< Abaefeso 3 >
1 Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.
Τούτου χάριν ἐγὼ Παῦλος ὁ δέσμιος τοῦ Χριστοῦ Ἰησοῦ ὑπὲρ ὑμῶν τῶν ἐθνῶν—
2 Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba.
εἴ γε ἠκούσατε τὴν οἰκονομίαν τῆς χάριτος τοῦ Θεοῦ τῆς δοθείσης μοι εἰς ὑμᾶς,
3 Nga bwe nasooka okubawandiikira mu bimpimpi, Katonda alina okubikkulirwa okw’ekyama kwe yandaga.
ὅτι κατὰ ἀποκάλυψιν ἐγνωρίσθη μοι τὸ μυστήριον, καθὼς προέγραψα ἐν ὀλίγῳ,
4 Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo.
πρὸς ὃ δύνασθε ἀναγινώσκοντες νοῆσαι τὴν σύνεσίν μου ἐν τῷ μυστηρίῳ τοῦ Χριστοῦ,
5 Mu biro eby’edda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bw’akibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi.
ὃ ἑτέραις γενεαῖς οὐκ ἐγνωρίσθη τοῖς υἱοῖς τῶν ἀνθρώπων ὡς νῦν ἀπεκαλύφθη τοῖς ἁγίοις ἀποστόλοις αὐτοῦ καὶ προφήταις ἐν Πνεύματι,
6 Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.
εἶναι τὰ ἔθνη συνκληρονόμα καὶ σύνσωμα καὶ συνμέτοχα τῆς ἐπαγγελίας ἐν Χριστῷ Ἰησοῦ διὰ τοῦ εὐαγγελίου,
7 Nafuuka omuweereza w’enjiri eyo olw’ekirabo eky’ekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ng’akolera mu maanyi ge.
οὗ ἐγενήθην διάκονος κατὰ τὴν δωρεὰν τῆς χάριτος τοῦ Θεοῦ τῆς δοθείσης μοι κατὰ τὴν ἐνέργειαν τῆς δυνάμεως αὐτοῦ.
8 Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika.
ἐμοὶ τῷ ἐλαχιστοτέρῳ πάντων ἁγίων ἐδόθη ἡ χάρις αὕτη, τοῖς ἔθνεσιν εὐαγγελίσασθαι τὸ ἀνεξιχνίαστον πλοῦτος τοῦ Χριστοῦ,
9 Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. (aiōn )
καὶ φωτίσαι τίς ἡ οἰκονομία τοῦ μυστηρίου τοῦ ἀποκεκρυμμένου ἀπὸ τῶν αἰώνων ἐν τῷ Θεῷ τῷ τὰ πάντα κτίσαντι, (aiōn )
10 Katonda yakigenderera atyo, ng’ayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi n’obuyinza ebiri mu nsi ey’omwoyo eya waggulu, ng’abalaga nga bw’alina amagezi amangi ag’ebika eby’enjawulo.
ἵνα γνωρισθῇ νῦν ταῖς ἀρχαῖς καὶ ταῖς ἐξουσίαις ἐν τοῖς ἐπουρανίοις διὰ τῆς ἐκκλησίας ἡ πολυποίκιλος σοφία τοῦ Θεοῦ,
11 Katonda yakola bw’atyo ng’enteekateeka ye ey’emirembe n’emirembe bw’eri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola. (aiōn )
κατὰ πρόθεσιν τῶν αἰώνων ἣν ἐποίησεν ἐν τῷ Χριστῷ Ἰησοῦ τῷ Κυρίῳ ἡμῶν, (aiōn )
12 Kristo atuwa obuvumu n’obugumu, tulyoke tusembere mu maaso ga Katonda olw’okukkiriza nga tetutya.
ἐν ᾧ ἔχομεν τὴν παρρησίαν καὶ προσαγωγὴν ἐν πεποιθήσει διὰ τῆς πίστεως αὐτοῦ.
13 Kyenva mbeegayirira muleme kuterebuka olw’okubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga ekyo kibaleetera kitiibwa.
διὸ αἰτοῦμαι μὴ ἐνκακεῖν ἐν ταῖς θλίψεσίν μου ὑπὲρ ὑμῶν, ἥτις ἐστὶν δόξα ὑμῶν.
Τούτου χάριν κάμπτω τὰ γόνατά μου πρὸς τὸν Πατέρα,
15 ebika byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi mwe biggya obulamu.
ἐξ οὗ πᾶσα πατριὰ ἐν οὐρανοῖς καὶ ἐπὶ γῆς ὀνομάζεται,
16 Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we,
ἵνα δῷ ὑμῖν κατὰ τὸ πλοῦτος τῆς δόξης αὐτοῦ δυνάμει κραταιωθῆναι διὰ τοῦ Πνεύματος αὐτοῦ εἰς τὸν ἔσω ἄνθρωπον,
17 Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu,
κατοικῆσαι τὸν Χριστὸν διὰ τῆς πίστεως ἐν ταῖς καρδίαις ὑμῶν, ἐν ἀγάπῃ ἐρριζωμένοι καὶ τεθεμελιωμένοι,
18 mulyoke mubeerenga n’amaanyi awamu n’abatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, n’obuwanvu, n’obugulumivu n’okukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo.
ἵνα ἐξισχύσητε καταλαβέσθαι σὺν πᾶσιν τοῖς ἁγίοις τί τὸ πλάτος καὶ μῆκος καὶ ὕψος καὶ βάθος,
19 Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.
γνῶναί τε τὴν ὑπερβάλλουσαν τῆς γνώσεως ἀγάπην τοῦ Χριστοῦ, ἵνα πληρωθῆτε εἰς πᾶν τὸ πλήρωμα τοῦ Θεοῦ.
20 Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,
Τῷ δὲ δυναμένῳ ὑπὲρ πάντα ποιῆσαι ὑπερεκπερισσοῦ ὧν αἰτούμεθα ἢ νοοῦμεν κατὰ τὴν δύναμιν τὴν ἐνεργουμένην ἐν ἡμῖν,
21 agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn )
αὐτῷ ἡ δόξα ἐν τῇ ἐκκλησίᾳ καὶ ἐν Χριστῷ Ἰησοῦ εἰς πάσας τὰς γενεὰς τοῦ αἰῶνος τῶν αἰώνων· ἀμήν. (aiōn )