< Okuva 1 >

1 Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye:
以色列的众子,各带家眷,和雅各一同来到埃及。他们的名字记在下面。
2 Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda,
有吕便、西缅、利未、犹大、
3 ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini,
以萨迦、西布伦、便雅悯、
4 ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri.
但、拿弗他利、迦得、亚设。
5 Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.
凡从雅各而生的,共有七十人。约瑟已经在埃及。
6 Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa.
约瑟和他的弟兄,并那一代的人,都死了。
7 Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.
以色列人生养众多,并且繁茂,极其强盛,满了那地。
8 Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu.
有不认识约瑟的新王起来,治理埃及,
9 N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi.
对他的百姓说:“看哪,这以色列民比我们还多,又比我们强盛。
10 Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”
来吧,我们不如用巧计待他们,恐怕他们多起来,日后若遇什么争战的事,就连合我们的仇敌攻击我们,离开这地去了。”
11 Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi.
于是埃及人派督工的辖制他们,加重担苦害他们。他们为法老建造两座积货城,就是比东和兰塞。
12 Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya.
只是越发苦害他们,他们越发多起来,越发蔓延;埃及人就因以色列人愁烦。
13 Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe.
埃及人严严地使以色列人做工,
14 Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.
使他们因做苦工觉得命苦;无论是和泥,是做砖,是做田间各样的工,在一切的工上都严严地待他们。
15 Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa, n’abagamba nti,
有希伯来的两个收生婆,一名施弗拉,一名普阿;埃及王对她们说:
16 “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.”
“你们为希伯来妇人收生,看她们临盆的时候,若是男孩,就把他杀了;若是女孩,就留她存活。”
17 Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama.
但是收生婆敬畏 神,不照埃及王的吩咐行,竟存留男孩的性命。
18 Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”
埃及王召了收生婆来,说:“你们为什么做这事,存留男孩的性命呢?”
19 Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”
收生婆对法老说:“因为希伯来妇人与埃及妇人不同;希伯来妇人本是健壮的,收生婆还没有到,她们已经生产了。”
20 Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo.
神厚待收生婆。以色列人多起来,极其强盛。
21 Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.
收生婆因为敬畏 神, 神便叫她们成立家室。
22 Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”
法老吩咐他的众民说:“以色列人所生的男孩,你们都要丢在河里;一切的女孩,你们要存留她的性命。”

< Okuva 1 >