< Ekyamateeka Olwokubiri 21 >

1 Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’akuwa okugirya, omuntu n’asangibwa mu nsiko ng’attiddwa, kyokka ng’eyamusse tamanyiddwa,
如果上主你的天主賜給你作產業的地方,發現有人被殺,曝屍原野,卻不知道是誰殺了他,
2 bakadde bo, abakulembeze, n’abalamuzi bo banaafulumanga ne bagenda bapima obuwanvu bw’ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku bibuga ebinaabanga bigwebulunguludde.
你的長老和官長應出來,從被殺者測量到四周各城,
3 Kale nno abakadde abakulembeze b’ekibuga ekinaabanga kisinga okuliraana n’omulambo ogwo, banaaddiranga ente enduusi etakozesebwangako mulimu gwonna, etassibwangamu kikoligo,
看那一座城離被殺者最近;然後這城的長老應牽來一頭尚未耕作,尚未負軛的母牛犢。
4 ne bagiserengesa mu kiwonvu ekirimu akagga akakulukuta; ekitalimwangamu wadde okusimbwamu emmere. Mu kiwonvu omwo mwe banaanyoleranga ensingo y’ente eyo ne bagimenya.
這城的長老應把母牛犢牽到尚未耕耘播種的地方,靠近常流的溪水旁,就在那溪水上砍斷母牛瀆的頸。
5 Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi.
肋未的子孫司祭們應上前來,因為上主你的天主揀選了他們為事奉自己,因上主之名頒賜祝福,所以一切爭論毆打的事,都應憑他們的裁判來決斷。
6 Awo abakadde abakulembeze bonna ab’omu kibuga ekinaasinganga okuliraana omulambo ogwo, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nte eri enduusi eyamenyebbwa ensingo mu kiwonvu,
那離被殺者最近城市的長老,都應用溪水在被砍斷頸項的母牛犢身上洗手,
7 ne boogera nti, “Emikono gyaffe si gye gyayiwa omusaayi guno, ne bwe gwali guyiyibwa amaaso gaffe tegaagulaba, tetwaliwo nga guyiyibwa.
同時聲明說:「這血不是我們的手流的,我們的眼也沒有看見。
8 Osonyiwe abantu bo, Isirayiri, be wanunula Ayi Mukama Katonda, oleme kuleka wakati mu bantu bo, Isirayiri, omusango ogw’okuyiwa omusaayi, gwe batazzanga.” Bwe batyo banaasonyiyibwanga omusango gw’omusaayi ogwo.
上主! 求你赦免你所救贖的以色列人民,不要讓這流無辜血的罪債,留在你以色列人民中間。」這樣他們算是贖了流血的罪。
9 Bw’otyo bw’onoggyangawo omusango wakati wammwe ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko nsonga, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda.
你由你中間也除去了流無辜血的罪,因為你行了上主眼中視為正直的事。
10 Bw’ogendanga okutabaala balabe bo, Mukama n’abagabula mu mikono gyo n’onyagayo abantu,
當你出征進攻你的敵人時,上主你的天主將他們交在你手中,你獲得了一些俘虜;
11 mu abo abanyagiddwa bw’onoolabangamu omukazi alabika obulungi n’omwagala, n’oyagala okumuwasa,
你若在俘虜中看見了一個容貌美好的女人,對她愛戀不捨,願娶她為妻,
12 omutwalanga mu maka go, n’omulagira okumwa omutwe gwe, n’okusalako enjala ze,
你可帶她到你家中,叫她剃去頭髮,剪短指甲,
13 n’engoye ze mwe yawambirwa azeeyambulangamu. Bw’anaamalanga mu nju yo omwezi mulamba ng’akungubagira kitaawe ne nnyina, onoogendanga gy’ali n’obeera bba, naye anaabeeranga mukazi wo.
脫去自己被擄時所穿的衣服,住在你家裏,哀悼她的父母一個月;然後,你纔能親近她:你做她的丈夫,她做你的妻子。
14 Kyokka bw’anaabanga takusanyusizza, omuwanga eddembe n’agenda so tomutundanga nsimbi. Tomuyisanga nga muddu, kubanga ggwe wamumalamu ekitiibwa kye.
以後如果你不喜歡她,應讓她隨意離去,決不能將她賣錢,也不能以她為奴,因為你曾玷污了她。
15 Omusajja bw’anaabanga n’abakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ng’omwana omubereberye ye w’omukyawe;
一人如有兩妻,一為所愛,一為所惡,所愛所惡的,都給他生了兒子;但是長子卻是他所惡的妻子生的,
16 bw’anaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ng’omubereberye, singa omwana w’omukyawe ye mubereberye.
在他將自己的產業分給他的兒子的那一天,不能將愛妻的兒子視作長子,而廢棄所惡妻子所生的長子;
17 Anaasaaniranga okukkiriza nti omwana w’omukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egy’ebintu bye byonna by’alina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe ery’obwebange ery’omwana omubereberye.
必須承認所惡妻子的兒子為長子,將所有的產業,多分給他一份,因為他是自己壯年時的首生子,應獲得長子的權利。
18 Omuntu bw’anaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olw’obutawulira,
人若有一個忤逆不孝的兒子,不聽從父母的勸告,責罰他以後仍不聽從,
19 kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze ab’omu kibuga kye waabwe nga bali wabweru w’omulyango gw’ekibuga ekyo.
父母就該將他捉住,帶到當地的城門前,見本城的長老,
20 Banaategeezanga abakulu abakulembeze b’omu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.”
對本城的長老說:「我們這個兒子忤逆不孝,不聽我們的勸告,是個放蕩的酒徒。」
21 Kale nno abasajja b’omu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bw’otyo bw’onoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, n’atya.
本城的眾人就應用石頭將他砸死:這樣由你中間剷除了這邪惡,每個以色列人聽了,必然害怕。
22 Omuntu bw’anaasingibwanga ogw’okufa n’attibwa, n’awanikibwa ku muti,
若人犯了該死的罪,處死以後,應將他懸在木桿上,
23 omulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira.
但不可讓他的屍體在木桿上過夜,應在當天將他埋葬。因為凡被懸者,是天主所咒罵的;你不可玷污上主你的天主所賜給你作產業的土地。

< Ekyamateeka Olwokubiri 21 >