< Okuva 13 >

1 Awo Mukama n’agamba Musa nti,
וידבר יהוה אל משה לאמר
2 “Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”
קדש לי כל בכור פטר כל רחם בבני ישראל--באדם ובבהמה לי הוא
3 Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.
ויאמר משה אל העם זכור את היום הזה אשר יצאתם ממצרים מבית עבדים כי בחזק יד הוציא יהוה אתכם מזה ולא יאכל חמץ
4 Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri.
היום אתם יצאים בחדש האביב
5 Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno.
והיה כי יביאך יהוה אל ארץ הכנעני והחתי והאמרי והחוי והיבוסי אשר נשבע לאבתיך לתת לך ארץ זבת חלב ודבש ועבדת את העבדה הזאת בחדש הזה
6 Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama.
שבעת ימים תאכל מצת וביום השביעי חג ליהוה
7 Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe.
מצות יאכל את שבעת הימים ולא יראה לך חמץ ולא יראה לך שאר--בכל גבלך
8 Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’
והגדת לבנך ביום ההוא לאמר בעבור זה עשה יהוה לי בצאתי ממצרים
9 Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
והיה לך לאות על ידך ולזכרון בין עיניך למען תהיה תורת יהוה בפיך כי ביד חזקה הוצאך יהוה ממצרים
10 Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.
ושמרת את החקה הזאת למועדה מימים ימימה
11 “Mukama ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa,
והיה כי יבאך יהוה אל ארץ הכנעני כאשר נשבע לך ולאבתיך ונתנה לך
12 Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama.
והעברת כל פטר רחם ליהוה וכל פטר שגר בהמה אשר יהיה לך הזכרים--ליהוה
13 Buli kalogoyi akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.
וכל פטר חמר תפדה בשה ואם לא תפדה וערפתו וכל בכור אדם בבניך תפדה
14 “Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi.
והיה כי ישאלך בנך מחר--לאמר מה זאת ואמרת אליו--בחזק יד הוציאנו יהוה ממצרים מבית עבדים
15 Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’
ויהי כי הקשה פרעה לשלחנו ויהרג יהוה כל בכור בארץ מצרים מבכר אדם ועד בכור בהמה על כן אני זבח ליהוה כל פטר רחם הזכרים וכל בכור בני אפדה
16 Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”
והיה לאות על ידכה ולטוטפת בין עיניך כי בחזק יד הוציאנו יהוה ממצרים
17 Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi. Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.”
ויהי בשלח פרעה את העם ולא נחם אלהים דרך ארץ פלשתים כי קרוב הוא כי אמר אלהים פן ינחם העם בראתם מלחמה--ושבו מצרימה
18 Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.
ויסב אלהים את העם דרך המדבר ים סוף וחמשים עלו בני ישראל מארץ מצרים
19 Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”
ויקח משה את עצמות יוסף עמו כי השבע השביע את בני ישראל לאמר פקד יפקד אלהים אתכם והעליתם את עצמתי מזה אתכם
20 Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira.
ויסעו מסכת ויחנו באתם בקצה המדבר
21 Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro.
ויהוה הלך לפניהם יומם בעמוד ענן לנחתם הדרך ולילה בעמוד אש להאיר להם--ללכת יומם ולילה
22 Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.
לא ימיש עמוד הענן יומם ועמוד האש לילה--לפני העם

< Okuva 13 >