< Ekyamateeka Olwokubiri 27 >
1 Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga.
2 Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.
3 Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
4 Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu.
5 Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma.
6 Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo.
7 Oliwaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’obiriira eyo ng’osanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wo.
8 Era ku mayinja ago g’oliba otegese oliwandiikako n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.”
9 Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.
10 Noolwekyo ogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.”
11 Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti,
12 Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini.
13 Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali.
14 Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:
15 “Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
16 “Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
17 “Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
18 “Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
19 “Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
20 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
21 “Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
22 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
23 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
24 “Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
25 “Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
26 “Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”