< Omubuulizi 5 >

1 Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.
Custodi pedem tuum ingrediens domum Dei, et appropinqua ut audias. Multo enim melior est obedientia, quam stultorum victimæ, qui nesciunt quid faciunt mali.
2 Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu ng’ate ggwe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Ne temere quid loquaris, neque cor tuum sit velox ad proferendum sermonem coram Deo. Deus enim in cælo, et tu super terram: idcirco sint pauci sermones tui.
3 Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto, n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.
Multas curas sequuntur somnia, et in multis sermonibus invenietur stultitia.
4 Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo.
Si quid vovisti Deo, ne moreris reddere: displicet enim ei infidelis et stulta promissio. sed quodcumque voveris, redde:
5 Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye.
multoque melius est non vovere, quam post votum promissa non reddere.
6 Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?
Ne dederis os tuum ut peccare facias carnem tuam: neque dicas coram angelo: Non est providentia: ne forte iratus Deus contra sermones tuos, dissipet cuncta opera manuum tuarum.
7 Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.
Ubi multa sunt somnia, plurimæ sunt vanitates, et sermones innumeri: tu vero Deum time.
8 Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala.
Si videris calumnias egenorum, et violenta iudicia, et subverti iustitiam in provincia, non mireris super hoc negotio: quia excelso excelsior est alius, et super hos quoque eminentiores sunt alii,
9 Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.
et insuper universæ terræ rex imperat servienti.
10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala; wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba: na kino nakyo butaliimu.
Avarus non implebitur pecunia: et qui amat divitias, fructum non capiet ex eis: et hoc ergo vanitas.
11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi, n’ababirya gye bakoma okweyongera. Kale nnyini byo agasibwa ki, okuggyako okusanyusa amaaso ge?
Ubi multæ sunt opes, multi et qui comedunt eas. Et quid prodest possessori, nisi quod cernit divitias oculis suis?
12 Otulo tuwoomera omupakasi ne bw’aba agabana bitono oba bingi. Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde, tebumuganya kwebaka.
Dulcis est somnus operanti, sive parum, sive multum comedat: saturitas autem divitis non sinit eum dormire.
13 Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba: nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
Est et alia infirmitas pessima, quam vidi sub sole: divitiæ conservatæ in malum domini sui.
14 ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula, kale bw’aba ne mutabani tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
Pereunt enim in afflictione pessima: generavit filium, qui in summa egestate erit.
15 Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu, bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi. Tewali ky’aggya mu mirimu gye, wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
Sicut egressus est nudus de utero matris suæ, sic revertetur, et nihil auferet secum de labore suo.
16 Na kino kya bulumi bwereere: nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda; mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
Miserabilis prorsus infirmitas: quo modo venit, sic revertetur. Quid ergo prodest ei quod laboravit in ventum?
17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike, ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
Cunctis diebus vitæ suæ comedit in tenebris et in curis multis, et in ærumna atque tristitia.
18 Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe.
Hoc itaque visum est mihi bonum ut comedat quis, et bibat, et fruatur lætitia ex labore suo, quo laboravit ipse sub sole numero dierum vitæ suæ, quos dedit ei Deus, et hæc est pars illius.
19 Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.
Et omni homini, cui dedit Deus divitias, atque substantiam, potestatemque ei tribuit ut comedat ex eis, et fruatur parte sua, et lætetur de labore suo: hoc est donum Dei.
20 Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.
Non enim satis recordabitur dierum vitæ suæ, eo quod Deus occupet deliciis cor eius.

< Omubuulizi 5 >