< Ekyamateeka Olwokubiri 6 >
1 “Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.
Now these are the commandments, the statutes, and the judgments, which the LORD your God commanded to teach you, that ye may do them in the land where ye go to possess it:
2 Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga.
That thou mayest fear the LORD thy God, to keep all his statutes and his commandments, which I command thee, thou, and thy son, and thy son’s son, all the days of thy life; and that thy days may be prolonged.
3 Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
Hear therefore, O Israel, and observe to do it; that it may be well with thee, and that ye may increase mightily, as the LORD God of thy fathers hath promised thee, in the land that floweth with milk and honey.
4 “Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu.
Hear, O Israel: The LORD our God is one LORD:
5 Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna.
And thou shalt love the LORD thy God with all thy heart, and with all thy soul, and with all thy might.
6 Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo.
And these words, which I command thee this day, shall be in thy heart:
7 Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
And thou shalt teach them diligently to thy children, and shalt talk of them when thou sittest in thy house, and when thou walkest by the way, and when thou liest down, and when thou risest up.
8 Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo.
And thou shalt bind them for a sign upon thy hand, and they shall be as frontlets between thy eyes.
9 Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
And thou shalt write them upon the posts of thy house, and on thy gates.
10 “Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba,
And it shall be, when the LORD thy God shall have brought thee into the land which he swore to thy fathers, to Abraham, to Isaac, and to Jacob, to give thee great and goodly cities, which thou didst not build,
11 n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta,
And houses full of all good things, which thou didst not fill, and dug wells, which thou didst not dig, vineyards and olive trees, which thou didst not plant; when thou shalt have eaten and be full;
12 weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.
Then beware lest thou shouldest forget the LORD, who brought thee forth from the land of Egypt, from the house of bondage.
13 “Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga.
Thou shalt fear the LORD thy God, and serve him, and shalt swear by his name.
14 Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde;
Ye shall not go after other gods, of the gods of the people which are around you;
15 kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi.
(For the LORD thy God is a jealous God among you) lest the anger of the LORD thy God should be kindled against thee, and destroy thee from off the face of the earth.
16 Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa.
Ye shall not tempt the LORD your God, as ye tempted him in Massah.
17 Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde.
Ye shall diligently keep the commandments of the LORD your God, and his testimonies, and his statutes, which he hath commanded thee.
18 Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa,
And thou shalt do that which is right and good in the sight of the LORD: that it may be well with thee, and that thou mayest go in and possess the good land which the LORD swore to thy fathers,
19 ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.
To cast out all thy enemies from before thee, as the LORD hath spoken.
20 “Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki?
And when thy son shall ask thee in time to come, saying, What mean the testimonies, and the statutes, and the judgments, which the LORD our God hath commanded you?
21 Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
Then thou shalt say to thy son, We were Pharaoh’s slaves in Egypt; and the LORD brought us out of Egypt with a mighty hand:
22 Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba.
And the LORD showed signs and wonders, great and terrible, upon Egypt, upon Pharaoh, and upon all his household, before our eyes:
23 N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa.
And he brought us out from there, that he might bring us in, to give us the land which he swore to our fathers.
24 Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero.
And the LORD commanded us to do all these statutes, to fear the LORD our God, for our good always, that he might preserve us alive, as it is at this day.
25 Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’”
And it shall be our righteousness, if we observe to do all these commandments before the LORD our God, as he hath commanded us.