< Omubuulizi 10 >

1 Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi, bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
זְבוּבֵי מָוֶת יַבְאִישׁ יַבִּיעַ שֶׁמֶן רוֹקֵחַ יָקָר מֵחָכְמָה מִכָּבוֹד סִכְלוּת מְעָֽט׃
2 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu, naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
לֵב חָכָם לִֽימִינוֹ וְלֵב כְּסִיל לִשְׂמֹאלֽוֹ׃
3 Ne bw’aba ng’atambula, amanyibwa nga talina magezi, era buli amulaba agamba nti musirusiru.
וְגַם־בַּדֶּרֶךְ כשהסכל כְּשֶׁסָּכָל הֹלֵךְ לִבּוֹ חָסֵר וְאָמַר לַכֹּל סָכָל הֽוּא׃
4 Mukama wo bw’akunyiigiranga, tomulaganga busungu; okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.
אִם־רוּחַ הַמּוֹשֵׁל תַּעֲלֶה עָלֶיךָ מְקוֹמְךָ אַל־תַּנַּח כִּי מַרְפֵּא יַנִּיחַ חֲטָאִים גְּדוֹלִֽים׃
5 Ekibi ekirala kye nalaba, kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
יֵשׁ רָעָה רָאִיתִי תַּחַת הַשָּׁמֶשׁ כִּשְׁגָגָה שֶׁיֹּצָא מִלִּפְנֵי הַשַּׁלִּֽיט׃
6 nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava, naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
נִתַּן הַסֶּכֶל בַּמְּרוֹמִים רַבִּים וַעֲשִׁירִים בַּשֵּׁפֶל יֵשֵֽׁבוּ׃
7 Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi, songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.
רָאִיתִי עֲבָדִים עַל־סוּסִים וְשָׂרִים הֹלְכִים כַּעֲבָדִים עַל־הָאָֽרֶץ׃
8 Asima ekinnya alikigwamu, n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
חֹפֵר גּוּמָּץ בּוֹ יִפּוֹל וּפֹרֵץ גָּדֵר יִשְּׁכֶנּוּ נָחָֽשׁ׃
9 Oyo ayasa amayinja gamulumya, n’oyo ayasa enku zimulumya.
מַסִּיעַ אֲבָנִים יֵעָצֵב בָּהֶם בּוֹקֵעַ עֵצִים יִסָּכֶן בָּֽם׃
10 Embazzi bwe tebaako bwogi, n’etewagalwa, agitemya ateekwa okufuba ennyo, naye obumanyirivu bwe buwangula.
אִם־קֵהָה הַבַּרְזֶל וְהוּא לֹא־פָנִים קִלְקַל וַחֲיָלִים יְגַבֵּר וְיִתְרוֹן הכשיר הַכְשֵׁר חָכְמָֽה׃
11 Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa, omufuusa talina kyafunamu.
אִם־יִשֹּׁךְ הַנָּחָשׁ בְּלוֹא־לָחַשׁ וְאֵין יִתְרוֹן לְבַעַל הַלָּשֽׁוֹן׃
12 Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira, naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
דִּבְרֵי פִי־חָכָם חֵן וְשִׂפְתוֹת כְּסִיל תְּבַלְּעֶֽנּוּ׃
13 Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa, ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
תְּחִלַּת דִּבְרֵי־פִיהוּ סִכְלוּת וְאַחֲרִית פִּיהוּ הוֹלֵלוּת רָעָֽה׃
14 Omusirusiru asavuwaza ebigambo. Tewali amanyi birijja, kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?
וְהַסָּכָל יַרְבֶּה דְבָרִים לֹא־יֵדַע הָאָדָם מַה־שֶׁיִּֽהְיֶה וַאֲשֶׁר יִֽהְיֶה מֵֽאַחֲרָיו מִי יַגִּיד לֽוֹ׃
15 Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi, n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.
עֲמַל הַכְּסִילִים תְּיַגְּעֶנּוּ אֲשֶׁר לֹֽא־יָדַע לָלֶכֶת אֶל־עִֽיר׃
16 Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu, nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
אִֽי־לָךְ אֶרֶץ שֶׁמַּלְכֵּךְ נָעַר וְשָׂרַיִךְ בַּבֹּקֶר יֹאכֵֽלוּ׃
17 Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira, ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu, olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.
אַשְׁרֵיךְ אֶרֶץ שֶׁמַּלְכֵּךְ בֶּן־חוֹרִים וְשָׂרַיִךְ בָּעֵת יֹאכֵלוּ בִּגְבוּרָה וְלֹא בַשְּׁתִֽי׃
18 Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya, n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.
בַּעֲצַלְתַּיִם יִמַּךְ הַמְּקָרֶה וּבְשִׁפְלוּת יָדַיִם יִדְלֹף הַבָּֽיִת׃
19 Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka, ne wayini yeeyagaza obulamu, naye ensimbi y’esobola byonna.
לִשְׂחוֹק עֹשִׂים לֶחֶם וְיַיִן יְשַׂמַּח חַיִּים וְהַכֶּסֶף יַעֲנֶה אֶת־הַכֹּֽל׃
20 Tokolimira kabaka mu mutima gwo newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo, kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.
גַּם בְּמַדָּֽעֲךָ מֶלֶךְ אַל־תְּקַלֵּל וּבְחַדְרֵי מִשְׁכָּבְךָ אַל־תְּקַלֵּל עָשִׁיר כִּי עוֹף הַשָּׁמַיִם יוֹלִיךְ אֶת־הַקּוֹל וּבַעַל הכנפים כְּנָפַיִם יַגֵּיד דָּבָֽר׃

< Omubuulizi 10 >