< Omubuulizi 1 >

1 Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
דברי קהלת בן דוד מלך בירושלם׃
2 “Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi. Byonna butaliimu.
הבל הבלים אמר קהלת הבל הבלים הכל הבל׃
3 Omuntu afuna ki mu byonna by’akola, mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
מה יתרון לאדם בכל עמלו שיעמל תחת השמש׃
4 Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja, naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
דור הלך ודור בא והארץ לעולם עמדת׃
5 Enjuba evaayo era n’egwa, ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
וזרח השמש ובא השמש ואל מקומו שואף זורח הוא שם׃
6 Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo, ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono; empewo yeetooloola ne yeetooloola, n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
הולך אל דרום וסובב אל צפון סובב סבב הולך הרוח ועל סביבתיו שב הרוח׃
7 Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; ekifo emigga gye gikulukutira era gye gyeyongera okukulukutira.
כל הנחלים הלכים אל הים והים איננו מלא אל מקום שהנחלים הלכים שם הם שבים ללכת׃
8 Ebintu byonna bijjudde obukoowu omuntu bw’atasobola kutenda! Eriiso terimatira kulaba, wadde okutu okukoowa okuwulira.
כל הדברים יגעים לא יוכל איש לדבר לא תשבע עין לראות ולא תמלא אזן משמע׃
9 Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo, n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa; era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
מה שהיה הוא שיהיה ומה שנעשה הוא שיעשה ואין כל חדש תחת השמש׃
10 Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti, “Laba kino kiggya”? Kyaliwo dda mu mirembe egyatusooka?
יש דבר שיאמר ראה זה חדש הוא כבר היה לעלמים אשר היה מלפננו׃
11 Tewali kujjukira bintu byasooka era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
אין זכרון לראשנים וגם לאחרנים שיהיו לא יהיה להם זכרון עם שיהיו לאחרנה׃
12 Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi.
אני קהלת הייתי מלך על ישראל בירושלם׃
13 Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya.
ונתתי את לבי לדרוש ולתור בחכמה על כל אשר נעשה תחת השמים הוא ענין רע נתן אלהים לבני האדם לענות בו׃
14 Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
ראיתי את כל המעשים שנעשו תחת השמש והנה הכל הבל ורעות רוח׃
15 Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa, n’ekibulako tekibalibwa.
מעות לא יוכל לתקן וחסרון לא יוכל להמנות׃
16 Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.”
דברתי אני עם לבי לאמר אני הנה הגדלתי והוספתי חכמה על כל אשר היה לפני על ירושלם ולבי ראה הרבה חכמה ודעת׃
17 Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
ואתנה לבי לדעת חכמה ודעת הוללות ושכלות ידעתי שגם זה הוא רעיון רוח׃
18 Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi; amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.
כי ברב חכמה רב כעס ויוסיף דעת יוסיף מכאוב׃

< Omubuulizi 1 >