< Abaefeso 4 >

1 Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu.
obsecro itaque vos ego vinctus in Domino ut digne ambuletis vocatione qua vocati estis
2 Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala.
cum omni humilitate et mansuetudine cum patientia subportantes invicem in caritate
3 Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe.
solliciti servare unitatem spiritus in vinculo pacis
4 Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe.
unum corpus et unus spiritus sicut vocati estis in una spe vocationis vestrae
5 Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu.
unus Dominus una fides unum baptisma
6 Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.
unus Deus et Pater omnium qui super omnes et per omnia et in omnibus nobis
7 Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli.
unicuique autem nostrum data est gratia secundum mensuram donationis Christi
8 Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti, “Bwe yalinnya mu ggulu, n’atwala omunyago, n’awa abantu ebirabo.”
propter quod dicit ascendens in altum captivam duxit captivitatem dedit dona hominibus
9 Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi.
quod autem ascendit quid est nisi quia et descendit primum in inferiores partes terrae
10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna.
qui descendit ipse est et qui ascendit super omnes caelos ut impleret omnia
11 Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza.
et ipse dedit quosdam quidem apostolos quosdam autem prophetas alios vero evangelistas alios autem pastores et doctores
12 Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo.
ad consummationem sanctorum in opus ministerii in aedificationem corporis Christi
13 Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.
donec occurramus omnes in unitatem fidei et agnitionis Filii Dei in virum perfectum in mensuram aetatis plenitudinis Christi
14 Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba.
ut iam non simus parvuli fluctuantes et circumferamur omni vento doctrinae in nequitia hominum in astutia ad circumventionem erroris
15 Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa.
veritatem autem facientes in caritate crescamus in illo per omnia qui est caput Christus
16 Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.
ex quo totum corpus conpactum et conexum per omnem iuncturam subministrationis secundum operationem in mensuram uniuscuiusque membri augmentum corporis facit in aedificationem sui in caritate
17 Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru.
hoc igitur dico et testificor in Domino ut iam non ambuletis sicut gentes ambulant in vanitate sensus sui
18 Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu.
tenebris obscuratum habentes intellectum alienati a vita Dei per ignorantiam quae est in illis propter caecitatem cordis ipsorum
19 Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.
qui desperantes semet ipsos tradiderunt inpudicitiae in operationem inmunditiae omnis in avaritia
20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo.
vos autem non ita didicistis Christum
21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu,
si tamen illum audistis et in ipso edocti estis sicut est veritas in Iesu
22 kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba.
deponere vos secundum pristinam conversationem veterem hominem qui corrumpitur secundum desideria erroris
23 Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe,
renovamini autem spiritu mentis vestrae
24 era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
et induite novum hominem qui secundum Deum creatus est in iustitia et sanctitate veritatis
25 Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.
propter quod deponentes mendacium loquimini veritatem unusquisque cum proximo suo quoniam sumus invicem membra
26 “Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde.
irascimini et nolite peccare sol non occidat super iracundiam vestram
27 Temuwanga Setaani bbanga.
nolite locum dare diabolo
28 Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.
qui furabatur iam non furetur magis autem laboret operando manibus quod bonum est ut habeat unde tribuat necessitatem patienti
29 Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira.
omnis sermo malus ex ore vestro non procedat sed si quis bonus ad aedificationem oportunitatis ut det gratiam audientibus
30 Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa.
et nolite contristare Spiritum Sanctum Dei in quo signati estis in die redemptionis
31 Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe.
omnis amaritudo et ira et indignatio et clamor et blasphemia tollatur a vobis cum omni malitia
32 Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
estote autem invicem benigni misericordes donantes invicem sicut et Deus in Christo donavit nobis

< Abaefeso 4 >