< Omubuulizi 4 >

1 Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba. Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa, era nga tebalina wakugabasangulako! Ababanyigiriza baalina obuyinza, kyokka nga tewali asobola kubagambako.
ושבתי אני ואראה את כל העשקים אשר נעשים תחת השמש והנה דמעת העשקים ואין להם מנחם ומיד עשקיהם כח ואין להם מנחם
2 Ne ndowooza ku abo abaafa, nga baali ba mukisa okusinga abo abakyali abalamu;
ושבח אני את המתים שכבר מתו--מן החיים אשר המה חיים עדנה
3 naye abasinga abo, y’oyo atannaba kuzaalibwa, atannalaba bibi obukolebwa wansi w’enjuba.
וטוב משניהם--את אשר עדן לא היה אשר לא ראה את המעשה הרע אשר נעשה תחת השמש
4 Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.
וראיתי אני את כל עמל ואת כל כשרון המעשה--כי היא קנאת איש מרעהו גם זה הבל ורעות רוח
5 Omusirusiru awumba emikono gye, ne yeezikiriza yekka.
הכסיל חבק את ידיו ואכל את בשרו
6 Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu okusinga okujjula okubonaabona n’okugoberera empewo.
טוב מלא כף נחת--ממלא חפנים עמל ורעות רוח
7 Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:
ושבתי אני ואראה הבל תחת השמש
8 nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina, nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe, ne yeebuuza nti, “Nteganira ani ne neefiiriza essanyu? Kino nakyo butaliimu, era tekiriiko kye kigasa.”
יש אחד ואין שני גם בן ואח אין לו ואין קץ לכל עמלו--גם עיניו (עינו) לא תשבע עשר ולמי אני עמל ומחסר את נפשי מטובה--גם זה הבל וענין רע הוא
9 Ababiri basinga omu, kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
טובים השנים מן האחד אשר יש להם שכר טוב בעמלם
10 Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obw’omu, bw’agwa tabaako amuyimusa.
כי אם יפלו האחד יקים את חברו ואילו האחד שיפול ואין שני להקימו
11 Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma; naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
גם אם ישכבו שנים וחם להם ולאחד איך יחם
12 Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.
ואם יתקפו האחד--השנים יעמדו נגדו והחוט המשלש לא במהרה ינתק
13 Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa.
טוב ילד מסכן וחכם--ממלך זקן וכסיל אשר לא ידע להזהר עוד
14 Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu.
כי מבית הסורים יצא למלך כי גם במלכותו נולד רש
15 Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka.
ראיתי את כל החיים המהלכים תחת השמש--עם הילד השני אשר יעמד תחתיו
16 Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
אין קץ לכל העם לכל אשר היה לפניהם--גם האחרונים לא ישמחו בו כי גם זה הבל ורעיון רוח

< Omubuulizi 4 >