< Eseza 7 >

1 Awo Kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ya Nnabagereka Eseza gye yateekateeka.
ויבא המלך והמן לשתות עם אסתר המלכה׃
2 Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”
ויאמר המלך לאסתר גם ביום השני במשתה היין מה שאלתך אסתר המלכה ותנתן לך ומה בקשתך עד חצי המלכות ותעש׃
3 Awo Eseza n’addamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bw’onoosiima, kino kye nsaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era n’abantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira.
ותען אסתר המלכה ותאמר אם מצאתי חן בעיניך המלך ואם על המלך טוב תנתן לי נפשי בשאלתי ועמי בבקשתי׃
4 Nze n’abantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu n’abakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”
כי נמכרנו אני ועמי להשמיד להרוג ולאבד ואלו לעבדים ולשפחות נמכרנו החרשתי כי אין הצר שוה בנזק המלך׃
5 Awo Kabaka Akaswero n’abuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?”
ויאמר המלך אחשורוש ויאמר לאסתר המלכה מי הוא זה ואי זה הוא אשר מלאו לבו לעשות כן׃
6 Awo Eseza n’addamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani n’atya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.
ותאמר אסתר איש צר ואויב המן הרע הזה והמן נבעת מלפני המלך והמלכה׃
7 Awo Kabaka n’agolokoka ng’aliko ekiruyi, n’aleka wayini we, n’alaga ebweru mu nnimiro ey’omu lubiri. Kamani bwe yalaba nga Kabaka amaliridde okumubonereza, n’asigala emabega okusaba obulamu bwe eri Nnabagereka Eseza.
והמלך קם בחמתו ממשתה היין אל גנת הביתן והמן עמד לבקש על נפשו מאסתר המלכה כי ראה כי כלתה אליו הרעה מאת המלך׃
8 Kabaka n’akomawo okuva mu nnimiro ey’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga, n’asanga Kamani ng’agudde ku ntebe ey’olugalamiriro Eseza kwe yali. Kabaka ne yeekanga nnyo era n’akangula eddoboozi ng’agamba nti, “N’okukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?” Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso ga Kamani.
והמלך שב מגנת הביתן אל בית משתה היין והמן נפל על המטה אשר אסתר עליה ויאמר המלך הגם לכבוש את המלכה עמי בבית הדבר יצא מפי המלך ופני המן חפו׃
9 Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”
ויאמר חרבונה אחד מן הסריסים לפני המלך גם הנה העץ אשר עשה המן למרדכי אשר דבר טוב על המלך עמד בבית המן גבה חמשים אמה ויאמר המלך תלהו עליו׃
10 Awo ne bawanika Kamani ku kalabba ke yali azimbidde Moluddekaayi, olwo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
ויתלו את המן על העץ אשר הכין למרדכי וחמת המלך שככה׃

< Eseza 7 >