< Abaefeso 5 >

1 Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa.
γίνεσθε οὖν μιμηταὶ τοῦ Θεοῦ, ὡς τέκνα ἀγαπητά,
2 Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
καὶ περιπατεῖτε ἐν ἀγάπῃ, καθὼς καὶ ὁ Χριστὸς ἠγάπησεν ὑμᾶς καὶ παρέδωκεν ἑαυτὸν ὑπὲρ ἡμῶν προσφορὰν καὶ θυσίαν τῷ Θεῷ εἰς ὀσμὴν εὐωδίας.
3 Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.
Πορνεία δὲ καὶ ἀκαθαρσία πᾶσα ἢ πλεονεξία μηδὲ ὀνομαζέσθω ἐν ὑμῖν, καθὼς πρέπει ἁγίοις,
4 Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda.
καὶ αἰσχρότης καὶ μωρολογία ἢ εὐτραπελία, ἃ οὐκ ἀνῆκεν, ἀλλὰ μᾶλλον εὐχαριστία.
5 Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
τοῦτο γὰρ ἴστε γινώσκοντες, ὅτι πᾶς πόρνος ἢ ἀκάθαρτος ἢ πλεονέκτης, ὅ ἐστιν εἰδωλολάτρης, οὐκ ἔχει κληρονομίαν ἐν τῇ βασιλείᾳ τοῦ Χριστοῦ καὶ Θεοῦ.
6 Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.
Μηδεὶς ὑμᾶς ἀπατάτω κενοῖς λόγοις· διὰ ταῦτα γὰρ ἔρχεται ἡ ὀργὴ τοῦ Θεοῦ ἐπὶ τοὺς υἱοὺς τῆς ἀπειθείας.
7 Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.
μὴ οὖν γίνεσθε συνμέτοχοι αὐτῶν·
8 Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana,
ἦτε γάρ ποτε σκότος, νῦν δὲ φῶς ἐν Κυρίῳ· ὡς τέκνα φωτὸς περιπατεῖτε,
9 ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima,
—ὁ γὰρ καρπὸς τοῦ φωτὸς ἐν πάσῃ ἀγαθωσύνῃ καὶ δικαιοσύνῃ καὶ ἀληθείᾳ,
10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe.
—δοκιμάζοντες τί ἐστιν εὐάρεστον τῷ Κυρίῳ,
11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola.
καὶ μὴ συνκοινωνεῖτε τοῖς ἔργοις τοῖς ἀκάρποις τοῦ σκότους, μᾶλλον δὲ καὶ ἐλέγχετε,
12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama.
τὰ γὰρ κρυφῇ γινόμενα ὑπ’ αὐτῶν αἰσχρόν ἐστιν καὶ λέγειν·
13 Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri.
τὰ δὲ πάντα ἐλεγχόμενα ὑπὸ τοῦ φωτὸς φανεροῦται· πᾶν γὰρ τὸ φανερούμενον φῶς ἐστιν.
14 Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti, “Zuukuka ggwe eyeebase, Ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.”
διὸ λέγει Ἔγειρε, ὁ καθεύδων, καὶ ἀνάστα ἐκ τῶν νεκρῶν, καὶ ἐπιφαύσει σοι ὁ Χριστός.
15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi,
Βλέπετε οὖν ἀκριβῶς πῶς περιπατεῖτε, μὴ ὡς ἄσοφοι ἀλλ’ ὡς σοφοί,
16 nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.
ἐξαγοραζόμενοι τὸν καιρόν, ὅτι αἱ ἡμέραι πονηραί εἰσιν.
17 Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala.
διὰ τοῦτο μὴ γίνεσθε ἄφρονες, ἀλλὰ συνίετε τί τὸ θέλημα τοῦ Κυρίου.
18 Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe.
καὶ μὴ μεθύσκεσθε οἴνῳ, ἐν ᾧ ἐστιν ἀσωτία, ἀλλὰ πληροῦσθε ἐν Πνεύματι,
19 Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe.
λαλοῦντες ἑαυτοῖς ψαλμοῖς καὶ ὕμνοις καὶ ᾠδαῖς πνευματικαῖς, ᾄδοντες καὶ ψάλλοντες τῇ καρδίᾳ ὑμῶν τῷ Κυρίῳ,
20 Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
εὐχαριστοῦντες πάντοτε ὑπὲρ πάντων ἐν ὀνόματι τοῦ Κυρίου ἡμῶν Ἰησοῦ Χριστοῦ τῷ Θεῷ καὶ Πατρί,
21 Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
ὑποτασσόμενοι ἀλλήλοις ἐν φόβῳ Χριστοῦ.
22 Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe.
Αἱ γυναῖκες τοῖς ἰδίοις ἀνδράσιν ὡς τῷ Κυρίῳ,
23 Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo.
ὅτι ἀνήρ ἐστιν κεφαλὴ τῆς γυναικὸς ὡς καὶ ὁ Χριστὸς κεφαλὴ τῆς ἐκκλησίας, αὐτὸς σωτὴρ τοῦ σώματος.
24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.
ἀλλὰ ὡς ἡ ἐκκλησία ὑποτάσσεται τῷ Χριστῷ, οὕτως καὶ αἱ γυναῖκες τοῖς ἀνδράσιν ἐν παντί.
25 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo.
Οἱ ἄνδρες, ἀγαπᾶτε τὰς γυναῖκας, καθὼς καὶ ὁ Χριστὸς ἠγάπησεν τὴν ἐκκλησίαν καὶ ἑαυτὸν παρέδωκεν ὑπὲρ αὐτῆς,
26 Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye,
ἵνα αὐτὴν ἁγιάσῃ καθαρίσας τῷ λουτρῷ τοῦ ὕδατος ἐν ῥήματι,
27 alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.
ἵνα παραστήσῃ αὐτὸς ἑαυτῷ ἔνδοξον τὴν ἐκκλησίαν, μὴ ἔχουσαν σπίλον ἢ ῥυτίδα ἤ τι τῶν τοιούτων, ἀλλ’ ἵνα ᾖ ἁγία καὶ ἄμωμος.
28 N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka.
οὕτως ὀφείλουσιν καὶ οἱ ἄνδρες ἀγαπᾶν τὰς ἑαυτῶν γυναῖκας ὡς τὰ ἑαυτῶν σώματα. ὁ ἀγαπῶν τὴν ἑαυτοῦ γυναῖκα ἑαυτὸν ἀγαπᾷ·
29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye,
οὐδεὶς γάρ ποτε τὴν ἑαυτοῦ σάρκα ἐμίσησεν, ἀλλὰ ἐκτρέφει καὶ θάλπει αὐτήν, καθὼς καὶ ὁ Χριστὸς τὴν ἐκκλησίαν,
30 kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
ὅτι μέλη ἐσμὲν τοῦ σώματος αὐτοῦ.
31 “Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.”
ἀντὶ τούτου καταλείψει ἄνθρωπος τὸν πατέρα καὶ τὴν μητέρα καὶ προσκολληθήσεται πρὸς τὴν γυναῖκα αὐτοῦ, καὶ ἔσονται οἱ δύο εἰς σάρκα μίαν.
32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye.
τὸ μυστήριον τοῦτο μέγα ἐστίν, ἐγὼ δὲ λέγω εἰς Χριστὸν καὶ εἰς τὴν ἐκκλησίαν.
33 Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.
πλὴν καὶ ὑμεῖς οἱ καθ’ ἕνα ἕκαστος τὴν ἑαυτοῦ γυναῖκα οὕτως ἀγαπάτω ὡς ἑαυτόν, ἡ δὲ γυνὴ ἵνα φοβῆται τὸν ἄνδρα.

< Abaefeso 5 >