< Okuva 23 >

1 “Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ng’owa obujulirwa obw’obulimba bulyoke bumuyambe.
לא תשא שמע שוא אל תשת ידך עם רשע להית עד חמס׃
2 “Tokolagananga na kibiina ky’omanyi nga bye kiriko bikyamu. Bw’obanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obw’obulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko;
לא תהיה אחרי רבים לרעת ולא תענה על רב לנטת אחרי רבים להטת׃
3 era towanga bujulirwa bukyamu oyambe omuntu yenna olwokubanga mwavu.
ודל לא תהדר בריבו׃
4 “Bw’osanganga ente y’omulabe wo, oba endogoyi ye, ng’ebuzze ogimuddizangayo eka.
כי תפגע שור איבך או חמרו תעה השב תשיבנו לו׃
5 Bw’olabanga endogoyi y’omuntu atakwagala, ng’omugugu gugisudde wansi, togirekanga, naye omuyambangako okugiyimusa.
כי תראה חמור שנאך רבץ תחת משאו וחדלת מעזב לו עזב תעזב עמו׃
6 “Tolemanga kusalirawo muntu nsonga ze mu bwenkanya, olwokubanga mwavu.
לא תטה משפט אבינך בריבו׃
7 Teweeyingizanga mu nsonga za bulimba, era tottanga muntu atalina kibi oba atazzizza musango, kubanga aliko omusango sigenda kumwejjeereza.
מדבר שקר תרחק ונקי וצדיק אל תהרג כי לא אצדיק רשע׃
8 “Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba omuntu amaaso n’ekyamya n’abatuukirivu.
ושחד לא תקח כי השחד יעור פקחים ויסלף דברי צדיקים׃
9 “Temuwalagganyanga munnaggwanga, kubanga mmwe bennyini mumanyi nga bwe kiri okuba bannaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.
וגר לא תלחץ ואתם ידעתם את נפש הגר כי גרים הייתם בארץ מצרים׃
10 “Mu myaka omukaaga osigirangamu emmere yo mu nnimiro zo era n’ogikungula;
ושש שנים תזרע את ארצך ואספת את תבואתה׃
11 naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka olirekanga ne liwummula, abaavu mu mmwe basobolenga okulya ku mmere okuva mu bimererezi; eneefikkangawo ebisolo by’omu nsiko binaagiryanga. Era bw’otyo bw’onookolanga n’ennimiro zo ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni.
והשביעת תשמטנה ונטשתה ואכלו אביני עמך ויתרם תאכל חית השדה כן תעשה לכרמך לזיתך׃
12 “Mu nnaku omukaaga mw’okoleranga emirimu gyo, naye ku lunaku olw’omusanvu tokolanga, ente yo n’endogoyi yo ziryoke zisobole okuwummulako; ne mutabani w’omuweereza wo, ne munnaggwanga ali mu maka go bawummuleko baddemu endasi.
ששת ימים תעשה מעשיך וביום השביעי תשבת למען ינוח שורך וחמרך וינפש בן אמתך והגר׃
13 “Weegenderezanga n’okolanga byonna bye nkulagidde. Bakatonda abalala toboogerangako, era amannya gaabwe tegayitanga mu kamwa ko.
ובכל אשר אמרתי אליכם תשמרו ושם אלהים אחרים לא תזכירו לא ישמע על פיך׃
14 “Ononkoleranga embaga emirundi esatu buli mwaka.
שלש רגלים תחג לי בשנה׃
15 “Onookolanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Onoolyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu, nga bwe nakulagira. Kino okikolanga mu kiseera ekyategekebwa, mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi ogwo mwe waviira mu nsi y’e Misiri. “Tewabangawo ajja gye ndi engalo ensa.
את חג המצות תשמר שבעת ימים תאכל מצות כאשר צויתך למועד חדש האביב כי בו יצאת ממצרים ולא יראו פני ריקם׃
16 “Onookolanga Embaga ey’Amakungula ey’ebibala ebibereberye eby’ebirime bye wasiga mu nnimiro yo. “Onookolanga Embaga ey’Amayingiza buli nkomerero ya mwaka, bw’onookuŋŋaanyanga ebibala by’omu nnimiro, n’obiyingiza.
וחג הקציר בכורי מעשיך אשר תזרע בשדה וחג האסף בצאת השנה באספך את מעשיך מן השדה׃
17 “Abasajja bonna banajjanga awali Mukama Katonda emirundi egyo esatu buli mwaka.
שלש פעמים בשנה יראה כל זכורך אל פני האדן יהוה׃
18 “Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; n’amasavu aga ssaddaaka yange tegasulangawo kutuusa nkeera.
לא תזבח על חמץ דם זבחי ולא ילין חלב חגי עד בקר׃
19 “Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbanga akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako.
ראשית בכורי אדמתך תביא בית יהוה אלהיך לא תבשל גדי בחלב אמו׃
20 “Laba, ntuma malayika akukulembere, akutuuse bulungi mu kifo kye nteeseteese.
הנה אנכי שלח מלאך לפניך לשמרך בדרך ולהביאך אל המקום אשר הכנתי׃
21 Omuwulirizanga, era ogonderanga by’agamba. Tomujeemeranga; bw’olijeema tagenda kukusonyiwa, kubanga aliba akola mu Linnya lyange.
השמר מפניו ושמע בקלו אל תמר בו כי לא ישא לפשעכם כי שמי בקרבו׃
22 Naye bw’onoowulirizanga eddoboozi lye, n’okola nga bwe ŋŋamba, kale nnaakyawanga abakukyawa, n’abalabe bo banaabanga balabe bange.
כי אם שמע תשמע בקלו ועשית כל אשר אדבר ואיבתי את איביך וצרתי את צרריך׃
23 Malayika wange alikwesooka mu maaso akukulemberenga akutuuse mu nsi y’Abamoli, ne mu y’Abakiiti, ne mu y’Abaperezi, ne mu y’Abakanani, ne mu y’Abakiivi, ne mu y’Abayebusi, nange ndibazikiririza ddala.
כי ילך מלאכי לפניך והביאך אל האמרי והחתי והפרזי והכנעני החוי והיבוסי והכחדתיו׃
24 Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, era tokwatanga mpisa zaabwe, wabula obabetetaranga ddala, n’omenyaamenya n’empagi zaabwe.
לא תשתחוה לאלהיהם ולא תעבדם ולא תעשה כמעשיהם כי הרס תהרסם ושבר תשבר מצבתיהם׃
25 Oweerezanga Mukama Katonda wo yekka, emmere yo n’amazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe;
ועבדתם את יהוה אלהיכם וברך את לחמך ואת מימיך והסרתי מחלה מקרבך׃
26 tewaabengawo mugumba wadde avaamu olubuto. Ennaku z’obulamu bwo zonna nnaazituukirizanga.
לא תהיה משכלה ועקרה בארצך את מספר ימיך אמלא׃
27 “Nnaasindikanga ekikangabwa mu mawanga agaagala okukwolekera, ne ntabulatabula abo bonna abanaakwegezangamu, era abalabe bo nnaabafuumuulanga emisinde.
את אימתי אשלח לפניך והמתי את כל העם אשר תבא בהם ונתתי את כל איביך אליך ערף׃
28 Ndisindika ennumba ne zikukulembera, ne zigoba Abakiivi, n’Abakanani, n’Abakiiti ne bakuviira mu kkubo lyo.
ושלחתי את הצרעה לפניך וגרשה את החוי את הכנעני ואת החתי מלפניך׃
29 Naye mu nsi omwo siribagobamu mu mwaka gumu, ebikande bireme kusukkirira, n’ensolo ez’omu nsiko ne zaala ne zibayitirira obungi.
לא אגרשנו מפניך בשנה אחת פן תהיה הארץ שממה ורבה עליך חית השדה׃
30 Nzijanga kubagobamu mpola mpola, okutuusa nga mwaze ne mulyoka mulya ensi eyo.
מעט מעט אגרשנו מפניך עד אשר תפרה ונחלת את הארץ׃
31 “Ndisala ensalo zammwe okuva ku Nnyanja Emyufu okutuuka ku Nnyanja y’Abafirisuuti, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati. Abantu b’omu nsi omwo ndibabawa, ne mubagobamu.
ושתי את גבלך מים סוף ועד ים פלשתים וממדבר עד הנהר כי אתן בידכם את ישבי הארץ וגרשתמו מפניך׃
32 Temukolanga nabo ndagaano, wadde ne bakatonda baabwe.
לא תכרת להם ולאלהיהם ברית׃
33 Temubakkirizanga kubeera mu nsi yammwe, tebalwa kubanyoomesa biragiro byange; kubanga singa muweereza bakatonda baabwe muliba mugudde mu mutego.”
לא ישבו בארצך פן יחטיאו אתך לי כי תעבד את אלהיהם כי יהיה לך למוקש׃

< Okuva 23 >