< Okuva 18 >

1 Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri.
모세의 장인 미디안 제사장 이드로가 하나님이 모세에게와 자기 백성 이스라엘에게 하신 일 곧 여호와께서 이스라엘을 애굽에서 인도하여 내신 모든 일을 들으니라
2 Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ng’amumulekedde,
모세의 장인 이드로가 모세가 돌려 보내었던 그의 아내 십보라와
3 ne batabani be babiri. Mutabani we omu yamutuuma Gerusomu, kubanga Musa yagamba nti, “Mbadde mugwira mu nsi etali yange;”
그 두 아들을 데렸으니 그 하나의 이름은 게르솜이라 이는 모세가 이르기를 '내가 이방에서 객이 되었다' 함이요
4 n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”
하나의 이름은 엘리에셀이라 이는 `내 아버지의 하나님이 나를 도우사 바로의 칼에서 구원하셨다' 함이더라
5 Yesero, mukoddomi wa Musa, n’ajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda.
모세의 장인 이드로가 모세의 아들들과 그 아내로 더불어 광야에 들어와 모세에게 이르니 곧 모세가 하나님의 산에 진 친 곳이라
6 Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.”
그가 모세에게 전언하되 `그대의 장인 나 이드로가 그대의 아내와 그와 함께한 그 두 아들로 더불어 그대에게 왔노라'
7 Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema.
모세가 나가서 그 장인을 맞아 절하고 그에게 입맞추고 그들이 서로 문안하고 함께 장막에 들어가서
8 Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.
모세가 여호와께서 이스라엘을 위하여 바로와 애굽 사람에게 행하신 모든 일과 길에서 그들의 당한 모든 고난과 여호와께서 그 들을 구원하신 일을 다 그 장인에게 고하매
9 Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri.
이드로가 여호와께서 이스라엘에게 모든 은혜를 베푸사 애굽 사람의 손에서 구원하심을 기뻐하여
10 Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri.
가로되 `여호와를 찬송하리로다! 너희를 애굽 사람의 손에서와 바로의 손에서 건져내시고 백성을 애굽 사람의 손 밑에서 건지셨도다
11 Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.”
이제 내가 알았도다! 여호와는 모든 신보다 크시므로 이스라엘에게 교만히 행하는 그들을 이기셨도다' 하고
12 Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.
모세의 장인 이드로가 번제물과 희생을 하나님께 가져오매 아론과 이스라엘 모든 장로가 와서 모세의 장인과 함께 하나님 앞에서 떡을 먹으니라
13 Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi.
이튿날에 모세가 백성을 재판하느라고 앉았고 백성은 아침부터 저녁까지 모세의 곁에 섰는지라
14 Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?”
모세의 장인이 모세가 백성에게 행하는 모든 일을 보고 가로되 `그대가 이 백성에게 행하는 이 일이 어찜이뇨? 어찌하여 그대는 홀로 앉았고 백성은 아침부터 저녁까지 그대의 곁에 섰느뇨?'
15 Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala.
모세가 그 장인에게 대답하되 `백성이 하나님께 물으려고 내게로 옴이라
16 Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”
그들이 일이 있으면 내게로 오나니 내가 그 양편을 판단하여 하나님의 율례와 법도를 알게 하나이다'
17 Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi.
모세의 장인이 그에게 이르되 `그대의 하는 것이 선하지 못하도다
18 Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu.
그대와 그대와 함께한 이 백성이 필연 기력이 쇠하리니 이 일이 그대에게 너무 중함이라 그대가 혼자 할 수 없으리라
19 Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe.
이제 내 말을 들으라! 내가 그대에게 방침을 가르치리니 하나님이 그대와 함께 계실지로다! 그대는 백성을 위하여 하나님 앞에 있어서 소송을 하나님께 베풀며
20 Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola.
그들에게 율례와 법도를 가르쳐서 마땅히 갈 길과 할 일을 그들에게 보이고
21 Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi.
그대는 또 온 백성 가운데서 재덕이 겸전한 자 곧 하나님을 두려워하며 진실무망하며 불의한 이를 미워하는 자를 빼서 백성 위에 세워 천부장과 백부장과 오십부장과 십부장을 삼아
22 Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako.
그들로 때를 따라 백성을 재판하게 하라 무릇 큰 일이면 그대에게 베풀 것이고 무릇 작은 일이면 그들이 스스로 재판할 것이니 그리하면 그들이 그대와 함께 담당할 것인즉 일이 그대에게 쉬우리라
23 Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”
그대가 만일 이 일을 하고 하나님께서도 그대에게 인가하시면 그대가 이 일을 감당하고 이 모든 백성도 자기 곳으로 평안히 가리라'
24 Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira.
이에 모세가 자기 장인의 말을 듣고 그 모든 말대로 하여
25 Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi.
이스라엘 무리 중에서 재덕이 겸전한 자를 빼서 그들로 백성의 두목 곧 천부장과 백부장과 오십부장과 십부장을 삼으매
26 Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.
그들이 때를 따라 백성을 재판하되 어려운 일은 모세에게 베풀고 쉬운 일은 자단하더라
27 Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.
모세가 그 장인을 보내니 그가 자기 고향으로 돌아가니라

< Okuva 18 >