< Omubuulizi 12 >

1 Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo, ng’ennaku embi tezinnakutuukako n’emyaka nga teginnasembera, mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
וזכר את בוראיך בימי בחורתיך עד אשר לא יבאו ימי הרעה והגיעו שנים אשר תאמר אין לי בהם חפץ׃
2 ng’enjuba n’obutangaavu, omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza; nga n’ebire biweddemu enkuba;
עד אשר לא תחשך השמש והאור והירח והכוכבים ושבו העבים אחר הגשם׃
3 abakuumi b’enju mwe balikankanira, n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa, nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono, n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
ביום שיזעו שמרי הבית והתעותו אנשי החיל ובטלו הטחנות כי מעטו וחשכו הראות בארבות׃
4 nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo, n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde; ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi, naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
וסגרו דלתים בשוק בשפל קול הטחנה ויקום לקול הצפור וישחו כל בנות השיר׃
5 nga batya buli kiwanvu n’akabi akali mu nguudo, ng’omubira gumulisizza, ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri. Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu n’abakungubazi ne babuna enguudo.
גם מגבה יראו וחתחתים בדרך וינאץ השקד ויסתבל החגב ותפר האביונה כי הלך האדם אל בית עולמו וסבבו בשוק הספדים׃
6 Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika, ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
עד אשר לא ירחק חבל הכסף ותרץ גלת הזהב ותשבר כד על המבוע ונרץ הגלגל אל הבור׃
7 ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava, n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.
וישב העפר על הארץ כשהיה והרוח תשוב אל האלהים אשר נתנה׃
8 Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba, “Buli kintu butaliimu.”
הבל הבלים אמר הקוהלת הכל הבל׃
9 Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi.
ויתר שהיה קהלת חכם עוד למד דעת את העם ואזן וחקר תקן משלים הרבה׃
10 Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.
בקש קהלת למצא דברי חפץ וכתוב ישר דברי אמת׃
11 Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo.
דברי חכמים כדרבנות וכמשמרות נטועים בעלי אספות נתנו מרעה אחד׃
12 Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako. Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.
ויתר מהמה בני הזהר עשות ספרים הרבה אין קץ ולהג הרבה יגעת בשר׃
13 Kale byonna biwuliddwa; eno y’enkomerero yaabyo: Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
סוף דבר הכל נשמע את האלהים ירא ואת מצותיו שמור כי זה כל האדם׃
14 Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa; ekyo ekyakwekebwa, nga kirungi oba nga kibi.
כי את כל מעשה האלהים יבא במשפט על כל נעלם אם טוב ואם רע׃

< Omubuulizi 12 >