4“Omubbi singa akwatibwa lubona nga n’ensolo gy’abbye agirina nnamu, oba nte, oba ndogoyi oba ndiga, anazzangawo bbiri bbiri.
5“Omuntu bw’anaabanga alunda ebisolo bye mu ddundiro lye oba mu nnimiro ye ey’emizabbibu, ensolo ze n’azireka ne zigenda ziriira mu nnimiro y’omuntu omulala; anaasasulanga ku bibala ebisinga obulungi n’ezabbibu ebiva omumwe.
6“Omuliro bwe gunaalandanga ne guyita mu bisaka ne gukwata ennimiro y’omuntu, ne gwokya ebinywa by’eŋŋaano, oba eŋŋaano ekyakula, oba ne guzikiriza ennimiro ye yonna; eyakumye omuliro ogwo anaasasuliranga byonna ebyonoonese.
7“Omuntu bw’anaateresanga munne ensimbi oba ebintu bye ebirala, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw’anaakwatibwanga anaaliwanga emirundi ebiri.
8Naye omubbi bw’ataakwatibwenga, nannyini nnyumba ateekwa agende eri abalamuzi, basalewo obanga ebintu bya munne ye yabitutte.
9Mu buli misango gyonna egy’okubeera n’ebintu mu ngeri emenya amateeka, ng’okubeera n’ente, oba endogoyi, oba endiga, oba ekyambalo, oba ekintu ekirala kyonna ekinaabanga kibuze, omuntu n’amala akyogerako nti, ‘Kino kyange,’ omuntu akirina n’oyo akiyita ekikye banaatwalanga ensonga zaabwe eri abalamuzi. Oyo abalamuzi gwe banaasaliranga nti gumusinze, anaddizangawo munne emirundi ebiri.
10“Omuntu bw’anaateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala yonna; n’emala efa, oba n’erumizibwa, oba n’etwalibwa nga tekitegeerekese agitutte,
11ensonga zaabwe zinaagonjoolwanga nga eyatereka alayidde mu maaso ga Mukama nti ensolo eyo si ye yagibba. Nannyini nsolo ateekwanga okukkiriza ekirayiro ekyo, era taasasulwenga kintu kyonna.