< Omubuulizi 3 >
1 Buli kintu kirina ekiseera kyakyo, na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.
2 Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa; ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
3 ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya; ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
4 ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu; ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
5 ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu; ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
6 waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya; ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
7 n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu; ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
8 waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu; ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.
9 Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe?
10 Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu.
11 Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.
12 Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu.
13 Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda.
14 Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.
15 Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo; n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda; era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.
16 Ate era nalaba nga wansi w’enjuba, mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza; ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.
17 Ne njogera munda yange nti, “Katonda aliramula abatuukirivu n’aboonoonyi; kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu; era na buli mulimu.”
18 Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo.
19 Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu.
20 Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda.
21 Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”
22 Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.