< Okuva 2 >

1 Awo olwatuuka omusajja ow’omu kika kya Leevi, n’agenda n’awasa omukazi, nga naye Muleevi.
有肋末家族的一個男子娶了肋末家族的一個女人為妻。
2 Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu.
這女人懷孕生了一個兒子,見他俊美,就把他藏了三個月。
3 Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira.
以後不能再藏了,就拿了一個蒲草筐子,塗上瀝青和石漆,把孩子放在裏面,將筐放在尼羅河邊的蘆葦叢中。
4 Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.
孩子的姐姐遠遠的站著,想知道孩子究竟怎樣。
5 Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta.
當時法朗的一個公主下到尼羅河邊洗澡,使女們在河邊上徘徊。公主發現蘆葦叢中那個筐子,就吩咐自己的使女將筐子取來。
6 Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”
她打開一看,見有一個孩子正在哭涕,就動了可憐他的心說:「這必是一個希伯來人的孩子。」
7 Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?”
孩子的姐姐就對法朗的公主說:「你願意我從希伯來婦女中給你請一個奶媽,為你乳養這個孩子嗎﹖」
8 Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana!
法兩的公主回答說:「你去罷! 」少女便去叫了孩子的母親來。
9 Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera.
法朗的公主對她說:「你將這孩子抱去,為我乳養他,我必給你工錢。」那婦人就接過去,乳養這個孩子。
10 Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”
孩子長大了,那婦人就把他帶到公主那裏;公主遂收他作自己的兒子,給他起名叫梅瑟,說:「因為我從水裏拉出了他。」梅瑟逃往米德楊
11 Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be.
過了許久梅瑟已經長大,有一次出去探望自己的同胞,看見他們作苦工,又見一個埃及人打他的一個同胞希伯來人;
12 Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu.
他向四面一望,見沒有人,便將那埃及人打死,將他埋在沙土中。
13 Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?”
第二天他又出去,見兩個希伯來人打架,就對那無理的一方說:「你為什麼打你同族的人﹖」
14 Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”
那人回答說:「誰立了你作我們的首領和判官﹖難到你想殺我,像殺那埃及仁一樣嗎﹖」梅瑟就害怕了,心裏想:「那事一定叫人知道了! 」
15 Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani; n’atuula awali oluzzi.
法朗聽說這事,就想殺死梅瑟;而梅瑟卻離開法朗逃走,去了米德楊地,坐在井邊。
16 Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe.
米德楊的司祭有七個女兒,她們來打水,灌滿水槽,要飲父親的羊群。
17 Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe.
別的牧童來了,趕走了她們;,梅瑟便起來保護了她們,也飲了她們的羊。
18 Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri, n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?”
她們回到父親勒烏爾那裏,父親問她們說:「你們今天為什麼回來的這麼快﹖」
19 Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.”
她們回答說:「有一個埃及人救我們擺脫了牧童的手,還給我們打水飲了羊群。」
20 N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”
他對女兒們說:「他在那裏﹖你們為什麼撇下他﹖去請他來吃飯! 」
21 Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we.
於是梅瑟決定住在那人那裏,那人將自己的女兒漆頗辣給了梅瑟為妻。
22 Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
她生了一個兒子,梅瑟給他起名叫革爾熊,因為他說:「我在外方作了旅客。」
23 Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.
過了很久,埃及王死了。那時以色列子民由於勞苦工作,都嘆息唉號:他們因勞役所發出的求救聲,升到天主面前。
24 Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.
天主聽見了他們的哀號,就記起了他與亞巴郎、依撒格和雅各伯所立的盟約。
25 Katonda n’atunuulira abaana ba Isirayiri, n’ategeera okubonaabona kwabwe.
天主遂眷顧了以色列子民,特別垂念她們。

< Okuva 2 >