< Ekyamateeka Olwokubiri 32 >

1 Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera, wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
하늘이여 귀를 기울이라 내가 말하리라 땅은 내 입의 말을 들을지어다
2 Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba, n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo, bigwe ng’obufuuyirize ku muddo, ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
나의 교훈은 내리는 비요, 나의 말은 맺히는 이슬이요, 연한 풀 위에 가는 비요, 채소 위에 단 비로다
3 Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama; mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
내가 여호와의 이름을 전파하리니 너희는 위엄을 우리 하나님께 돌릴지어다!
4 Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu, n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya. Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa, omwenkanya era omutereevu mu byonna.
그는 반석이시니 그 공덕이 완전하고 그 모든 길이 공평하며 진실무망하신 하나님이시니 공의로우시고 정직하시도다
5 Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali, baswavu era tebakyali baana be, wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
그들이 여호와를 향하여 악을 행하니 하나님의 자녀가 아니요 흠이 있는 사곡한 종류로다
6 Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda, mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakutonda, n’akussaawo n’akunyweza?
우매무지한 백성아 여호와께 이같이 보답하느냐? 그는 너를 얻으신 너의 아버지가 아니시냐? 너를 지으시고 세우셨도다
7 Jjukira ebiseera eby’edda, fumiitiriza ku myaka egyayita edda. Buuza kitaawo ajja kukubuulira ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
옛날을 기억하라 역대의 연대를 생각하라 네 아비에게 물으라 그가 네게 설명할 것이요 네 어른들에게 물으라 그들이 네게 이르리로다
8 Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago abantu bonna bwe yabayawulayawulamu, yategeka ensalo z’amawanga ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
지극히 높으신 자가 열국의 기업을 주실 때 인종을 분정하실 때에 이스라엘 자손의 수효대로 민족들의 경계를 정하셨도다
9 Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be, Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
여호와의 분깃은 자기 백성이라 야곱은 그 택하신 기업이로다
10 Yamuyisanga mu ddungu, mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta. Yamuzibiranga, n’amulabiriranga, n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
여호와께서 그를 황무지에서, 짐승의 부르짖는 광야에서 만나시고 호위하시며 보호하시며 자기 눈동자같이 지키셨도다
11 Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo, n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo, era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula, n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
마치 독수리가 그 보금자리를 어지럽게 하며 그 새끼 위에 너풀 거리며 그 날개를 펴서 새끼를 받으며 그 날개 위에 그것을 업는것 같이
12 Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga; so tewabangawo katonda mulala.
여호와께서 홀로 그들을 인도하셨고 함께 한 다른 신이 없었도다
13 Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo, n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro. Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
여호와께서 그로 땅의 높은 곳을 타고 다니게 하시며 밭의 소산을 먹게 하시며 반석에서 꿀을, 굳은 반석에서 기름을 빨게 하시며
14 ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo, n’amasavu ag’endiga ento n’ennume, n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani, awamu n’eŋŋaano esinga obulungi, wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.
소의 젖 기름과 양의 젖과 어린 양의 기름과 바산 소산의 수양과 염소와 지극히 아름다운 밀을 먹이시며 또 포도즙의 붉은 술을 마시우셨도다
15 Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala; ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi. Yava ku Katonda eyamukola, n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
그러한데 여수룬이 살지매 발로 찼도다 네가 살지고 부대하고 윤택하매 자기를 지으신 하나님을 버리며 자기를 구원하신 반석을 경홀히 여겼도다
16 Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
그들이 다른 신으로 그의 질투를 일으키며 가증한 것으로 그의 진노를 격발하였도다
17 Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
그들은 하나님께 제사하지 아니하고 마귀에게 하였으니 곧 그들의 알지 못하던 신, 근래에 일어난 새 신, 너희 열조의 두려워하지 않던 것들이로다
18 Weerabira Olwazi eyakuzaala, weerabira Katonda eyakuzaala.
너를 낳은 반석은 네가 상관치 아니하고 너를 내신 하나님은 네가 잊었도다
19 Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.
여호와께서 보시고 미워하셨으니 그 자녀가 그를 격노케한 연고로다
20 N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange ndabe ebinaabatuukako; kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu, abaana abatalinaamu bwesigwa.
여호와의 말씀에 내가 내 얼굴을 숨겨 그들에게 보이지 않게 하고 그들의 종말의 어떠함을 보리니 그들은 심히 패역한 종류요 무신한 자녀임이로다
21 Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala, ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa. Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga, ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.
그들이 하나님이 아닌 자로 나의 질투를 일으키며 그들의 허무한 것으로 나의 진노를 격발하였으니 나도 백성이 되지 아니한 자로 그들의 시기가 나게 하며 우준한 민족으로 그들의 분노를 격발하리로다
22 Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro, ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe, gusenkenya ensi n’ebibala byayo, ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago. (Sheol h7585)
내 분노의 불이 일어나서 음부 깊은 곳까지 사르며 땅의 그 소산을 삼키며 산들의 터도 붙게 하는도다 (Sheol h7585)
23 Nzija kubatuumangako emitawaana ne mbayiwangako obusaale bwange.
내가 재앙을 그들의 위에 쌓으며 나의 살을 다하여 그들을 쏘리로다
24 Nnaabasindikiranga enjala namuzisa, n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza; ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovu n’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa.
그들이 주리므로 파리하며 불 같은 더위와 독한 파멸에게 삼키울 것이라 내가 들짐승의 이와 티끌에 기는 것의 독을 그들에게 보내리로다
25 Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere. Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
밖으로는 칼에 방안에서는 놀람에 멸망하리니 청년 남자와 처녀와 젖 먹는 아이와 백발 노인까지리로다
26 Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.
내가 그들을 흩어서 인간에서 그 기억이 끊어지게 하리라 하였다 마는
27 Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza, kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera, ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde, Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”
대적을 격동할까 염려라 원수가 오해하고 말하기를 우리 수단이 높음이요 여호와의 행함이 아니라 할까 염려라 하시도다
28 Lye ggwanga omutali magezi, mu bo temuliimu kutegeera.
그들은 모략이 없는 국민이라 그 중에 지식이 없도다
29 Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde, ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
그들이 지혜가 있어서 이것을 깨닫고 자기의 종말을 생각하였으면
30 Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi, oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka, wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo, Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
그들의 반석이 그들을 팔지 아니하였고 여호와께서 그들을 내어 주지 아니하셨더면 어찌 한 사람이 천을 쫓으며 두 사람이 만을 도망케 하였을까
31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe, abalabe baffe bakiriziganya naffe.
대적의 반석이 우리의 반석과 같지 못하니 대적도 스스로 판단하도다
32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu, n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola; ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa, ebirimba byazo bikaawa;
그들의 포도나무는 소돔의 포도나무요 고모라의 밭의 소산이라 그들의 포도는 쓸개포도니 그 송이는 쓰며
33 wayini waazo bwe butwa bw’emisota obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.
그들의 포도주는 뱀의 독이요 독사의 악독이라
34 Ekyo saakyeterekera, nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
이것이 내게 쌓이고 내 곳간에 봉하여 있지 아니한가
35 Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula. Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera, obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde, n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
보수는 내 것이라 그들의 실족할 그 때에 갚으리로다 그들의 환난의 날이 가까우니 당할 그 일이 속히 임하리로다
36 Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya, alisaasira abaweereza be, bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu, omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
여호와께서 자기 백성을 판단하시고 그 종들을 인하여 후회하시리니 곧 그들의 무력함과 갇힌 자나 놓인 자가 없음을 보시는 때에로다
37 N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa, olwazi mwe beekweka.
여호와의 말씀에 그들의 신들이 어디 있으며 그들의 피하던 반석이 어디 있느냐?
38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe, ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa? Basituke bajje babayambe, kale babawe obubudamo babakuume!
그들의 희생의 고기를 먹던 것들, 전제의 술을 마시던 것들로 일어나서 너희를 돕게 하라 너희의 보장이 되게 하라
39 Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye! Tewali katonda mulala wabula Nze; nzita era ne nzuukiza, nfumita era ne mponya; era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
이제는 나 곧 내가 그인 줄 알라 나와 함께 하는 신이 없도다 내가 죽이기도 하며 살리기도 하며 상하게도 하며 낫게도 하나니 내 손에서 능히 건질 자 없도다
40 Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti, ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna
내가 하늘을 향하여 내 손을 들고 말하노라 나의 영원히 삶을 두고 맹세하노니
41 bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa, n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango, nnaawalananga abalabe bange, ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
나의 번쩍이는 칼을 갈며 내 손에 심판을 잡고 나의 대적에게 보수하며 나를 미워하는 자에게 보응할 것이라
42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, n’ekitala kyange kirirya ennyama, n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa, n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.
나의 화살로 피에 취하게 하고 나의 칼로 그 고기를 삼키게 하리니 곧 피살자와 포로된 자의 피요 대적의 장관의 머리로다 하시도다
43 Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be, kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be, aliwalana abalabe be, era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.
너희 열방은 주의 백성과 즐거워 하라! 주께서 그 종들의 피를 갚으사 그 대적에게 보수하시고 자기 땅과 백성을 위하여 속죄하시리로다
44 Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira.
모세와 눈의 아들 호세아가 와서 이 노래의 모든 말씀을 백성에게 말하여 들리니라
45 Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri,
모세가 이 모든 말씀을 온 이스라엘에게 말하기를 마치고
46 n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.
그들에게 이르되 `내가 오늘날 너희에게 증거한 모든 말을 너희 마음에 두고 너희 자녀에게 명하여 이 율법의 모든 말씀을 지켜 행하게 하라
47 Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”
이는 너희에게 허사가 아니라 너희의 생명이니 이 일로 인하여 너희가 요단을 건너 얻을 땅에서 너희의 날이 장구하리라'
48 Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti,
당일에 여호와께서 모세에게 일러 가라사대
49 “Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
너는 여리고 맞은편 모압 땅에 있는 아바림산에 올라 느보산에 이르러 내가 이스라엘 자손에게 기업으로 주는 가나안 땅을 바라보라
50 Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.
네 형 아론이 호르산에서 죽어 그 조상에게로 돌아간 것 같이 너도 올라가는 이 산에서 죽어 네 조상에게로 돌아가리니
51 Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri.
이는 너희가 신 광야 가데스의 므리바 물 가에서 이스라엘 자손중 내게 범죄하여 나의 거룩함을 이스라엘 자손 중에서 나타내지 아니한 연고라
52 Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”
내가 이스라엘 자손에게 주는 땅을 네가 바라보기는 하려니와 그리로 들어가지는 못하리라 하시니라

< Ekyamateeka Olwokubiri 32 >