< Okuva 15 >

1 Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti, “Nnaayimbiranga Mukama, kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi. Asudde mu nnyanja embalaasi n’omwebagazi waayo.
那时,摩西和以色列人向耶和华唱歌说: 我要向耶和华歌唱,因他大大战胜, 将马和骑马的投在海中。
2 Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange. Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga, ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.
耶和华是我的力量,我的诗歌, 也成了我的拯救。 这是我的 神,我要赞美他, 是我父亲的 神,我要尊崇他。
3 Mukama mulwanyi; Mukama, ly’erinnya lye.
耶和华是战士; 他的名是耶和华。
4 Amagaali ga Falaawo n’eggye lye abisudde mu nnyanja; n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
法老的车辆、军兵,耶和华已抛在海中; 他特选的军长都沉于红海。
5 Obuziba bubasaanikidde; basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.
深水淹没他们; 他们如同石头坠到深处。
6 “Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwalina amaanyi n’ekitiibwa; omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwasesebbula omulabe.
耶和华啊,你的右手施展能力,显出荣耀; 耶和华啊,你的右手摔碎仇敌。
7 Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo, wamegga abalabe bo, wabalaga obusungu bwo, ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
你大发威严,推翻那些起来攻击你的; 你发出烈怒如火,烧灭他们像烧碎秸一样。
8 Omukka bwe gwava mu nnyindo zo, amazzi ne geetuuma; amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.
你发鼻中的气,水便聚起成堆, 大水直立如垒, 海中的深水凝结。
9 “Omulabe n’ayogera nti, ‘Ka mbagobe, mbakwate. Nnaagabana omunyago; mbeemalireko eggoga. Nnaasowolayo ekitala kyange, ndyoke mbazikirize.’
仇敌说:我要追赶,我要追上; 我要分掳物,我要在他们身上称我的心愿。 我要拔出刀来,亲手杀灭他们。
10 Naye wakunsa embuyaga zo, ennyanja n’ebasaanikira. Bakka ng’ekyuma, ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.
你叫风一吹,海就把他们淹没; 他们如铅沉在大水之中。
11 Ani akufaanana, Ayi Mukama, mu bakatonda bonna? Ani akufaanana, ggwe, Omutukuvu Oweekitiibwa, atiibwa era atenderezebwa, akola ebyamagero?
耶和华啊,众神之中,谁能像你? 谁能像你—至圣至荣, 可颂可畏,施行奇事?
12 “Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, ensi n’ebamira.
你伸出右手, 地便吞灭他们。
13 Mu kwagala kwo okutaggwaawo, abantu be wanunula olibakulembera. Mu maanyi go, olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
你凭慈爱领了你所赎的百姓; 你凭能力引他们到了你的圣所。
14 Amawanga galikiwulira ne gakankana, ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
外邦人听见就发颤; 疼痛抓住非利士的居民。
15 Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde; abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana; abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
那时,以东的族长惊惶, 摩押的英雄被战兢抓住, 迦南的居民心都消化了。
16 Okwesisiwala n’entiisa biribajjira. Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega, balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama, okutuusa abantu bo, be wanunula, lwe baliyitawo.
惊骇恐惧临到他们。 耶和华啊,因你膀臂的大能, 他们如石头寂然不动, 等候你的百姓过去, 等候你所赎的百姓过去。
17 Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera, kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga, ekifo kyo Ekitukuvu, kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.
你要将他们领进去,栽于你产业的山上— 耶和华啊,就是你为自己所造的住处; 主啊,就是你手所建立的圣所。
18 Mukama anaafuganga emirembe n’emirembe.”
耶和华必作王,直到永永远远!
19 Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja.
法老的马匹、车辆,和马兵下到海中,耶和华使海水回流,淹没他们;惟有以色列人在海中走干地。
20 Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina.
亚伦的姊姊,女先知米利暗,手里拿着鼓;众妇女也跟她出去拿鼓跳舞。
21 Miryamu n’abayimbira bw’ati nti, “Muyimbire Mukama, kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi. Asudde mu nnyanja embalaasi n’agyebagadde.”
米利暗应声说: 你们要歌颂耶和华,因他大大战胜, 将马和骑马的投在海中。
22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi.
摩西领以色列人从红海往前行,到了书珥的旷野,在旷野走了三天,找不着水。
23 Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala.
到了玛拉,不能喝那里的水;因为水苦,所以那地名叫玛拉。
24 Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”
百姓就向摩西发怨言,说:“我们喝什么呢?”
25 Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa. Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa
摩西呼求耶和华,耶和华指示他一棵树。他把树丢在水里,水就变甜了。 耶和华在那里为他们定了律例、典章,在那里试验他们;
26 ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”
又说:“你若留意听耶和华—你 神的话,又行我眼中看为正的事,留心听我的诫命,守我一切的律例,我就不将所加与埃及人的疾病加在你身上,因为我—耶和华是医治你的。”
27 Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.
他们到了以琳,在那里有十二股水泉,七十棵棕树;他们就在那里的水边安营。

< Okuva 15 >