< Omubuulizi 7 >

1 Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi; n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
טוב שם משמן טוב ויום המות מיום הולדו
2 Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava. Kubanga buli omu wa kufa, ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
טוב ללכת אל בית אבל מלכת אל בית משתה--באשר הוא סוף כל האדם והחי יתן אל לבו
3 Okunakuwala kusinga okuseka, kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
טוב כעס משחוק כי ברע פנים ייטב לב
4 Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku; naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
לב חכמים בבית אבל ולב כסילים בבית שמחה
5 Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
טוב לשמע גערת חכם--מאיש שמע שיר כסילים
6 Okuseka kw’abasirusiru kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu; na kino nakyo butaliimu.
כי כקול הסירים תחת הסיר כן שחק הכסיל וגם זה הבל
7 Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru, n’enguzi efaafaaganya okutegeera.
כי העשק יהולל חכם ויאבד את לב מתנה
8 Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo, n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
טוב אחרית דבר מראשיתו טוב ארך רוח מגבה רוח
9 Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka, kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.
אל תבהל ברוחך לכעוס כי כעס בחיק כסילים ינוח
10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?” Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.
אל תאמר מה היה--שהימים הראשנים היו טובים מאלה כי לא מחכמה שאלת על זה
11 Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika, era kigasa abo abakyalaba enjuba.
טובה חכמה עם נחלה ויתר לראי השמש
12 Amagezi kiwummulo, ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo, naye enkizo y’okumanya y’eno: amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
כי בצל החכמה בצל הכסף ויתרון דעת החכמה תחיה בעליה
13 Lowooza ku Katonda ky’akoze: ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
ראה את מעשה האלהים כי מי יוכל לתקן את אשר עותו
14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka; naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko; Katonda eyakola ekimu era ye yakola ne kinnaakyo. Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako mu nnaku ze ez’omu maaso.
ביום טובה היה בטוב וביום רעה ראה גם את זה לעמת זה עשה האלהים על דברת שלא ימצא האדם אחריו מאומה
15 Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi: omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe, n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
את הכל ראיתי בימי הבלי יש צדיק אבד בצדקו ויש רשע מאריך ברעתו
16 Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo; oleme okwezikiriza.
אל תהי צדיק הרבה ואל תתחכם יותר למה תשומם
17 Tobanga mwonoonyi kakuzzi wadde okuba omusirusiru; oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
אל תרשע הרבה ואל תהי סכל למה תמות בלא עתך
18 Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso, kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.
טוב אשר תאחז בזה וגם מזה אל תנח את ידך כי ירא אלהים יצא את כלם
19 Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga, aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.
החכמה תעז לחכם--מעשרה שליטים אשר היו בעיר
20 Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu, atakola bibi.
כי אדם אין צדיק בארץ--אשר יעשה טוב ולא יחטא
21 Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera, si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
גם לכל הדברים אשר ידברו אל תתן לבך אשר לא תשמע את עבדך מקללך
22 kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo, ng’emirundi mingi okolimidde abalala.
כי גם פעמים רבות ידע לבך אשר גם את (אתה) קללת אחרים
23 Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti, “Mmaliridde okuba omugezi,” wabula kino kyandi wala.
כל זה נסיתי בחכמה אמרתי אחכמה והיא רחוקה ממני
24 Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka, kale ani ayinza okugavumbula?
רחוק מה שהיה ועמק עמק מי ימצאנו
25 Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera, nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri, n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi: n’eddalu ery’obusirusiru.
סבותי אני ולבי לדעת ולתור ובקש חכמה וחשבון ולדעת רשע כסל והסכלות הוללות
26 Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa, ye mukazi alina omutima ogusendasenda, era ogusikiriza, era emikono gye gisiba ng’enjegere. Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo, kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
ומוצא אני מר ממות את האשה אשר היא מצודים וחרמים לבה--אסורים ידיה טוב לפני האלהים ימלט ממנה וחוטא ילכד בה
27 Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde: “Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
ראה זה מצאתי אמרה קהלת אחת לאחת למצא חשבון
28 bwe nnali nga nkyanoonyereza nabulako kye nzuula, okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi, kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
אשר עוד בקשה נפשי ולא מצאתי אדם אחד מאלף מצאתי--ואשה בכל אלה לא מצאתי
29 Wabula kino kyokka kye nalaba: Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu, naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”
לבד ראה זה מצאתי אשר עשה האלהים את האדם ישר והמה בקשו חשבנות רבים

< Omubuulizi 7 >