< Okuva 25 >

1 Mukama n’ayogera ne Musa nti,
Locutusque est Dominus ad Moysen, dicens:
2 “Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.
Loquere filiis Israel ut tollant mihi primitias ab omni homine qui offert ultroneus, accipietis eas.
3 “Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa: “zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
Haec sunt autem quae accipere debeatis: Aurum, et argentum, et aes,
4 n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi; n’obwoya bw’embuzi,
hyacinthum et purpuram, coccumque bis tinctum, et byssum, pilos caprarum,
5 n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi; n’embaawo z’omuti gwa akasiya;
et pelles arietum rubricatas, pellesque ianthinas, et ligna setim:
6 n’amafuta g’ettaala; n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza;
oleum ad luminaria concinnanda: aromata in unguentum, et thymiamata boni odoris:
7 n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, era ne ku kyomukifuba.
lapides onychinos, et gemmas ad ornandum ephod, ac rationale.
8 “Bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo.
Facientque mihi sanctuarium, et habitabo in medio eorum:
9 Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.
iuxta omnem similitudinem tabernaculi quod ostendam tibi, et omnium vasorum in cultum eius: sicque facietis illud:
10 “Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
Arcam de lignis setim compingite, cuius longitudo habeat duos et semis cubitos: latitudo, cubitum et dimidium: altitudo, cubitum similiter ac semissem.
11 Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu.
Et deaurabis eam auro mundissimo intus et foris: faciesque supra, coronam auream per circuitum:
12 Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala.
et quattuor circulos aureos, quos pones per quattuor arcae angulos: duo circuli sint in latere uno, et duo in altero.
13 Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu.
Facies quoque vectes de lignis setim, et operies eos auro.
14 Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko.
Inducesque per circulos qui sunt in arcae lateribus, ut portetur in eis:
15 Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu.
qui semper erunt in circulis, nec umquam extrahentur ab eis.
16 Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.
Ponesque in arca testificationem quam dabo tibi.
17 “Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
Facies et propitiatorium de auro mundissimo: duos cubitos et dimidium tenebit longitudo eius, et cubitum ac semissem latitudo.
18 Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira.
Duos quoque Cherubim aureos, et productiles facies, ex utraque parte oraculi.
19 Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira.
Cherub unus sit in latere uno, et alter in altero.
20 Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira.
Utrumque latus propitiatorii tegant expandentes alas, et operientes oraculum, respiciantque se mutuo versis vultibus in propitiatorium quo operienda est arca,
21 Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko.
in qua pones testimonium quod dabo tibi.
22 Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
Inde praecipiam, et loquar ad te supra propitiatorium, ac de medio duorum Cherubim, qui erunt super arcam testimonii, cuncta quae mandabo per te filiis Israel.
23 “Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
Facies et mensam de lignis setim, habentem duos cubitos longitudinis, et in latitudine cubitum, et in altitudine cubitum et semissem.
24 Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna.
Et inaurabis eam auro purissimo: faciesque illi labrum aureum per circuitum,
25 Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo.
et ipsi labro coronam interrasilem altam quattuor digitis: et super illam, alteram coronam aureolam.
26 Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana.
Quattuor quoque circulos aureos praeparabis, et pones eis in quattuor angulis eiusdem mensae per singulos pedes.
27 Empeta zijja kubeera waggulu okumpi n’omuge, emisituliro gy’emmeeza mwe ginaayisibwa.
Subter coronam erunt circuli aurei, ut mittantur vectes per eos, et possit mensa portari.
28 Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kw’eneesitulirwanga.
Ipsos quoque vectes facies de lignis setim, et circumdabis auro ad subvehendam mensam.
29 Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo.
Parabis et acetabula, ac phialas, thuribula, et cyathos, in quibus offerenda sunt libamina, ex auro purissimo.
30 Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.
Et pones super mensam panes propositionis in conspectu meo semper.
31 “Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba.
Facies et candelabrum ductile de auro mundissimo, hastile eius, et calamos, scyphos, et sphaerulas, ac lilia ex ipso procedentia.
32 Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala.
Sex calami egredientur de lateribus, tres ex uno latere, et tres ex altero.
33 Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli.
Tres scyphi quasi in nucis modum per calamos singulos, sphaerulaque simul, et lilia: et tres similiter scyphi instar nucis in calamo altero, sphaerulaque simul et lilia. hoc erit opus sex calamorum, qui producendi sunt de hastili:
34 Ku kikondo ky’ettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli by’alumondi nga mulimu emitunsi n’ebimuli.
in ipso autem candelabro erunt quattuor scyphi in nucis modum, sphaerulaeque per singulos, et lilia.
35 Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo.
Sphaerulae sub duobus calamis per tria loca, qui simul sex fiunt procedentes de hastili uno.
36 Emitunsi n’amatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba n’ekikondo ky’ettaala.
Et sphaerulae igitur et calami ex ipso erunt, universa ductilia de auro purissimo.
37 “Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo.
Facies et lucernas septem, et pones eas super candelabrum, ut luceant ex adverso.
38 Makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere.
Emunctoria quoque, et ubi quae emuncta sunt extinguantur, fiant auro purissimo.
39 Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako.
Omne pondus candelabri cum universis vasis suis habebit talentum auri purissimi.
40 Weegendereze, byonna obikole ng’ogoberera ekifaananyi kye nkulaze wano ku lusozi.”
Inspice, et fac secundum exemplar quod tibi in monte monstratum est.

< Okuva 25 >