< Okuva 12 >
1 Awo Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi y’e Misiri, n’abagamba nti,
Dixit quoque Dominus ad Moysen, et Aaron in Terra Aegypti:
2 “Okuva leero omwezi guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe.
Mensis iste, vobis principium mensium: primus erit in mensibus anni.
3 Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu.
Loquimini ad universum coetum filiorum Israel, et dicite eis: Decima die mensis huius tollat unusquisque agnum per familias et domos suas.
4 Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo.
Sin autem minor est numerus ut sufficere possit ad vescendum agnum, assumet vicinum suum qui iunctus est domui suae, iuxta numerum animarum quae sufficere possunt ad esum agni.
5 Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi.
Erit autem agnus absque macula, masculus, anniculus: iuxta quem ritum tolletis et hoedum.
6 Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi.
Et servabitis eum usque ad quartam decimam diem mensis huius: immolabitque eum universa multitudo filiorum Israel ad vesperam.
7 Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga.
Et sument de sanguine eius, ac ponent super utrumque postem, et in superliminaribus domorum, in quibus comedent illum.
8 Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa.
Et edent carnes nocte illa assas igni, et azymos panes cum lactucis agrestibus.
9 Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna.
Non comedetis ex eo crudum quid, nec coctum aqua, sed assum tantum igni: caput cum pedibus eius et intestinis vorabitis.
10 Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza.
Nec remanebit quidquam ex eo usque mane. si quid residuum fuerit, igne comburetis.
11 Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe, nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.
Sic autem comedetis illum: Renes vestros accingetis, et calceamenta habebitis in pedibus, tenentes baculos in manibus, et comedetis festinanter: est enim Phase (idest, transitus) Domini.
12 “Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama.
Et transibo per Terram Aegypti nocte illa, percutiamque omne primogenitum in Terra Aegypti ab homine usque ad pecus: et in cunctis diis Aegypti faciam iudicia, ego Dominus.
13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.
Erit autem sanguis vobis in signum in aedibus in quibus eritis: et videbo sanguinem, et transibo vos: nec erit in vobis plaga disperdens quando percussero Terram Aegypti.
14 “Olunaku luno lunaababeereranga lwa kijjukizo, era munaalukuumanga ne mulukwata nga lwa mbaga ya Mukama mu mirembe gyammwe gyonna egiriddiriŋŋana. Lino lifuuse tteeka ery’emirembe gyonna.
Habebitis autem hunc diem in monumentum: et celebrabitis eam sollemnem Domino in generationibus vestris cultu sempiterno.
15 Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; era ku lunaku olusooka, mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa mukiggiranga ddala mu nnyumba zammwe, kubanga alivumbulwa ng’alidde omugaati ogulimu ekizimbulukusa, okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olw’omusanvu, aligobebwa mu Isirayiri.
Septem diebus azyma comedetis: in die primo non erit fermentum in domibus vestris: quicumque comederit fermentatum, peribit anima illa de Israel, a primo die usque ad diem septimum.
16 Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, ne ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu; ennaku ezo temuzikolerangako mulimu gwa ngeri yonna, okuggyako okufumba emmere abantu bonna gye banaalya, kye kyokka kye mujjanga okukola.
Dies prima erit sancta atque sollemnis, et dies septima eadem festivitate venerabilis: nihil operis facietis in eis, exceptis his, quae ad vescendum pertinent.
17 “Mukwatanga Embaga ey’Emigati Egitali mizimbulukuse, kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe naggyira ebika bya Isirayiri mu nsi y’e Misiri. Noolwekyo olunaku luno munaalukwatanga n’ab’omu mirembe gyonna egiriddawo. Ekyo kiragiro eky’emirembe n’emirembe.
Et observabitis azyma: in eadem enim ipsa die educam exercitum vestrum de Terra Aegypti, et custodietis diem istum in generationes vestras ritu perpetuo.
18 Mu mwezi ogusooka, munaalyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa, okuva mu kawungeezi ak’olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, okutuusa ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu olw’omwezi ogwo.
Primo mense, quartadecima die mensis ad vesperam comedetis azyma usque ad diem vigesimam primam eiusdem mensis ad vesperam.
19 Okumala ennaku musanvu mu nnyumba zammwe temulabikangamu ekizimbulukusa; era alivumbulwa ng’alidde ekintu kyonna omuli ekizimbulukusa, agenda kugobwa mu Isirayiri, ne bwaliba omuzaaliranwa oba omugwira.
Septem diebus fermentatum non invenietur in domibus vestris: qui comederit fermentatum, peribit anima eius de coetu Israel, tam de advenis quam de indigenis terrae.
20 Temulyanga kintu kyonna omuli ekizimbulukusa; mu nnyumba zammwe mwe musula yonna, mulyanga emigaati egitali mizimbulukuse.”
Omne fermentatum non comedetis: in cunctis habitaculis vestris edetis azyma.
21 Awo Musa n’ayita abakulembeze ba Isirayiri bonna, n’abagamba nti, “Mwerondere abaana b’endiga ng’amaka gammwe bwe gali, mutte omwana gw’endiga ogw’Okuyitako.
Vocavit autem Moyses omnes seniores filiorum Israel, et dixit ad eos: Ite tollentes animal per familias vestras, et immolate Phase.
22 Musibe bulungi akaddo k’akakubansiri, mukannyike mu musaayi gwe mutadde mu bensani, mulyoke mumansire ku mwango gw’oluggi waggulu, ne ku njuyi zombi ez’omwango. Tewabaawo n’omu afuluma ennyumba ye okutuusa ng’obudde bukedde.
Fasciculumque hyssopi tingite in sanguine qui est in limine, et aspergite ex eo superliminare, et utrumque postem: nullus vestrum egrediatur ostium domus suae usque mane.
23 Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.
Transibit enim Dominus percutiens Aegyptios: cumque viderit sanguinem in superliminari, et in utroque poste, transcendet ostium domus, et non sinet percussorem ingredi domos vestras et laedere.
24 “Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ng’etteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna.
Custodi verbum istud legitimum tibi et filiis tuis usque in aeternum.
25 Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gy’alibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno.
Cumque introieritis terram, quam Dominus daturus est vobis ut pollicitus est, observabitis ceremonias istas.
26 Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’
Et cum dixerint vobis filii vestri: Quae est ista religio?
27 Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’” Awo abantu ne bavuunama ne basinza.
dicetis eis: Victima transitus Domini est, quando transivit super domos filiorum Israel in Aegypto percutiens Aegyptios, et domos nostras liberans. Incurvatusque populus adoravit.
28 Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
Et egressi filii Israel fecerunt sicut praeceperat Dominus Moysi et Aaron.
29 Awo ekiro mu ttumbi Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali ow’okumusikira, okutuuka ku mubereberye w’omusibe ali mu kkomera; era n’ente embereberye zonna.
Factum est autem in noctis medio, percussit Dominus omne primogenitum in Terra Aegypti, a primogenito Pharaonis, qui in solio eius sedebat, usque ad primogenitum captivae quae erat in carcere, et omne primogenitum iumentorum.
30 Falaawo n’azuukuka mu kiro wakati, ye n’abaweereza be bonna, n’Abamisiri bonna; Misiri yonna n’ejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba n’emu omutaafa muntu.
Surrexitque Pharao nocte, et omnes servi eius, cunctaque Aegyptus: et ortus est clamor magnus in Aegypto: neque enim erat domus in qua non iaceret mortuus.
31 Mu kiro ekyo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze n’abantu bange, mmwe n’abaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba.
Vocatisque Pharao, Moyse, et Aaron nocte, ait: Surgite et egredimini a populo meo, vos et filii Israel: ite, immolate Domino sicut dicitis.
32 Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”
Oves vestras et armenta assumite ut petieratis, et abeuntes benedicite mihi.
33 Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!”
Urgebantque Aegyptii populum de terra exire velociter, dicentes: Omnes moriemur.
34 Abaana ba Isirayiri ne baddira obuwunga bwabwe obw’emigaati obugotte, obutaliimu kizimbulukusa, ne babussa mu bbakuli omufumbirwa emigaati, ne babuzinga mu ngoye zaabwe, ne babutwalira ku bibegabega byabwe.
Tulit igitur populus conspersam farinam antequam fermentaretur: et ligans in palliis, posuit super humeros suos.
35 Baakola nga Musa bwe yabalagira, ne basaba Abamisiri eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu, awamu n’ebyambalo.
Feceruntque filii Israel sicut praeceperat Dominus Moysi: et petierunt ab Aegyptiis vasa argentea et aurea, vestemque plurimam.
36 Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.
Dominus autem dedit gratiam populo coram Aegyptiis ut commodarent eis: et spoliaverunt Aegyptios.
37 Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa.
Profectique sunt filii Israel de Ramesse in Socoth, sexcenta fere millia peditum virorum, absque parvulis et mulieribus.
38 Waaliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana g’ente mangi, n’ebisibo, bingi nnyo.
Sed et vulgus promiscuum innumerabile ascendit cum eis, oves et armenta et animantia diversi generis multa nimis.
39 Ne beefumbira emigaati mu buwunga obugotte bwe baggya mu Misiri, naye tegyalimu kizimbulukusa, kubanga baasindiikirizibwa busindiikirizibwa okuva mu Misiri, ne bataba na budde bwa kwefumbira mmere.
Coxeruntque farinam, quam dudum de Aegypto conspersam tulerant: et fecerunt subcinericios panes azymos: neque enim poterat fermentari cogentibus exire Aegyptiis, et nullam facere sinentibus moram: nec pulmenti quidquam occurrerat praeparare.
40 Emyaka abaana ba Isirayiri gye baamala mu Misiri gyawera ebikumi bina mu amakumi asatu.
Habitatio autem filiorum Israel qua manserunt in Aegypto, fuit quadringentorum triginta annorum.
41 Ku lunaku olwasembayo olwaweza emyaka ebikumi ebina mu asatu, eggye lya Mukama eryo lyonna kwe lyasitulira ne liva mu nsi y’e Misiri.
Quibus expletis, eadem die egressus est omnis exercitus Domini de Terra Aegypti.
42 Mukama yali bulindaala ekiro ky’olunaku olwo, n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri; noolwekyo abaana ba Isirayiri banajjukiranga Mukama ekiro ky’olunaku olwo emirembe gyabwe gyonna.
Nox ista est observabilis Domini, quando eduxit eos de Terra Aegypti: hanc observare debent omnes filii Israel in generationibus suis.
43 Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Bino by’ebiragiro by’Okuyitako: “Omunaggwanga takkirizibwa kugiryako.
Dixitque Dominus ad Moysen et Aaron: Haec est religio Phase: Omnis alienigena non comedet ex eo.
44 Omuddu aguliddwa n’ensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa;
Omnis autem servus emptitius circumcidetur, et sic comedet.
45 naye omugenyi omugwira, n’omupakasi akola awaka, tebakkirizibwa kugiryako.
Advena et mercenarius non edent ex eo.
46 “Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo n’erimu.
In una domo comedetur, nec efferetis de carnibus eius foras, nec os illius confringetis.
47 Abantu bonna aba Isirayiri banaakolanga omukolo guno.
Omnis coetus filiorum Israel faciet illud.
48 “Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako.
Quod si quis peregrinorum in vestram voluerit transire coloniam, et facere Phase Domini, circumcidetur prius omne masculinum eius, et tunc rite celebrabit: eritque sicut indigena terrae: si quis autem circumcisus non fuerit, non vescetur ex eo.
49 Etteeka lye limu lye linaakwatibwanga omuzaaliranwa n’Omunnaggwanga abeera mu mmwe.”
Eadem lex erit indigenae et colono qui peregrinatur apud vos.
50 Bwe batyo abaana ba Isirayiri bonna ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni; bwe batyo bonna bwe baakola.
Feceruntque omnes filii Israel sicut praeceperat Dominus Moysi et Aaron.
51 Awo ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’e Misiri nga bagendera mu bibinja byabwe.
Et eadem die eduxit Dominus filios Israel de terra Aegypti per turmas suas.