< Omubuulizi 11 >
1 Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya, kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2 Gabiranga musanvu weewaawo munaana, kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3 Ebire bwe bijjula amazzi, bitonnyesa enkuba ku nsi; n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono, mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4 Oyo alabirira embuyaga talisiga; n’oyo atunuulira ebire talikungula.
5 Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo, oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto; bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda Omutonzi wa byonna by’akola.
6 Ku makya siga ensigo zo, n’akawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.
7 Ekitangaala kirungi, era okulaba ku musana kisanyusa.
8 Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi, agisanyukirengamu gyonna, naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza nnyingi ezijja. Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9 Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo, n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo; tambulira mu makubo g’omutima gwo ne mu kulaba kw’amaaso go. Naye manya nga mu byonna, Katonda agenda kukusalira omusango.
10 Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima era weggyeko emitawaana mu ggwe, kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.