< Ekyamateeka Olwokubiri 33 >

1 Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa.
וזאת הברכה אשר ברך משה איש האלהים--את בני ישראל לפני מותו
2 Yagamba nti, “Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi n’atutuukako ng’ava ku Seyiri; yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani. Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
ויאמר יהוה מסיני בא וזרח משעיר למו--הופיע מהר פארן ואתה מרבבת קדש מימינו אשדת (אש דת) למו
3 Mazima gw’oyagala abantu, abatukuvu bonna bali mu mikono gyo. Bavuunama wansi ku bigere byo ne bawulira ebiragiro by’obawa.
אף חבב עמים כל קדשיו בידך והם תכו לרגלך ישא מדברתיך
4 Ge mateeka Musa ge yatuwa ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
תורה צוה לנו משה מורשה קהלת יעקב
5 Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.
ויהי בישרון מלך בהתאסף ראשי עם יחד שבטי ישראל
6 “Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”
יחי ראובן ואל ימת ויהי מתיו מספר
7 Kino kye yayogera ku Yuda: “Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda; omuleete eri abantu be. Yeerwaneko n’emikono gye. Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
וזאת ליהודה ויאמר שמע יהוה קול יהודה ואל עמו תביאנו ידיו רב לו ועזר מצריו תהיה
8 Bino bye yayogera ku Leevi: “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo. Wamukebera e Masa n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
וללוי אמר תמיך ואוריך לאיש חסידך אשר נסיתו במסה תריבהו על מי מריבה
9 Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti, ‘Abo sibafaako.’ Baganda be teyabategeeranga wadde okusembeza abaana be; baalabiriranga ekigambo kyo ne bakuumanga endagaano yo.
האמר לאביו ולאמו לא ראיתיו ואת אחיו לא הכיר ואת בנו לא ידע כי שמרו אמרתך ובריתך ינצרו
10 Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo ne Isirayiri amateeka go. Banaanyookezanga obubaane mu maaso go, n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
יורו משפטיך ליעקב ותורתך לישראל ישימו קטורה באפך וכליל על מזבחך
11 Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola, era okkirize emirimu gy’emikono gye. Okubirenga ddala abo abamugolokokerako okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”
ברך יהוה חילו ופעל ידיו תרצה מחץ מתנים קמיו ומשנאיו מן יקומון
12 Bye yayogera ku Benyamini: “Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu, Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo, omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”
לבנימן אמר--ידיד יהוה ישכן לבטח עליו חפף עליו כל היום ובין כתפיו שכן
13 Yayogera bw’ati ku Yusufu: “Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa, n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
וליוסף אמר מברכת יהוה ארצו ממגד שמים מטל ומתהום רבצת תחת
14 n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana, n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
וממגד תבואת שמש וממגד גרש ירחים
15 n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda, n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
ומראש הררי קדם וממגד גבעות עולם
16 n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo, n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka. Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu, mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
וממגד ארץ ומלאה ורצון שכני סנה תבואתה לראש יוסף ולקדקד נזיר אחיו
17 Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu; anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza, n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi. Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu nga ze nkumi za Manase.”
בכור שורו הדר לו וקרני ראם קרניו--בהם עמים ינגח יחדו אפסי ארץ והם רבבות אפרים והם אלפי מנשה
18 Yayogera bw’ati ku Zebbulooni: “Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga; ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
ולזבולן אמר שמח זבולן בצאתך ויששכר באהליך
19 Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu, banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja, nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”
עמים הר יקראו--שם יזבחו זבחי צדק כי שפע ימים יינקו ושפני טמוני חול
20 Yayogera bw’ati ku Gaadi: “Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi, Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma ng’ayuza omukono n’omutwe.
ולגד אמר ברוך מרחיב גד כלביא שכן וטרף זרוע אף קדקד
21 Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi, omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa. Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana ye yabasalira emisango gya Mukama, n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”
וירא ראשית לו כי שם חלקת מחקק ספון ויתא ראשי עם--צדקת יהוה עשה ומשפטיו עם ישראל
22 Yayogera bw’ati ku Ddaani: “Ddaani mwana gwa mpologoma, ogubuuka nga guva mu Basani.”
ולדן אמר דן גור אריה יזנק מן הבשן
23 Yayogera bw’ati ku Nafutaali: “Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda era ng’ojjudde emikisa gye, onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”
ולנפתלי אמר--נפתלי שבע רצון ומלא ברכת יהוה ים ודרום ירשה
24 Yayogera bw’ati ku Aseri: “Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri, ku baganda be gwe babanga basinga okwagala era emizabbibu gigimuke nnyo mu ttaka lye.
ולאשר אמר ברוך מבנים אשר יהי רצוי אחיו וטבל בשמן רגלו
25 Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.
ברזל ונחשת מנעלך וכימיך דבאך
26 “Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba ne ku bire mu kitiibwa kye.
אין כאל ישרון רכב שמים בעזרך ובגאותו שחקים
27 Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
מענה אלהי קדם ומתחת זרעת עולם ויגרש מפניך אויב ויאמר השמד
28 Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka, ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu, mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini, eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
וישכן ישראל בטח בדד עין יעקב אל ארץ דגן ותירוש אף שמיו יערפו טל
29 Nga weesiimye, Ayi Isirayiri! Ani akufaanana, ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola? Ye ngabo yo era omubeezi wo, era kye kitala kyo ekisinga byonna. Abalabe bo banaakuvuunamiranga, era onoobalinnyiriranga.”
אשריך ישראל מי כמוך עם נושע ביהוה מגן עזרך ואשר חרב גאותך ויכחשו איביך לך ואתה על במותימו תדרך

< Ekyamateeka Olwokubiri 33 >