.
29 Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu.
And the boards are to be plated with gold, having gold rings for the rods to go through: and the rods are to be plated with gold.
30 Eweema onoogizimba ng’ogoberera ekifaananyi ekyakulagibwa ng’oli ku lusozi.
And you are to make the House from the design which you saw on the mountain.
31 “Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi.
And you are to make a veil of the best linen, blue and purple and red, worked with designs of winged ones by a good workman:
32 Oliwanike n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza.
Hanging it by gold hooks from four pillars of wood, plated with gold and fixed in silver bases.
33 Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.
And you are to put up the veil under the hooks, and put inside it the ark of the law: the veil is to be a division between the holy place and the most holy.
34 Onosse ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira ku Ssanduuko ey’Endagaano munda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo.
You are to put the cover on the ark of the law, inside the most holy place.
35 Oddire emmeeza ogisse ku ludda olwa ddyo mu kisenge ebweru w’eggigi mu Weema, n’ettaala ogisse ku ludda olwa kkono ng’eyolekedde emmeeza.
And outside the veil you are to put the table, and the support for the lights opposite the table on the south side of the House; and the table is to be on the north side.
36 “Okole olutimbe lw’omu mulyango gw’Eweema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa omulungi; nga byonna bitungiddwa bulungi.
And you are to make a curtain for the doorway of the Tent, of the best linen with needlework of blue and purple and red.
37 Olutimbe olukolere empagi ttaano ng’ozibazze mu muti gwa akasiya, ozibikkeko zaabu, n’amalobo gaalwo gabe zaabu; ogiweeseze entobo ttaano ez’ekikomo.”
And make five pillars for the curtain, of hard wood plated with gold; their hooks are to be of gold and their bases of brass.