< Ekyamateeka Olwokubiri 24 >
1 Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye,
如果一人娶了妻,佔有她之後,在她身上發現了什麼難堪的事,因而不喜悅她,便給她寫了休書,交在她手中,叫她離開他的家,
2 omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa.
而這女子走出了他的家,又去嫁給了另一人為妻,
3 Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga;
如果後夫又憎惡她給她寫了休書,交在她手中,叫她離開他的家,或者娶她為妻的後夫死了,
4 bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.
那麼,那休她的前夫,在她受了污辱之後,不能再娶她為妻,因為這在上主面前是可憎惡的事;你不可使上主你的天主賜給你作產業的土地陷於罪惡。
5 Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.
人娶了新婦,不應從軍出征,也不可派他擔任什麼職務;他應在加享受一年自由,使他新娶的妻子快活。
6 Omuntu bw’awolanga munne n’amusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ng’omusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ng’ogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.
不可拿人的磨,或上面的一塊磨石作抵押,因為這無異是拿人的性命作抵押。
7 Omuntu bw’anaakwatibwanga ng’awamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.
若發現一人拐帶了以色列子民中的一個兄弟,叫他充當奴隸,或將他販賣於人,這拐子應處死刑:這樣你由中間剷除了這邪惡。
8 Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde.
遇有癩病的情形,應全照肋未司祭指教你們的,謹慎遵行。我怎樣吩咐了他們,你們就怎樣遵守執行。
9 Ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Miryamu nga muli mu lugendo lwammwe nga muva mu Misiri.
你應記得你們出埃及後,在途中,上主你的天主對米黎盎所做的事。
10 Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo.
幾時你借給你近人什麼,不可走進他家索取抵押;
11 Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo.
應站在外面,等那借貸的人把抵押給你拿出來。
12 Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo.
倘若他是個貧苦人,你不可帶著他的抵押去睡覺。
13 Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
反之,在日落時,務要將抵押還給他,好叫他睡在自己的外衣裏祝福你;這在上主你的天主面前,算是你的功德。
14 Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo.
貧苦可憐的傭工,不論是你的一個兄弟,或是你城鎮地區內的一個外方人,你不應欺壓他,
15 Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.
應在當天,交給他工錢,不要等到日落;因為他貧苦,他急需工錢用,免得他對你不滿而呼求上主,你就不免有罪了。
16 Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.
不可為兒子的罪處死父親,亦不可為父親的罪處死兒子:每人應為自己的罪被處死刑。
17 Bannamawanga b’onoobeeranga nabo, n’abaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe n’obwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ng’omusingo.
不可侵犯外方人或孤兒的權利,不可拿寡婦的衣服作抵押;
18 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu Misiri, naye Mukama Katonda wo n’akununulayo. Kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.
應記得你在埃及曾做過奴隸,上主你的天主曾將你由那裏救出:為此我吩咐你應遵行這條命令。
19 Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga.
當你在田間收割莊稼時,如在田中忘下了一捆,不要再回去拾取,要留下給外方人、孤兒和寡婦,好叫上主你的天主在你做的一切事上祝福你。
20 Bw’onookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, n’abaana bamulekwa ne bannamwandu.
當你打橄欖樹時,不要再回去打樹枝上所剩的,應留給外方人、孤兒和寡婦。
21 Bw’onookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu.
當你收穫葡萄時,不要再摘取所剩下的,應留給外方人、孤兒和寡婦。
22 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.
總應記得你在埃及地曾做過奴隸:為此我吩咐你應遵行這條命令。