< Abaefeso 1 >
1 Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olw’okwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.
2 Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
3 Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu.
4 Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe.
5 Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli.
6 Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo.
7 Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli,
8 kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna.
9 Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo.
10 Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, n’ateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.
11 Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe;
12 ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo.
13 Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa,
14 gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.
15 Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna,
16 sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira
17 ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera.
18 Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna.
19 Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli,
20 amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu.
21 Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. (aiōn )
22 Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa,
23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.