< Omubuulizi 6 >

1 Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu.
יש רעה אשר ראיתי תחת השמש ורבה היא על האדם׃
2 Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
איש אשר יתן לו האלהים עשר ונכסים וכבוד ואיננו חסר לנפשו מכל אשר יתאוה ולא ישליטנו האלהים לאכל ממנו כי איש נכרי יאכלנו זה הבל וחלי רע הוא׃
3 Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala.
אם יוליד איש מאה ושנים רבות יחיה ורב שיהיו ימי שניו ונפשו לא תשבע מן הטובה וגם קבורה לא היתה לו אמרתי טוב ממנו הנפל׃
4 Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya.
כי בהבל בא ובחשך ילך ובחשך שמו יכסה׃
5 Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo:
גם שמש לא ראה ולא ידע נחת לזה מזה׃
6 omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
ואלו חיה אלף שנים פעמים וטובה לא ראה הלא אל מקום אחד הכל הולך׃
7 Buli muntu ateganira mumwa gwe, naye tasobola kukkuta by’alina.
כל עמל האדם לפיהו וגם הנפש לא תמלא׃
8 Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru? Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala, agasibwa ki?
כי מה יותר לחכם מן הכסיל מה לעני יודע להלך נגד החיים׃
9 Amaaso kye galaba kisinga olufulube lw’ebirowoozo. Era na kino nakyo butaliimu, na kugoberera mpewo.
טוב מראה עינים מהלך נפש גם זה הבל ורעות רוח׃
10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda, n’omuntu kyali kyamanyibwa, tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi, n’amusobola.
מה שהיה כבר נקרא שמו ונודע אשר הוא אדם ולא יוכל לדין עם שהתקיף ממנו׃
11 Ebigambo gye bikoma obungi, gye bikoma n’obutabaamu makulu; kale ekyo kigasa kitya omuntu?
כי יש דברים הרבה מרבים הבל מה יתר לאדם׃
12 Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?
כי מי יודע מה טוב לאדם בחיים מספר ימי חיי הבלו ויעשם כצל אשר מי יגיד לאדם מה יהיה אחריו תחת השמש׃

< Omubuulizi 6 >